ශුද්ධවූ අල් කුර්ආන් අර්ථ කථනය - ලුගන්ඩා පරිවර්තනය - අප්‍රිකානු සංවර්ධන පදනම

Al–Muzzamil

external-link copy
1 : 73

يَٰٓأَيُّهَا ٱلۡمُزَّمِّلُ

1. Owange ggwe eyeebikkirira (olwokutya okwakutuukako bwewafuna obubaka okuva ku Malayika Jiburilu omulundi ogwasoka). info
التفاسير:

external-link copy
2 : 73

قُمِ ٱلَّيۡلَ إِلَّا قَلِيلٗا

2. Golokoka osaale ekiro mpozzi lekayo akaseera katono. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 73

نِّصۡفَهُۥٓ أَوِ ٱنقُصۡ مِنۡهُ قَلِيلًا

3. Oyinza okusaala ekitundu kye kiro oba okukendezaako katono. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 73

أَوۡ زِدۡ عَلَيۡهِ وَرَتِّلِ ٱلۡقُرۡءَانَ تَرۡتِيلًا

4. Oba oyinza okwongerako era bwoba osoma Kur'ani giwoomese. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 73

إِنَّا سَنُلۡقِي عَلَيۡكَ قَوۡلٗا ثَقِيلًا

5. Mazima ffe tujja kukutikka e kigambo ekizito. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 73

إِنَّ نَاشِئَةَ ٱلَّيۡلِ هِيَ أَشَدُّ وَطۡـٔٗا وَأَقۡوَمُ قِيلًا

6. Anti e sswala enzuukukire y'esinga okubuulirira omuntu (olw'okwerekereza otulo) era nga nebisomerwamu byebisinga okusomwa munsoma ennambulukufu. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 73

إِنَّ لَكَ فِي ٱلنَّهَارِ سَبۡحٗا طَوِيلٗا

7. Anti obudde obwemisana oleebukana nnyo (mu bintu ebirala). info
التفاسير:

external-link copy
8 : 73

وَٱذۡكُرِ ٱسۡمَ رَبِّكَ وَتَبَتَّلۡ إِلَيۡهِ تَبۡتِيلٗا

8. Kale nno tendereza erinnya lya Mukama Katondawo, e kiseera kyonna okimuwe. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 73

رَّبُّ ٱلۡمَشۡرِقِ وَٱلۡمَغۡرِبِ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ فَٱتَّخِذۡهُ وَكِيلٗا

9. Mukama Katonda omufuziwo buvanjuba n'obugwanjuba tewali kirala kyonna kisaanye kusinzibwa okugyako yye, kale nno gwoba wesigamako. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 73

وَٱصۡبِرۡ عَلَىٰ مَا يَقُولُونَ وَٱهۡجُرۡهُمۡ هَجۡرٗا جَمِيلٗا

10. Era ogumikirize kw'ebyo bye boogera era obaveeko mu ngeri e nnungi. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 73

وَذَرۡنِي وَٱلۡمُكَذِّبِينَ أُوْلِي ٱلنَّعۡمَةِ وَمَهِّلۡهُمۡ قَلِيلًا

11. Naye ndekera abalimbisa, abagagga fugge, era balindirize akaseera katono. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 73

إِنَّ لَدَيۡنَآ أَنكَالٗا وَجَحِيمٗا

12. Mazima tulina empingu n'omuliro Jahiim. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 73

وَطَعَامٗا ذَا غُصَّةٖ وَعَذَابًا أَلِيمٗا

13. N'ebyokulya ebitamirika n'ebibonerezo ebiruma. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 73

يَوۡمَ تَرۡجُفُ ٱلۡأَرۡضُ وَٱلۡجِبَالُ وَكَانَتِ ٱلۡجِبَالُ كَثِيبٗا مَّهِيلًا

14. Ebiribaawo ku lunaku e nsi n'ensozi lw'ebirikankana e nsozi ne zifuuka entuumo z'omusenyu ogufuumuka. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 73

إِنَّآ أَرۡسَلۡنَآ إِلَيۡكُمۡ رَسُولٗا شَٰهِدًا عَلَيۡكُمۡ كَمَآ أَرۡسَلۡنَآ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ رَسُولٗا

15. (Okuwona ebyo mukozese omukisa gwokuba nti) mazima ffe twabatumira omubaka nga yajja okubawaako obujulizi okufaananako nga bwe twatumira Firawo omubaka. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 73

فَعَصَىٰ فِرۡعَوۡنُ ٱلرَّسُولَ فَأَخَذۡنَٰهُ أَخۡذٗا وَبِيلٗا

16. Wabula Firawo yajeemera omubaka, kyetwava tumukwata olukwata olwamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 73

فَكَيۡفَ تَتَّقُونَ إِن كَفَرۡتُمۡ يَوۡمٗا يَجۡعَلُ ٱلۡوِلۡدَٰنَ شِيبًا

17. Kakati bwe mujeema muliwona mutya olunaku olulifuula abaana abato abakadde. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 73

ٱلسَّمَآءُ مُنفَطِرُۢ بِهِۦۚ كَانَ وَعۡدُهُۥ مَفۡعُولًا

18. Ate nga eggulu ligenda kuyulikamu olwebiribaawo ku lunaku olwo, nga ate Katonda kyalagaanyisa kiteekwa okutuukirira. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 73

إِنَّ هَٰذِهِۦ تَذۡكِرَةٞۖ فَمَن شَآءَ ٱتَّخَذَ إِلَىٰ رَبِّهِۦ سَبِيلًا

19. (Bwekiba nga bwekityo bwekiri), mazima ddala muteekwa mutwale Kur'ani nga kyakwebuulirira. N'olwekyo ayagala okuwona ateekeddwa okukwata ekkubo erimuzza eri Katonda we. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 73

۞ إِنَّ رَبَّكَ يَعۡلَمُ أَنَّكَ تَقُومُ أَدۡنَىٰ مِن ثُلُثَيِ ٱلَّيۡلِ وَنِصۡفَهُۥ وَثُلُثَهُۥ وَطَآئِفَةٞ مِّنَ ٱلَّذِينَ مَعَكَۚ وَٱللَّهُ يُقَدِّرُ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَۚ عَلِمَ أَن لَّن تُحۡصُوهُ فَتَابَ عَلَيۡكُمۡۖ فَٱقۡرَءُواْ مَا تَيَسَّرَ مِنَ ٱلۡقُرۡءَانِۚ عَلِمَ أَن سَيَكُونُ مِنكُم مَّرۡضَىٰ وَءَاخَرُونَ يَضۡرِبُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ يَبۡتَغُونَ مِن فَضۡلِ ٱللَّهِ وَءَاخَرُونَ يُقَٰتِلُونَ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِۖ فَٱقۡرَءُواْ مَا تَيَسَّرَ مِنۡهُۚ وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ وَأَقۡرِضُواْ ٱللَّهَ قَرۡضًا حَسَنٗاۚ وَمَا تُقَدِّمُواْ لِأَنفُسِكُم مِّنۡ خَيۡرٖ تَجِدُوهُ عِندَ ٱللَّهِ هُوَ خَيۡرٗا وَأَعۡظَمَ أَجۡرٗاۚ وَٱسۡتَغۡفِرُواْ ٱللَّهَۖ إِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمُۢ

20. Mazima Katonda wo akimanyi nti oyimirira ekiro ng'osaala emirundi egimu kumpi bibiri byakusatu byekiro, oluusi kimu kyakubiri nga n'olundi kimu kyakusatu era nga naabamu ku bakkiriza abali naawe bwebatyo bwe bakola nga ate Katonda yaawa ebiragiro ebikola ekiro n'emisana, era nga amanyi nti temuyinza kumalayo kiro kyonna nga mukola Ibaada kye yava abawa ekisonyiwo, kale nno musome kyemuba musobodde mu Kur'ani nga musaala ekiro anti amanyi nti mu mmwe mulimu abalwadde nga n'abalala bagenda kubeera mu safari nga batambudde mu nsi olwokunoonya ebigabwa bya Katonda nga nabandi bagenda kubeera mu ntabaalo z'okuweereza mu kkubo lya Katonda n'olwekyo musome ekyo kye muba musobodde mu Kur'ani nga musaala e sswala ya tahajjudi era muyimirizeewo e sswala eza faradha mutoole ne zzaka mu ngeri y'emu muwole Katonda oluwola olulungi nga muwaayo saddaaka. Akalungi konna kemweterekera mugenda ku kasanga mu maaso ga Katonda. Okukola ekyo kirungi era kyekirimu empeera ennene era musabe Katonda ekisonyiwo mazima Katonda musonyiyi oweekisa. info
التفاسير: