Kur'an-ı Kerim meal tercümesi - Lugandaca Tercüme - Afrika Kalkındırma Müessesesi

Al Kaswas

external-link copy
1 : 28

طسٓمٓ

1 . Twaa Siin Miim. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 28

تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُبِينِ

2 . Bino bigambo bya kitabo ekinnyonnyola. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 28

نَتۡلُواْ عَلَيۡكَ مِن نَّبَإِ مُوسَىٰ وَفِرۡعَوۡنَ بِٱلۡحَقِّ لِقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ

3 . Tukusomera mu bwesimbu ebigambo bya Musa ne Firaawo (bibe bya mugaso) eri abantu abakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 28

إِنَّ فِرۡعَوۡنَ عَلَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَجَعَلَ أَهۡلَهَا شِيَعٗا يَسۡتَضۡعِفُ طَآئِفَةٗ مِّنۡهُمۡ يُذَبِّحُ أَبۡنَآءَهُمۡ وَيَسۡتَحۡيِۦ نِسَآءَهُمۡۚ إِنَّهُۥ كَانَ مِنَ ٱلۡمُفۡسِدِينَ

4 . Mazima Firaawo yeekuluntariza mu nsi, abantu baamu naabateekamu obubinjabinja, nga abonyaabonya ekibinja mu bo nga asala (natta) abaana baabwe abalenzi naalekawo abawala mu bo (mu kukola ekyo) naabeera mu boonoonyi. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 28

وَنُرِيدُ أَن نَّمُنَّ عَلَى ٱلَّذِينَ ٱسۡتُضۡعِفُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَنَجۡعَلَهُمۡ أَئِمَّةٗ وَنَجۡعَلَهُمُ ٱلۡوَٰرِثِينَ

5 . Era twayagala okubunduggula ebyengera ku abo abaayisibwa obubi ku nsi era tubafuule abakulembeze era tubafuule abasikira (ebyengera bali bye baaleka). info
التفاسير: