Қуръони Карим маъноларининг таржимаси - Лугандача таржима - Африка тараққиёт муассасаси

Mariam

external-link copy
1 : 19

كٓهيعٓصٓ

1 . Kaaf Haa Yaa Ain Swad. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 19

ذِكۡرُ رَحۡمَتِ رَبِّكَ عَبۡدَهُۥ زَكَرِيَّآ

2 . Okwogera ku kusaasira kwa Mukama Omulabiriziwo kwe yawa omudduwe Zakaria. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 19

إِذۡ نَادَىٰ رَبَّهُۥ نِدَآءً خَفِيّٗا

3 . Mu kiseera bwe yasaba Mukama Omulabiriziwe okusaba okw'ekyama. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 19

قَالَ رَبِّ إِنِّي وَهَنَ ٱلۡعَظۡمُ مِنِّي وَٱشۡتَعَلَ ٱلرَّأۡسُ شَيۡبٗا وَلَمۡ أَكُنۢ بِدُعَآئِكَ رَبِّ شَقِيّٗا

4 . Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, mazima nze amagumba gannyenjebuse, n'omutwe gubunye envi, ate nga ssirekererwangako ayi Mukama Omulabirizi wange buli lwe nkusaba. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 19

وَإِنِّي خِفۡتُ ٱلۡمَوَٰلِيَ مِن وَرَآءِي وَكَانَتِ ٱمۡرَأَتِي عَاقِرٗا فَهَبۡ لِي مِن لَّدُنكَ وَلِيّٗا

5 . Era mazima nze, nneekengedde ab'omusaayi gwange (bayinza okweyisa obubi) oluvanyuma lwange, ate nga ne Mukyala wange mugumba awo nno nkusaba ompe okuva gyoli omwana. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 19

يَرِثُنِي وَيَرِثُ مِنۡ ءَالِ يَعۡقُوبَۖ وَٱجۡعَلۡهُ رَبِّ رَضِيّٗا

6 . Anaansikira, era asikire ab'olulyo lwa Yakubu, era omufuule asiimibwa ayi Mukama Omulabirizi wange. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 19

يَٰزَكَرِيَّآ إِنَّا نُبَشِّرُكَ بِغُلَٰمٍ ٱسۡمُهُۥ يَحۡيَىٰ لَمۡ نَجۡعَل لَّهُۥ مِن قَبۡلُ سَمِيّٗا

7 . (Naayanukulwa nti) owange Zakaria mazima ffe tukuwa amawulire ag'essanyu nti ogenda kufuna omwana omulenzi, nga erinya lye ye Yahaya (erinnya) lye tutassangawo oluberyeberye aliyitibwa. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 19

قَالَ رَبِّ أَنَّىٰ يَكُونُ لِي غُلَٰمٞ وَكَانَتِ ٱمۡرَأَتِي عَاقِرٗا وَقَدۡ بَلَغۡتُ مِنَ ٱلۡكِبَرِ عِتِيّٗا

8 . (Zakaria) naagamba nti omwana omulenzi (oyo) nnaamufuna ntya, nga Mukyala wange mugumba nga n’olwo bukadde nfuuse mugogge!. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 19

قَالَ كَذَٰلِكَ قَالَ رَبُّكَ هُوَ عَلَيَّ هَيِّنٞ وَقَدۡ خَلَقۡتُكَ مِن قَبۡلُ وَلَمۡ تَكُ شَيۡـٔٗا

9 . (Malayika) naagamba nti (bwe kityo bwe kirina okuba), Mukama Omulabiriziwo agambye nti: ekyo ku nze kyangu era mazima nakutonda nga mu kusooka tewali kintu kyonna. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 19

قَالَ رَبِّ ٱجۡعَل لِّيٓ ءَايَةٗۖ قَالَ ءَايَتُكَ أَلَّا تُكَلِّمَ ٱلنَّاسَ ثَلَٰثَ لَيَالٖ سَوِيّٗا

10 . (Zakaria) naagamba nti ayi Mukama Omulabirizi wange nteeraawo akabonero (akanaalaga nti omukyala ali lubuto) naamugamba nti bwe butayogera na bantu okumala ebiro bisatu ebijjudde (awamu n'okuba nga oli mulamu). info
التفاسير:

external-link copy
11 : 19

فَخَرَجَ عَلَىٰ قَوۡمِهِۦ مِنَ ٱلۡمِحۡرَابِ فَأَوۡحَىٰٓ إِلَيۡهِمۡ أَن سَبِّحُواْ بُكۡرَةٗ وَعَشِيّٗا

11 . Awo nno yafuluma, naasisinkana abantu be nga ava mu ssinzizo naabalagira (nga tayogera, wabula nga akozesa bubonero) nti muteendereze, (Katonda) enkya n'olweggulo. info
التفاسير: