Tradução dos significados do Nobre Qur’an. - Tradução para Uganda - Fundação Africana de Desenvolvimento

Yusuf

external-link copy
1 : 12

الٓرۚ تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُبِينِ

1. Alif Laam Raa, bino bigambo by'ekitabo ekyeyolefu. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 12

إِنَّآ أَنزَلۡنَٰهُ قُرۡءَٰنًا عَرَبِيّٗا لَّعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ

2. Mazima ffe twakissa (ekitabo) nga kyakusoma nga kiri mu luwarabu mube nga mutegeera. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 12

نَحۡنُ نَقُصُّ عَلَيۡكَ أَحۡسَنَ ٱلۡقَصَصِ بِمَآ أَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡكَ هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانَ وَإِن كُنتَ مِن قَبۡلِهِۦ لَمِنَ ٱلۡغَٰفِلِينَ

3. Ffe tukutegeeza ebyafaayo ebisinga obulungi nga tukozesa obubaka bwe twakussaako (nga nabwo) ye Kur’ani eno, newaakubadde nga mu kusooka wali mu batamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 12

إِذۡ قَالَ يُوسُفُ لِأَبِيهِ يَٰٓأَبَتِ إِنِّي رَأَيۡتُ أَحَدَ عَشَرَ كَوۡكَبٗا وَٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَ رَأَيۡتُهُمۡ لِي سَٰجِدِينَ

4. Jjukira Yusuf bwe yagamba Kitaawe nti: owange Taata mazima nze nnaloose emmunyeenye kumi n'emu, n'omwezi, n'enjuba nabirabye nga binvunnamidde. info
التفاسير: