قۇرئان كەرىم مەنىلىرىنىڭ تەرجىمىسى - ئوغانداچە تەرجىمىسىنى ئافرىقا تەرەققىيات جەمئىيىتى قىلغان

بەت نومۇرى:close

external-link copy
23 : 43

وَكَذَٰلِكَ مَآ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ فِي قَرۡيَةٖ مِّن نَّذِيرٍ إِلَّا قَالَ مُتۡرَفُوهَآ إِنَّا وَجَدۡنَآ ءَابَآءَنَا عَلَىٰٓ أُمَّةٖ وَإِنَّا عَلَىٰٓ ءَاثَٰرِهِم مُّقۡتَدُونَ

23. Nabwekityo tetwatuma luberyeberyelwo mu kitundu kyonna mutiisa okugyako nga babinojjo baamu bagamba nti mazima ffe twasanga bakadde baffe nga bali ku nkola, era mazima ffe tuli ku buwufu bwabwe tugoberera. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 43

۞ قَٰلَ أَوَلَوۡ جِئۡتُكُم بِأَهۡدَىٰ مِمَّا وَجَدتُّمۡ عَلَيۡهِ ءَابَآءَكُمۡۖ قَالُوٓاْ إِنَّا بِمَآ أُرۡسِلۡتُم بِهِۦ كَٰفِرُونَ

24. Omubaka waabwe kwe kugamba nti (kiba bwekityo) newakubadde nga mbaleetedde ekirungamu okusinga ekyo kye mwasangako bakadde ba mmwe ne bagamba nti mazima ffe, tuwakanya ekyo kye mutumiddwa nakyo. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 43

فَٱنتَقَمۡنَا مِنۡهُمۡۖ فَٱنظُرۡ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلۡمُكَذِّبِينَ

25. Olwo nno netubabonereza, kale tunuulira enkomerero ya balimbisa yali etya. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 43

وَإِذۡ قَالَ إِبۡرَٰهِيمُ لِأَبِيهِ وَقَوۡمِهِۦٓ إِنَّنِي بَرَآءٞ مِّمَّا تَعۡبُدُونَ

26. Jjukira Ibrahim bwe yagamba kitawe n’abantu be, nti mazima nze neganye ebyo bye musinza. info
التفاسير:

external-link copy
27 : 43

إِلَّا ٱلَّذِي فَطَرَنِي فَإِنَّهُۥ سَيَهۡدِينِ

27. Okugyako (okusinza) oyo eyantonda anti mazima yye yajja okunnungamya. info
التفاسير:

external-link copy
28 : 43

وَجَعَلَهَا كَلِمَةَۢ بَاقِيَةٗ فِي عَقِبِهِۦ لَعَلَّهُمۡ يَرۡجِعُونَ

28. (Ibrahim) yakiteekawo nga kigambo ekyokusigalawo oluvanyuma lwe, balyoke babe nga badda (eri okwawula Katonda). info
التفاسير:

external-link copy
29 : 43

بَلۡ مَتَّعۡتُ هَٰٓؤُلَآءِ وَءَابَآءَهُمۡ حَتَّىٰ جَآءَهُمُ ٱلۡحَقُّ وَرَسُولٞ مُّبِينٞ

29. Wabula nawa abo ne bakadde baabwe okweyagalira mu bulamu bwensi, okutuusiza ddala nga amazima gabajjidde (Kur’ani) n’omubaka annyonnyola (amazima ago). info
التفاسير:

external-link copy
30 : 43

وَلَمَّا جَآءَهُمُ ٱلۡحَقُّ قَالُواْ هَٰذَا سِحۡرٞ وَإِنَّا بِهِۦ كَٰفِرُونَ

30. Naye nno amazima bwe gaamala okubajjira nebagamba nti lino ddogo, era mazima ffe tuliwakanya. info
التفاسير:

external-link copy
31 : 43

وَقَالُواْ لَوۡلَا نُزِّلَ هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانُ عَلَىٰ رَجُلٖ مِّنَ ٱلۡقَرۡيَتَيۡنِ عَظِيمٍ

31. Era nebagamba nti singa Kur’ani eno essiddwa ku musajja owekitiibwa ngava mu kimu ku bitundu ebibiri. info
التفاسير:

external-link copy
32 : 43

أَهُمۡ يَقۡسِمُونَ رَحۡمَتَ رَبِّكَۚ نَحۡنُ قَسَمۡنَا بَيۡنَهُم مَّعِيشَتَهُمۡ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۚ وَرَفَعۡنَا بَعۡضَهُمۡ فَوۡقَ بَعۡضٖ دَرَجَٰتٖ لِّيَتَّخِذَ بَعۡضُهُم بَعۡضٗا سُخۡرِيّٗاۗ وَرَحۡمَتُ رَبِّكَ خَيۡرٞ مِّمَّا يَجۡمَعُونَ

32. Abaffe bo be bagabanya okusaasira kwa Katonda, (obwa Nabbi nga bwe baagala) ffe tubagabanyiza ebibabeesaawo mu bulamu bwensi, ne tusukkulumya abamu ku balala mu madaala, abamu balyoke bafuule bannaabwe abaweereza, wabula okusaasira kwa Katonda kwe kusinga obulungi kwebyo byonna bye bakungaanya. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 43

وَلَوۡلَآ أَن يَكُونَ ٱلنَّاسُ أُمَّةٗ وَٰحِدَةٗ لَّجَعَلۡنَا لِمَن يَكۡفُرُ بِٱلرَّحۡمَٰنِ لِبُيُوتِهِمۡ سُقُفٗا مِّن فِضَّةٖ وَمَعَارِجَ عَلَيۡهَا يَظۡهَرُونَ

33. Singa sikuba nti abantu bonna bajja kufuuka ekibiina kimu (eky'obukafiiri), buli eyandibadde awakanya Katonda omusaasizi ennyo twalitadde ku mayumba gaabwe obusolya nga bwa ffeeza ne ku madaala gebalinnyirako (bonoonekere ddala). info
التفاسير: