Qurani Kərimin mənaca tərcüməsi - Luğanda dilinə tərcümə- Afrika İnkişaf Müəssəsəsi.

Al–Buruuj

external-link copy
1 : 85

وَٱلسَّمَآءِ ذَاتِ ٱلۡبُرُوجِ

1. Ndayira e ggulu eririmu ebifo omutambulira e munyeenye (nga mwe muli e njuba n’omwezi). info
التفاسير:

external-link copy
2 : 85

وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡمَوۡعُودِ

2. Era ndayira olunaku olwalagaanyisibwa (olunaku lw’enkomerero) info
التفاسير:

external-link copy
3 : 85

وَشَاهِدٖ وَمَشۡهُودٖ

3. Era ndayira oyo aliwa obujulizi n’oyo gwe balibuwaako (ku lunaku lw’enkomerero). info
التفاسير:

external-link copy
4 : 85

قُتِلَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡأُخۡدُودِ

4. Katonda yagoba mu kusaasirakwe abo abaasima agannya. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 85

ٱلنَّارِ ذَاتِ ٱلۡوَقُودِ

5. Gebaakumamu omuliro ogubumbujja. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 85

إِذۡ هُمۡ عَلَيۡهَا قُعُودٞ

6. Bwe baatuula awo ku mabbali waagwo. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 85

وَهُمۡ عَلَىٰ مَا يَفۡعَلُونَ بِٱلۡمُؤۡمِنِينَ شُهُودٞ

7. Nga bo (bennyini) balaba buli kyonna kyebakola ku bakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 85

وَمَا نَقَمُواْ مِنۡهُمۡ إِلَّآ أَن يُؤۡمِنُواْ بِٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَمِيدِ

8. Tebaalina kye baali babavunaana okugyako okukkiriza Katonda oweekitiibwa atenderezebwa. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 85

ٱلَّذِي لَهُۥ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ شَهِيدٌ

9. Oyo, obufuzi bwe ggulu omusanvu n'ensi bwonna bubwe. Era Katonda alaba buli kintu. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 85

إِنَّ ٱلَّذِينَ فَتَنُواْ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِ ثُمَّ لَمۡ يَتُوبُواْ فَلَهُمۡ عَذَابُ جَهَنَّمَ وَلَهُمۡ عَذَابُ ٱلۡحَرِيقِ

10. Mazima abo abaawalagganya abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi ate ne bateenenya, bakutuukibwako e bibonerezo by’omuliro Jahannama era balina e bibonerezo by’omuliro ogwokya ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 85

إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ لَهُمۡ جَنَّٰتٞ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۚ ذَٰلِكَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡكَبِيرُ

11. Mazima abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi bajja kufuna e jjana nga mukulukutira muyo emigga. Okwo nno kwe kwesiima okwannamaddala. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 85

إِنَّ بَطۡشَ رَبِّكَ لَشَدِيدٌ

12. Mazima okukwata kwa Mukamaawo kwamaanyi nnyo. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 85

إِنَّهُۥ هُوَ يُبۡدِئُ وَيُعِيدُ

13. Kubanga yye ye mutandisi wa buli kintu era yewookubizzaawo. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 85

وَهُوَ ٱلۡغَفُورُ ٱلۡوَدُودُ

14. Era musonyiyi nnyo, era abaagala nnyo. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 85

ذُو ٱلۡعَرۡشِ ٱلۡمَجِيدُ

15. Yye ye nannyini Arishi, Oweekitiibwa. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 85

فَعَّالٞ لِّمَا يُرِيدُ

16. Akola buli ky’aba ayagadde. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 85

هَلۡ أَتَىٰكَ حَدِيثُ ٱلۡجُنُودِ

17. Wali owulidde ku byafaayo by’amagye. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 85

فِرۡعَوۡنَ وَثَمُودَ

18. Aga Firawo n’abantu ba Thamuud? info
التفاسير:

external-link copy
19 : 85

بَلِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فِي تَكۡذِيبٖ

19. Wabula abo abatakkiriza bali mu kulimbisa. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 85

وَٱللَّهُ مِن وَرَآئِهِم مُّحِيطُۢ

20. So nga Katonda abeetoolodde. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 85

بَلۡ هُوَ قُرۡءَانٞ مَّجِيدٞ

21. Wabula yo Kur'ani (eyassibwa ku Nabbi Muhammad) ya kitiibwa. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 85

فِي لَوۡحٖ مَّحۡفُوظِۭ

22. Eri mu ggwandiikiro erikuumwa obutiribiri. info
التفاسير: