قۇرئان كەرىم مەنىلىرىنىڭ تەرجىمىسى - ئوغانداچە تەرجىمىسىنى ئافرىقا تەرەققىيات جەمئىيىتى قىلغان

بەت نومۇرى:close

external-link copy
32 : 15

قَالَ يَٰٓإِبۡلِيسُ مَا لَكَ أَلَّا تَكُونَ مَعَ ٱلسَّٰجِدِينَ

32. (Katonda) kwe kugamba nti: owange ggwe Ibuliisu ki ekikugaanye okuvunnama n'abavunnami. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 15

قَالَ لَمۡ أَكُن لِّأَسۡجُدَ لِبَشَرٍ خَلَقۡتَهُۥ مِن صَلۡصَٰلٖ مِّنۡ حَمَإٖ مَّسۡنُونٖ

33. (Ibuliisu) nti: sandibadde avunnamira omuntu, gwotonze nga omuggya mu bbumba ekkaze eriddugavu. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 15

قَالَ فَٱخۡرُجۡ مِنۡهَا فَإِنَّكَ رَجِيمٞ

34. (Katonda) kwe kumugamba nti gifulume (e jjana) anti ggwe ogobeddwa okuva mu kusaasira kwa Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 15

وَإِنَّ عَلَيۡكَ ٱللَّعۡنَةَ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلدِّينِ

35. Era mazima ekikolimo kibeere ku ggwe okutuusiza ddala olunaku lw'okubalibwa. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 15

قَالَ رَبِّ فَأَنظِرۡنِيٓ إِلَىٰ يَوۡمِ يُبۡعَثُونَ

36. (Ibuliisu) naagamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi wange, nnindiriza okutuusa ku lunaku lw'okusasulwa. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 15

قَالَ فَإِنَّكَ مِنَ ٱلۡمُنظَرِينَ

37. (Katonda) naagamba nti kale oli mubalindiriziddwa. info
التفاسير:

external-link copy
38 : 15

إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡوَقۡتِ ٱلۡمَعۡلُومِ

38. Okutuusa ku lunaku lw'ekiseera ekimanyiddwa (ebitonde byonna lwe birizikirira). info
التفاسير:

external-link copy
39 : 15

قَالَ رَبِّ بِمَآ أَغۡوَيۡتَنِي لَأُزَيِّنَنَّ لَهُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَأُغۡوِيَنَّهُمۡ أَجۡمَعِينَ

39. (Ibuliisu) naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange nga bwombuzizza, mazima nja kubawundira kuno ku nsi (obujeemu n'ebibi bibe nga by'ebirungi mu maaso gaabwe) era nja kubabuliza ddala bonna. info
التفاسير:

external-link copy
40 : 15

إِلَّا عِبَادَكَ مِنۡهُمُ ٱلۡمُخۡلَصِينَ

40. Okugyako abaddubo mu bo abalondobemu. info
التفاسير:

external-link copy
41 : 15

قَالَ هَٰذَا صِرَٰطٌ عَلَيَّ مُسۡتَقِيمٌ

41. (Katonda) naagamba nti lino kkubo ggolokofu. info
التفاسير:

external-link copy
42 : 15

إِنَّ عِبَادِي لَيۡسَ لَكَ عَلَيۡهِمۡ سُلۡطَٰنٌ إِلَّا مَنِ ٱتَّبَعَكَ مِنَ ٱلۡغَاوِينَ

42. Mazima abaddu bange tobalinaako buyinza, mpozzi abo abakugoberera mu babuze. info
التفاسير:

external-link copy
43 : 15

وَإِنَّ جَهَنَّمَ لَمَوۡعِدُهُمۡ أَجۡمَعِينَ

43. Era mazima omuliro Jahannama gwabalagaanyisibwa bonna. info
التفاسير:

external-link copy
44 : 15

لَهَا سَبۡعَةُ أَبۡوَٰبٖ لِّكُلِّ بَابٖ مِّنۡهُمۡ جُزۡءٞ مَّقۡسُومٌ

44. Gulina emiryango musanvu, buli mulyango gulina mu bo omuteeko ogwagugerekerwa. info
التفاسير:

external-link copy
45 : 15

إِنَّ ٱلۡمُتَّقِينَ فِي جَنَّٰتٖ وَعُيُونٍ

45. Mazima abatya Katonda balibeera mu jjana n'ensulo nga zikulukuta. info
التفاسير:

external-link copy
46 : 15

ٱدۡخُلُوهَا بِسَلَٰمٍ ءَامِنِينَ

46. (Baligambibwa) nti mugiyingire nga muli mirembe nga temulina kutya kwonna. info
التفاسير:

external-link copy
47 : 15

وَنَزَعۡنَا مَا فِي صُدُورِهِم مِّنۡ غِلٍّ إِخۡوَٰنًا عَلَىٰ سُرُرٖ مُّتَقَٰبِلِينَ

47. Netujjawo buli kakuku akali mu bifuba bya bwe nebaba ab'oluganda. Olwo nno nga bali ku bitanda nga batunuuliganye (banyumya). info
التفاسير:

external-link copy
48 : 15

لَا يَمَسُّهُمۡ فِيهَا نَصَبٞ وَمَا هُم مِّنۡهَا بِمُخۡرَجِينَ

48. Tebagenda kutuukibwako kukoowa era nga bwe batagenda kufulumizibwamu. info
التفاسير:

external-link copy
49 : 15

۞ نَبِّئۡ عِبَادِيٓ أَنِّيٓ أَنَا ٱلۡغَفُورُ ٱلرَّحِيمُ

49. Tegeeza abaddu bange nti nze musonyiyi ennyo omusaasizi. info
التفاسير:

external-link copy
50 : 15

وَأَنَّ عَذَابِي هُوَ ٱلۡعَذَابُ ٱلۡأَلِيمُ

50. Era nti mazima ebibonerezo byange by'ebibonerezo ebiruma ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
51 : 15

وَنَبِّئۡهُمۡ عَن ضَيۡفِ إِبۡرَٰهِيمَ

51. Era bategeeze ebikwata ku bagenyi ba Ibrahim. info
التفاسير: