قرآن کریم کے معانی کا ترجمہ - لوگندی ترجمہ - افریقی ڈیولپمنٹ آرگنائزیشن

صفحہ نمبر:close

external-link copy
36 : 27

فَلَمَّا جَآءَ سُلَيۡمَٰنَ قَالَ أَتُمِدُّونَنِ بِمَالٖ فَمَآ ءَاتَىٰنِۦَ ٱللَّهُ خَيۡرٞ مِّمَّآ ءَاتَىٰكُمۚ بَلۡ أَنتُم بِهَدِيَّتِكُمۡ تَفۡرَحُونَ

36 . (Abaatumwa) bwe bajja ewa Sulaiman yagamba nti: munsendasenda ne mmaali (olwo nno mbaleke) ebyo Katonda bye yampa bye birungi okusinga bye yabawa, wabula mmwe musanyuukirira nnyo olw'ebirabo bya mmwe. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 27

ٱرۡجِعۡ إِلَيۡهِمۡ فَلَنَأۡتِيَنَّهُم بِجُنُودٖ لَّا قِبَلَ لَهُم بِهَا وَلَنُخۡرِجَنَّهُم مِّنۡهَآ أَذِلَّةٗ وَهُمۡ صَٰغِرُونَ

37 . (Sulaiman naagamba) ddayo gye bali (n'ebirabo bya bwe) tugenda kubajjira n'eggye lye batalinaako busobozi, era (ensi eyo) tujja kugibafulumyamu nga ba wansi era nga banyoomebwa. info
التفاسير:

external-link copy
38 : 27

قَالَ يَٰٓأَيُّهَا ٱلۡمَلَؤُاْ أَيُّكُمۡ يَأۡتِينِي بِعَرۡشِهَا قَبۡلَ أَن يَأۡتُونِي مُسۡلِمِينَ

38 . (Sulaiman) naagamba nti abange mmwe abakungu ani mu mmwe andeetera namulondo ye nga tebannaba kunzijira nga bakkirizza Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
39 : 27

قَالَ عِفۡرِيتٞ مِّنَ ٱلۡجِنِّ أَنَا۠ ءَاتِيكَ بِهِۦ قَبۡلَ أَن تَقُومَ مِن مَّقَامِكَۖ وَإِنِّي عَلَيۡهِ لَقَوِيٌّ أَمِينٞ

39 . Ejinni ery'amaanyi nerigamba nti, nze nja kugikuleetera nga tonnava mu kifokyo, era mazima nze ku ekyo ndi wa maanyi omwesigwa. info
التفاسير:

external-link copy
40 : 27

قَالَ ٱلَّذِي عِندَهُۥ عِلۡمٞ مِّنَ ٱلۡكِتَٰبِ أَنَا۠ ءَاتِيكَ بِهِۦ قَبۡلَ أَن يَرۡتَدَّ إِلَيۡكَ طَرۡفُكَۚ فَلَمَّا رَءَاهُ مُسۡتَقِرًّا عِندَهُۥ قَالَ هَٰذَا مِن فَضۡلِ رَبِّي لِيَبۡلُوَنِيٓ ءَأَشۡكُرُ أَمۡ أَكۡفُرُۖ وَمَن شَكَرَ فَإِنَّمَا يَشۡكُرُ لِنَفۡسِهِۦۖ وَمَن كَفَرَ فَإِنَّ رَبِّي غَنِيّٞ كَرِيمٞ

40 . (Omulala) oyo alina okumanya (okw'enjawulo) okuva mu kitabo kya (Katonda) naagamba nti, nze nja kugikuleetera nga eriisolyo terinnadda gyoli (nga tonnatemya), bwe yagiraba nga eteredde waali yagamba nti, kino kya mu birungi bya Mukama omulabirizi wange abe nga angezesa, abaffe nneebaza oba sseebaza byengera, era bulijjo omuntu eyeebaza yeebaza yebaza ku lulwe, ate oyo akaafuwala mazima Mukama omulabirizi wange talina kye yeetaaga, mugabi nnyo. info
التفاسير:

external-link copy
41 : 27

قَالَ نَكِّرُواْ لَهَا عَرۡشَهَا نَنظُرۡ أَتَهۡتَدِيٓ أَمۡ تَكُونُ مِنَ ٱلَّذِينَ لَا يَهۡتَدُونَ

41 . (Sulaiman) naagamba nti mukyusekyuse nnamulondoye tulabe anaasobola okugimanya oba anaabeera mu batasobola kugimanya. info
التفاسير:

external-link copy
42 : 27

فَلَمَّا جَآءَتۡ قِيلَ أَهَٰكَذَا عَرۡشُكِۖ قَالَتۡ كَأَنَّهُۥ هُوَۚ وَأُوتِينَا ٱلۡعِلۡمَ مِن قَبۡلِهَا وَكُنَّا مُسۡلِمِينَ

42 . (Balikiisi) bwe yajja naagambibwa nti: eyo ye namulondoyo? naagamba nti mazima eringa yeeyo, (Sulaiman) naagamba nti: twaweebwa okumanya (Katonda) oluberyeberye lw'omukyala ono nga tanajja era tubadde basiraamu. info
التفاسير:

external-link copy
43 : 27

وَصَدَّهَا مَا كَانَت تَّعۡبُدُ مِن دُونِ ٱللَّهِۖ إِنَّهَا كَانَتۡ مِن قَوۡمٖ كَٰفِرِينَ

43 . Ekyamugaana (omukyala ono okubeera omusiraamu bye) ebyo bye yali asinza nga alese Katonda ali omu, mazima yye (balikiisi) yali ava mu bantu abakaafiiri. info
التفاسير:

external-link copy
44 : 27

قِيلَ لَهَا ٱدۡخُلِي ٱلصَّرۡحَۖ فَلَمَّا رَأَتۡهُ حَسِبَتۡهُ لُجَّةٗ وَكَشَفَتۡ عَن سَاقَيۡهَاۚ قَالَ إِنَّهُۥ صَرۡحٞ مُّمَرَّدٞ مِّن قَوَارِيرَۗ قَالَتۡ رَبِّ إِنِّي ظَلَمۡتُ نَفۡسِي وَأَسۡلَمۡتُ مَعَ سُلَيۡمَٰنَ لِلَّهِ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

44 . Naagambibwa nti: yingira olubiri (amatiribona) olwo bwe yalaba olubiri naalulabanga amayengo g'amazzi naabikkula ku ntumbweze zombiriri (olw'okutya amazzi) (Sulaiman) naamugamba nti mazima lwo lubiri (olujja lwa lwo) lwakolebwa mu birawuli nga wansi w'ebirawuli waliyo amazzi, (Balikiisi) naagamba nti Mukama omulabirizi wange, mazima nze mbadde neeyisa bubi (kaakano) nsiramuse nga ngoberera Sulaiman ku lwa Mukama omulabirizi w'ebitonde. info
التفاسير: