ශුද්ධවූ අල් කුර්ආන් අර්ථ කථනය - ලුගන්ඩා පරිවර්තනය - අප්‍රිකානු සංවර්ධන පදනම

පිටු අංක:close

external-link copy
191 : 2

وَٱقۡتُلُوهُمۡ حَيۡثُ ثَقِفۡتُمُوهُمۡ وَأَخۡرِجُوهُم مِّنۡ حَيۡثُ أَخۡرَجُوكُمۡۚ وَٱلۡفِتۡنَةُ أَشَدُّ مِنَ ٱلۡقَتۡلِۚ وَلَا تُقَٰتِلُوهُمۡ عِندَ ٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِ حَتَّىٰ يُقَٰتِلُوكُمۡ فِيهِۖ فَإِن قَٰتَلُوكُمۡ فَٱقۡتُلُوهُمۡۗ كَذَٰلِكَ جَزَآءُ ٱلۡكَٰفِرِينَ

191. Mubattenga wonna wemubanga mu basanze, era mubaggye mu bifo ebyo bye babaggyamu kubanga bulijjo effitina mbi nnyo okusinga okutta. Temubalwanyisizanga mu muzigiti ogw'emizizo okugyako nga babalwanyisizzaamu, bwe baba babalwanyisizza nammwe mubalwanyise; empeera y'abatakkiriza bw'etyo bwebeera. info
التفاسير:

external-link copy
192 : 2

فَإِنِ ٱنتَهَوۡاْ فَإِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٞ

192. Bwe baba beekomyeko mazima Katonda musonyiyi, musaasizi. info
التفاسير:

external-link copy
193 : 2

وَقَٰتِلُوهُمۡ حَتَّىٰ لَا تَكُونَ فِتۡنَةٞ وَيَكُونَ ٱلدِّينُ لِلَّهِۖ فَإِنِ ٱنتَهَوۡاْ فَلَا عُدۡوَٰنَ إِلَّا عَلَى ٱلظَّٰلِمِينَ

193. Mubalwanyise waleme kubaawo misanvu gyonna, olwo nno okusinza kwonna kube kwa Katonda yekka. Naye bwe baba beekomyeko olwo nno tewasaanye kubaawo bulabe okugyako ku balyazamaanyi. info
التفاسير:

external-link copy
194 : 2

ٱلشَّهۡرُ ٱلۡحَرَامُ بِٱلشَّهۡرِ ٱلۡحَرَامِ وَٱلۡحُرُمَٰتُ قِصَاصٞۚ فَمَنِ ٱعۡتَدَىٰ عَلَيۡكُمۡ فَٱعۡتَدُواْ عَلَيۡهِ بِمِثۡلِ مَا ٱعۡتَدَىٰ عَلَيۡكُمۡۚ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ مَعَ ٱلۡمُتَّقِينَ

194. Omwezi ogw'emizizo guba gwa mizizo ku buli luuyi. Omuntu atyoboola ebifo eby'emizizo aweebwa ekibonerezo ekigya mu kikolwa ky'aba akoze. Kale nno omuntu abalumbaganye mu mwolekeze obwanga nga bw'aba azze. Mutye Katonda era mumanye nti mazima ddala Katonda ali wamu n'abamutya. info
التفاسير:

external-link copy
195 : 2

وَأَنفِقُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَلَا تُلۡقُواْ بِأَيۡدِيكُمۡ إِلَى ٱلتَّهۡلُكَةِ وَأَحۡسِنُوٓاْۚ إِنَّ ٱللَّهَ يُحِبُّ ٱلۡمُحۡسِنِينَ

195. Era muweeyo mu kkubo lya Katonda temwesuulanga mmwe mwennyini mu kuzikirira, era mukole ebirungi, kubanga mazima ddala Katonda ayagala abakozi b'ebirungi. info
التفاسير:

external-link copy
196 : 2

وَأَتِمُّواْ ٱلۡحَجَّ وَٱلۡعُمۡرَةَ لِلَّهِۚ فَإِنۡ أُحۡصِرۡتُمۡ فَمَا ٱسۡتَيۡسَرَ مِنَ ٱلۡهَدۡيِۖ وَلَا تَحۡلِقُواْ رُءُوسَكُمۡ حَتَّىٰ يَبۡلُغَ ٱلۡهَدۡيُ مَحِلَّهُۥۚ فَمَن كَانَ مِنكُم مَّرِيضًا أَوۡ بِهِۦٓ أَذٗى مِّن رَّأۡسِهِۦ فَفِدۡيَةٞ مِّن صِيَامٍ أَوۡ صَدَقَةٍ أَوۡ نُسُكٖۚ فَإِذَآ أَمِنتُمۡ فَمَن تَمَتَّعَ بِٱلۡعُمۡرَةِ إِلَى ٱلۡحَجِّ فَمَا ٱسۡتَيۡسَرَ مِنَ ٱلۡهَدۡيِۚ فَمَن لَّمۡ يَجِدۡ فَصِيَامُ ثَلَٰثَةِ أَيَّامٖ فِي ٱلۡحَجِّ وَسَبۡعَةٍ إِذَا رَجَعۡتُمۡۗ تِلۡكَ عَشَرَةٞ كَامِلَةٞۗ ذَٰلِكَ لِمَن لَّمۡ يَكُنۡ أَهۡلُهُۥ حَاضِرِي ٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِۚ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ

196. Mukole Hijja ne Umra mubujjuvu kulwa Katonda naye bwe mulemesebwanga, buli muntu ateekwa okuwaayo ekirabo ky'aba asobola, wabula temumwanga mitwe gyammwe okutuusa ekirabo nga kituuse mu kifo kyakyo. Naye oyo an'abanga omulwadde mu mmwe oba ng'alina ekizibu ekirala ku mutwe gwe oyo ateekeddwa okutoola omutango ng'asiiba oba awaayo saddaaka oba okusala ekisolo. Naye bwe mun'abanga mu mirembe, oyo yenna anaakozesanga omukisa gw'okukulembeza Umra ku Hijja atekeddwa okuwaayo ekirabo ky'aba asobodde, naye oyo an'abanga takirina ateekeddwa okusiiba ennaku ssatu ng'akyali mu Hijja nendala musanvu nga muzzeeyo, eryo nno lyekkumi (10) eryekutte. Ebyo biba bityo ku oyo amakaage nga tegali wali muzigiti gw'emizizo (Makkah). Mutye Katonda, era mumanye nti mazima ddala Katonda alina ebibonerezo ebikakali. info
التفاسير: