ߞߎ߬ߙߣߊ߬ ߞߟߊߒߞߋ ߞߘߐ ߟߎ߬ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߟߎߜ߭ߊ߲ߘߊߞߊ߲ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߝߘߊ߬ߝߌ߲߬ߠߊ߫ ߡߣߊ߬ߙߏ߲߬ߠߌ߲ ߜߙߋ߬ߡߊ߬ߕߍ߰ߘߊ ߓߟߏ߫

ߞߐߜߍ ߝߙߍߕߍ:close

external-link copy
74 : 43

إِنَّ ٱلۡمُجۡرِمِينَ فِي عَذَابِ جَهَنَّمَ خَٰلِدُونَ

74. Mazima abonoonyi ba kutuula bugenderevu mu bibonerezo byo muliro Jahannama. info
التفاسير:

external-link copy
75 : 43

لَا يُفَتَّرُ عَنۡهُمۡ وَهُمۡ فِيهِ مُبۡلِسُونَ

75. Tegugenda kukendezebwa ku bo, era nga bo tebalina na ssuubi lyonna lya kuguvaamu. info
التفاسير:

external-link copy
76 : 43

وَمَا ظَلَمۡنَٰهُمۡ وَلَٰكِن كَانُواْ هُمُ ٱلظَّٰلِمِينَ

76. Tetwabayisa bubi naye bo be baali beeyisa obubi. info
التفاسير:

external-link copy
77 : 43

وَنَادَوۡاْ يَٰمَٰلِكُ لِيَقۡضِ عَلَيۡنَا رَبُّكَۖ قَالَ إِنَّكُم مَّٰكِثُونَ

77. (Abaliba mu muliro) balikowoola nti owange Maliki (Malayika akuuma omuliro tusaba nti) Mukama omulabirizi wo atumalirewo ddala (tufe), alibagamba nti mazima mmwe muli ba kugubeeramu (awatali kufa oba okuguvaamu). info
التفاسير:

external-link copy
78 : 43

لَقَدۡ جِئۡنَٰكُم بِٱلۡحَقِّ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَكُمۡ لِلۡحَقِّ كَٰرِهُونَ

78. Mazima twabaleetera amazima naye abasinga obungi mu mmwe batamwanga amazima. info
التفاسير:

external-link copy
79 : 43

أَمۡ أَبۡرَمُوٓاْ أَمۡرٗا فَإِنَّا مُبۡرِمُونَ

79. Bwebaba nga baasalawo ekigambo (ekyokusalira (Muhammad enkwe) naffe twasalawo (okuba nti tezigenda kuyitamu). info
التفاسير:

external-link copy
80 : 43

أَمۡ يَحۡسَبُونَ أَنَّا لَا نَسۡمَعُ سِرَّهُمۡ وَنَجۡوَىٰهُمۚ بَلَىٰ وَرُسُلُنَا لَدَيۡهِمۡ يَكۡتُبُونَ

80. Oba balowooza nti mazima ffe tetuwulira ebyo bye balowooza mu mitima gyabwe oba bye bakubaganyaako ebirowoozo, nedda (tetukoma ku kubimanya bumanya, wabula webabikolera) nabatumwa baffe baba mu maaso gaabwe nga bawandiika. info
التفاسير:

external-link copy
81 : 43

قُلۡ إِن كَانَ لِلرَّحۡمَٰنِ وَلَدٞ فَأَنَا۠ أَوَّلُ ٱلۡعَٰبِدِينَ

81. Gamba nti singa Katonda omusaasizi ennyo aba alina omwana olwo nno nze mbeera musaale mu bamusinza. info
التفاسير:

external-link copy
82 : 43

سُبۡحَٰنَ رَبِّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ رَبِّ ٱلۡعَرۡشِ عَمَّا يَصِفُونَ

82. Mukama omulabirizi weggulu omusanvu ne nsi (era) omulabirizi wa Arish musukkulumu nnyo kwebyo bye bamujwetekako. info
التفاسير:

external-link copy
83 : 43

فَذَرۡهُمۡ يَخُوضُواْ وَيَلۡعَبُواْ حَتَّىٰ يُلَٰقُواْ يَوۡمَهُمُ ٱلَّذِي يُوعَدُونَ

83. Kale baleke balimbe era bazannye okutuusa lwe balisisinkanyizibwa olunaku lwabwe lwe balaganyisibwa. info
التفاسير:

external-link copy
84 : 43

وَهُوَ ٱلَّذِي فِي ٱلسَّمَآءِ إِلَٰهٞ وَفِي ٱلۡأَرۡضِ إِلَٰهٞۚ وَهُوَ ٱلۡحَكِيمُ ٱلۡعَلِيمُ

84. Anti yye (Katonda) ye Katonda mu ggulu, era ne mu nsi ye Katonda. Era yye ye mugoba nsonga omumanyi ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
85 : 43

وَتَبَارَكَ ٱلَّذِي لَهُۥ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَا وَعِندَهُۥ عِلۡمُ ٱلسَّاعَةِ وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ

85. Era yatukula oyo, byonna bibye ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi, n'ebyo ebiri wakati wa byombi, era ye yekka yalina okumanya ebikwata ku lunaku lw'enkomerero (ddi lwelituuka) era gyali gye mulizzibwa. info
التفاسير:

external-link copy
86 : 43

وَلَا يَمۡلِكُ ٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ مِن دُونِهِ ٱلشَّفَٰعَةَ إِلَّا مَن شَهِدَ بِٱلۡحَقِّ وَهُمۡ يَعۡلَمُونَ

86. Abo bebasinza nebava ku ye tebalisobola kuwolereza, be ppo oyo aliwa obujulizi mu mazima (yaliyogera) ate era bo nebaba nga baliba bamanyi amazima. info
التفاسير:

external-link copy
87 : 43

وَلَئِن سَأَلۡتَهُم مَّنۡ خَلَقَهُمۡ لَيَقُولُنَّ ٱللَّهُۖ فَأَنَّىٰ يُؤۡفَكُونَ

87. Singa obabuuza nti ani yabatonda? ddala bajja kugamba nti Katonda, kale ate bawugulwa batya!. info
التفاسير:

external-link copy
88 : 43

وَقِيلِهِۦ يَٰرَبِّ إِنَّ هَٰٓؤُلَآءِ قَوۡمٞ لَّا يُؤۡمِنُونَ

88. (Katonda amanyi) ekigambo kye (Muhammad kyayogera olutata nga awanjagira Katonda nti) ayi Mukama omulabirizi wange mazima abo (benkowoola) bantu abatakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
89 : 43

فَٱصۡفَحۡ عَنۡهُمۡ وَقُلۡ سَلَٰمٞۚ فَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ

89. Kale nno baleke era ogambe nti mirembe kya ddaaki balianya. info
التفاسير: