Qurani Kərimin mənaca tərcüməsi - Luğanda dilinə tərcümə- Afrika İnkişaf Müəssəsəsi.

Jathiyah

external-link copy
1 : 45

حمٓ

1. Ha Mim. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 45

تَنزِيلُ ٱلۡكِتَٰبِ مِنَ ٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَكِيمِ

2. Okussa kwe kitabo (Kur’ani) kyava wa Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 45

إِنَّ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ لَأٓيَٰتٖ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ

3. Mazima mu (ggulu omusanvu n'ensi mulimu obubonero obwenkukunala (obulaga obuyinza bwa Katonda) eri abakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 45

وَفِي خَلۡقِكُمۡ وَمَا يَبُثُّ مِن دَآبَّةٍ ءَايَٰتٞ لِّقَوۡمٖ يُوقِنُونَ

4. Era ne mu kutondebwa kwa mmwe, neebyo byasasaanya mu bitambulira (ku nsi) bubonero eri abantu abakakasa (okubeerawo kwa Katonda n’obuyinza bwe). info
التفاسير:

external-link copy
5 : 45

وَٱخۡتِلَٰفِ ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ وَمَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مِن رِّزۡقٖ فَأَحۡيَا بِهِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَا وَتَصۡرِيفِ ٱلرِّيَٰحِ ءَايَٰتٞ لِّقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ

5. N’okwawukana kw'ekiro n’emisana nebyo Katonda byassa okuva waggulu (enkuba) mu bigabwabye naalamusa nabyo ensi olubvannyuma lw'okufa kwayo, n'okutambuza empewo bubonero eri abantu abategeera. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 45

تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱللَّهِ نَتۡلُوهَا عَلَيۡكَ بِٱلۡحَقِّۖ فَبِأَيِّ حَدِيثِۭ بَعۡدَ ٱللَّهِ وَءَايَٰتِهِۦ يُؤۡمِنُونَ

6. Ebigambo bya Katonda ebyo (ebiraga obubonero bwe) tubikusomera mu butuufu, olwo bigambo ki oluvanyuma lwo kuwakanya Katonda n’ebigambo bye bye balikkiriza! info
التفاسير:

external-link copy
7 : 45

وَيۡلٞ لِّكُلِّ أَفَّاكٍ أَثِيمٖ

7. Okubonabona kuli ku buli omuyitirivu w’okulimba omwonoonyi. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 45

يَسۡمَعُ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِ ثُمَّ يُصِرُّ مُسۡتَكۡبِرٗا كَأَن لَّمۡ يَسۡمَعۡهَاۖ فَبَشِّرۡهُ بِعَذَابٍ أَلِيمٖ

8. Awulira ebigambo bya Katonda nga bimusomerwa oluvanyuma naakalambira nga yeekuluntaza ng'alinga atabiwulidde, kale musanyuse nga (omuwa amawulire) g’ebibonerezo ebiruma ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 45

وَإِذَا عَلِمَ مِنۡ ءَايَٰتِنَا شَيۡـًٔا ٱتَّخَذَهَا هُزُوًاۚ أُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٞ مُّهِينٞ

9. Bwamanya ekintu kyonna mu bigambo byaffe akifuula kya kujeeja, abo balina ebibonerezo ebinyoomesa. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 45

مِّن وَرَآئِهِمۡ جَهَنَّمُۖ وَلَا يُغۡنِي عَنۡهُم مَّا كَسَبُواْ شَيۡـٔٗا وَلَا مَا ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ أَوۡلِيَآءَۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ عَظِيمٌ

10. Mumaaso gaabwe omuliro Jahannama gubalinze era bye bakola tebigenda kubagasa kintu kyonna wadde ab’emikwano bebeteerawo nebava ku Katonda era balina ebibonerezo ebisuffu. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 45

هَٰذَا هُدٗىۖ وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِمۡ لَهُمۡ عَذَابٞ مِّن رِّجۡزٍ أَلِيمٌ

11. (Kur’ani) eno, kyakulungamya. era abo abawakanya ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe balina ebibonerezo ebimu kwebyo ebikambwe ebiruma ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 45

۞ ٱللَّهُ ٱلَّذِي سَخَّرَ لَكُمُ ٱلۡبَحۡرَ لِتَجۡرِيَ ٱلۡفُلۡكُ فِيهِ بِأَمۡرِهِۦ وَلِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦ وَلَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ

12. Katonda yooyo eyabagondeza ennyanja, amaato gabe nga gatambulira ku yo olwekiragiro kye, era mube nga musobola okunoonya mu bigabwa bye, era musobole okwebaza. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 45

وَسَخَّرَ لَكُم مَّا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ جَمِيعٗا مِّنۡهُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَتَفَكَّرُونَ

13. Era yabagondeza ebyo ebiri mu ggulu omusanvu nebyo ebiri mu nsi, nga byonna biva gyali. Mazima mwekyo mulimu obubonero (obulaga okubaayo kwa Katonda n’obuyinza bwe) eri abantu abafumitiriza. info
التفاسير: