Қуръони Карим маъноларининг таржимаси - Лугандача таржима - Африка тараққиёт муассасаси

Бет рақами:close

external-link copy
36 : 6

۞ إِنَّمَا يَسۡتَجِيبُ ٱلَّذِينَ يَسۡمَعُونَۘ وَٱلۡمَوۡتَىٰ يَبۡعَثُهُمُ ٱللَّهُ ثُمَّ إِلَيۡهِ يُرۡجَعُونَ

36. Abo abawulira okuwulira okutuufu, mazima bajja kwanukula okukoowoola (kwo), sso abafu Katonda agenda kubazuukiza era gyali gye balizzibwa. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 6

وَقَالُواْ لَوۡلَا نُزِّلَ عَلَيۡهِ ءَايَةٞ مِّن رَّبِّهِۦۚ قُلۡ إِنَّ ٱللَّهَ قَادِرٌ عَلَىٰٓ أَن يُنَزِّلَ ءَايَةٗ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ

37. (Abagatta Katonda e bintu e birala) bagamba nti singa assiddwaako e kya magero kyonna okuva e wa Mukama omulabirizi we, bagambe nti mazima Katonda asobola okussa e kyamagero kyonna ,naye abasinga obungi tebamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
38 : 6

وَمَا مِن دَآبَّةٖ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا طَٰٓئِرٖ يَطِيرُ بِجَنَاحَيۡهِ إِلَّآ أُمَمٌ أَمۡثَالُكُمۚ مَّا فَرَّطۡنَا فِي ٱلۡكِتَٰبِ مِن شَيۡءٖۚ ثُمَّ إِلَىٰ رَبِّهِمۡ يُحۡشَرُونَ

38. Tewali kintu kyonna kitambula ku nsi nga kiramu ka kibe kinyonyi e kibuuka n'ebiwawaatiro bya kyo okugyako bulijjo bikolera mu bibinja nga mmwe, tewali kintu kyonna kye twaleka okugyako nga twakiwandiika mu Lauhul Mahfuudhu (Eggwandisizo lya Katonda) oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa bwe gye bagenda okunganyizibwa. info
التفاسير:

external-link copy
39 : 6

وَٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا صُمّٞ وَبُكۡمٞ فِي ٱلظُّلُمَٰتِۗ مَن يَشَإِ ٱللَّهُ يُضۡلِلۡهُ وَمَن يَشَأۡ يَجۡعَلۡهُ عَلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ

39. Abo bonna abaalimbisa e bigambo byaffe ba kiggala ba kasiru bali mu bizikiza. Omuntu Katonda gwaba ayagadde abule amubuza, ate gwaba ayagadde okulungamya amusobozesa okulungama eri e kkubo e ggolokofu. info
التفاسير:

external-link copy
40 : 6

قُلۡ أَرَءَيۡتَكُمۡ إِنۡ أَتَىٰكُمۡ عَذَابُ ٱللَّهِ أَوۡ أَتَتۡكُمُ ٱلسَّاعَةُ أَغَيۡرَ ٱللَّهِ تَدۡعُونَ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ

40. Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) nti mulaba mutya singa biba bibajjidde e bibonerezo bya Katonda oba olunaku lwe nkomerero nga lwe lubajjidde, (mu mbeera eyo muyinza) okulaajanira atali Katonda omu bwe muba nga mwogera mazima. info
التفاسير:

external-link copy
41 : 6

بَلۡ إِيَّاهُ تَدۡعُونَ فَيَكۡشِفُ مَا تَدۡعُونَ إِلَيۡهِ إِن شَآءَ وَتَنسَوۡنَ مَا تُشۡرِكُونَ

41. E kituufu kiri nti mulaajanira Katonda wa mmwe e yabakola yekka, n'abaggyirawo e kyo kye mumumulaajanidde bwaba nga ayagadde nemwerabira n'okwerabira e byo bye mubadde mumugattako. info
التفاسير:

external-link copy
42 : 6

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَآ إِلَىٰٓ أُمَمٖ مِّن قَبۡلِكَ فَأَخَذۡنَٰهُم بِٱلۡبَأۡسَآءِ وَٱلضَّرَّآءِ لَعَلَّهُمۡ يَتَضَرَّعُونَ

42. Mazima twatuma ababaka eri e bibinja bya bantu oluberyeberyelwo, netubagezesa n'ebizibu by'obwavu n’obubenje balyoke beetowaze (basinze Katonda omu). info
التفاسير:

external-link copy
43 : 6

فَلَوۡلَآ إِذۡ جَآءَهُم بَأۡسُنَا تَضَرَّعُواْ وَلَٰكِن قَسَتۡ قُلُوبُهُمۡ وَزَيَّنَ لَهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ

43. Kale nno singa e bizibu bwe byabajjira beetoowaliza (Katonda, kyandibayambye) naye e myoyo gyabwe gyeyongera kuwaganyala. Sitane naabawundira e byo bye baali bakola. info
التفاسير:

external-link copy
44 : 6

فَلَمَّا نَسُواْ مَا ذُكِّرُواْ بِهِۦ فَتَحۡنَا عَلَيۡهِمۡ أَبۡوَٰبَ كُلِّ شَيۡءٍ حَتَّىٰٓ إِذَا فَرِحُواْ بِمَآ أُوتُوٓاْ أَخَذۡنَٰهُم بَغۡتَةٗ فَإِذَا هُم مُّبۡلِسُونَ

44. Kavuna baaleka e byo bye bajjukizibwa na byo, netubaggulirawo e miryango gya buli kintu mu byenfuna, okutuusiza ddala lwe baayitiriza okweyagalira mu e byo bye twabawa, netubabonereza mbagirawo nebatuuka n’okuba nti tebalina kantu konna. info
التفاسير: