Qurani Kərimin mənaca tərcüməsi - Luğanda dilinə tərcümə- Afrika İnkişaf Müəssəsəsi.

Dukhan

external-link copy
1 : 44

حمٓ

1. Ha Miim. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 44

وَٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُبِينِ

2. Ndayidde ekitabo (Kur’ani) ekinnyonnyofu. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 44

إِنَّآ أَنزَلۡنَٰهُ فِي لَيۡلَةٖ مُّبَٰرَكَةٍۚ إِنَّا كُنَّا مُنذِرِينَ

3. Mazima ffe twakissa mu kiro ekyomukisa (anti) mazima ffe twali tulina okutiisa (abantu). info
التفاسير:

external-link copy
4 : 44

فِيهَا يُفۡرَقُ كُلُّ أَمۡرٍ حَكِيمٍ

4. Mu kyo (ekiro) mwekigerekerwa buli kigambo ekiba kisaliddwawo. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 44

أَمۡرٗا مِّنۡ عِندِنَآۚ إِنَّا كُنَّا مُرۡسِلِينَ

5. Nga kwo kusalawo okuva gye tuli (anti) mazima ffe twali tuteekwa okutuma ababaka. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 44

رَحۡمَةٗ مِّن رَّبِّكَۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ

6. (Ekyokutuma ababaka) kusaasira okuva ewa Mukama omulabirizi wo (anti) mazima yye yawulira ennyo amanyi ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 44

رَبِّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَآۖ إِن كُنتُم مُّوقِنِينَ

7. (Yye Katonda) ye Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi, bwe muba muli bakkiriza abannamaddala. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 44

لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ يُحۡيِۦ وَيُمِيتُۖ رَبُّكُمۡ وَرَبُّ ءَابَآئِكُمُ ٱلۡأَوَّلِينَ

8. Tewali kirina kusinzibwa okugyako yye, awa obulamu era yabujjawo. Mukama omulabirizi wa mmwe era omulabirizi wa bakadde ba mmwe abasooka. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 44

بَلۡ هُمۡ فِي شَكّٖ يَلۡعَبُونَ

9. Wabula bo (abatakkiriza) bali mu kubuusabuusa, bazannya. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 44

فَٱرۡتَقِبۡ يَوۡمَ تَأۡتِي ٱلسَّمَآءُ بِدُخَانٖ مُّبِينٖ

10. Kale lindirira olunaku eggulu lweririreeta omukka omweyolefu (ogulabwa buli omu). info
التفاسير:

external-link copy
11 : 44

يَغۡشَى ٱلنَّاسَۖ هَٰذَا عَذَابٌ أَلِيمٞ

11. Gugenda kubikka abantu ekyo kiriba kibonerezo ekiruma ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 44

رَّبَّنَا ٱكۡشِفۡ عَنَّا ٱلۡعَذَابَ إِنَّا مُؤۡمِنُونَ

12. (Baligamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe tugyeko ekibonerezo, mazima ffe tukkirizza. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 44

أَنَّىٰ لَهُمُ ٱلذِّكۡرَىٰ وَقَدۡ جَآءَهُمۡ رَسُولٞ مُّبِينٞ

13. Naye wwa gye baliggya okujjukira (batuuke okwebuulirira) ate nga mazima omubaka annyonnyola obulungi yabajjira. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 44

ثُمَّ تَوَلَّوۡاْ عَنۡهُ وَقَالُواْ مُعَلَّمٞ مَّجۡنُونٌ

14. Oluvannnyuma ate ne bamuvaako, era nebagamba nti (Muhmmad) ayigirizibwa buyigirizibwa era mulalu. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 44

إِنَّا كَاشِفُواْ ٱلۡعَذَابِ قَلِيلًاۚ إِنَّكُمۡ عَآئِدُونَ

15. Mazima ffe tujja kuggyawo ekibonerezo katono (wabula) mazima mmwe mujja kuddayo (mu butakkiriza bwa mmwe). info
التفاسير:

external-link copy
16 : 44

يَوۡمَ نَبۡطِشُ ٱلۡبَطۡشَةَ ٱلۡكُبۡرَىٰٓ إِنَّا مُنتَقِمُونَ

16. (Wabula bajjukize) olunaku lwe tulikwata olukwata olwamaanyi (anti) mazima ffe tuli ba kubonereza. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 44

۞ وَلَقَدۡ فَتَنَّا قَبۡلَهُمۡ قَوۡمَ فِرۡعَوۡنَ وَجَآءَهُمۡ رَسُولٞ كَرِيمٌ

17. Era mazima twageseza oluberyeberye lwabwe abantu ba Firawo, era nga yabajjira omubaka owekitiibwa. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 44

أَنۡ أَدُّوٓاْ إِلَيَّ عِبَادَ ٱللَّهِۖ إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٞ

18. (Naagamba nti) munzirize abaddu ba Katonda (anti) mazima nze ndi mubaka omwesigwa. info
التفاسير: