Tradução dos significados do Nobre Qur’an. - Tradução para Uganda - Fundação Africana de Desenvolvimento

Ashamsu

external-link copy
1 : 91

وَٱلشَّمۡسِ وَضُحَىٰهَا

1. Ndayira e njuba n’okwaka kwayo. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 91

وَٱلۡقَمَرِ إِذَا تَلَىٰهَا

2. Era ndayira o mwezi bweguba nga gugoberedde e njuba (ng’egudde) info
التفاسير:

external-link copy
3 : 91

وَٱلنَّهَارِ إِذَا جَلَّىٰهَا

3. Era ndayira obudde obw’emisana nga bwerudde enjuba. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 91

وَٱلَّيۡلِ إِذَا يَغۡشَىٰهَا

4. Era ndayira ekiro bwe kiba nga kigibisse. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 91

وَٱلسَّمَآءِ وَمَا بَنَىٰهَا

5. Era ndayira e ggulu n’eyalitonda. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 91

وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا طَحَىٰهَا

6. Era ndayira e nsi n’oyo eyajaaliira. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 91

وَنَفۡسٖ وَمَا سَوَّىٰهَا

7. Era ndayira omuntu n’eyamutonda. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 91

فَأَلۡهَمَهَا فُجُورَهَا وَتَقۡوَىٰهَا

8. N’amuwa okwawula wakati w’ekibi n’ekirungi. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 91

قَدۡ أَفۡلَحَ مَن زَكَّىٰهَا

9. Yeesiimye alongoosa omwoyogwe okuguggya mu bibi. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 91

وَقَدۡ خَابَ مَن دَسَّىٰهَا

10. Aviiriddemu awo oyo agunnyika mu bibi. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 91

كَذَّبَتۡ ثَمُودُ بِطَغۡوَىٰهَآ

11. Abantu ba Thamuud, olw'obwonoonefu bwabwe baalimbisa (omubaka waabwe). info
التفاسير:

external-link copy
12 : 91

إِذِ ٱنۢبَعَثَ أَشۡقَىٰهَا

12. Asinga obwonoonefu mu bo bwe yeesowolayo (naafumita engamiya). info
التفاسير:

external-link copy
13 : 91

فَقَالَ لَهُمۡ رَسُولُ ٱللَّهِ نَاقَةَ ٱللَّهِ وَسُقۡيَٰهَا

13. Omubaka wa Katonda n’abagamba “muleke e ngamiya ya Katonda n’okunywa kwayo”. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 91

فَكَذَّبُوهُ فَعَقَرُوهَا فَدَمۡدَمَ عَلَيۡهِمۡ رَبُّهُم بِذَنۢبِهِمۡ فَسَوَّىٰهَا

14. Kyokka ne bamulimbisa ne bagifumita. Katonda omulabirizi waabwe kwe kubabuutikira olw’obwonoonefu bwabwe awatali n’omu kuwona info
التفاسير:

external-link copy
15 : 91

وَلَا يَخَافُ عُقۡبَٰهَا

15. Era tatya nkomerero y'ekyo (eky'okubazikiriza). info
التفاسير: