ߞߎ߬ߙߣߊ߬ ߞߟߊߒߞߋ ߞߘߐ ߟߎ߬ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߟߎߜ߭ߊ߲ߘߊߞߊ߲ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߝߘߊ߬ߝߌ߲߬ߠߊ߫ ߡߣߊ߬ߙߏ߲߬ߠߌ߲ ߜߙߋ߬ߡߊ߬ߕߍ߰ߘߊ ߓߟߏ߫

ߞߐߜߍ ߝߙߍߕߍ:close

external-link copy
61 : 43

وَإِنَّهُۥ لَعِلۡمٞ لِّلسَّاعَةِ فَلَا تَمۡتَرُنَّ بِهَا وَٱتَّبِعُونِۚ هَٰذَا صِرَٰطٞ مُّسۡتَقِيمٞ

61. Era mazima yye (Isa) kabonero akaliranga okusembera kw'olunaku lw'enkomerero, n'olwekyo temukibuusabusaamu naakamu era mungoberere, lino lye kkubo eggolokofu. info
التفاسير:

external-link copy
62 : 43

وَلَا يَصُدَّنَّكُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُۖ إِنَّهُۥ لَكُمۡ عَدُوّٞ مُّبِينٞ

62. Era Sitane tabasuuliranga emisanvu (mu kkubo) anti mazima yye ku mmwe mulabe owolwatu. info
التفاسير:

external-link copy
63 : 43

وَلَمَّا جَآءَ عِيسَىٰ بِٱلۡبَيِّنَٰتِ قَالَ قَدۡ جِئۡتُكُم بِٱلۡحِكۡمَةِ وَلِأُبَيِّنَ لَكُم بَعۡضَ ٱلَّذِي تَخۡتَلِفُونَ فِيهِۖ فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ

63. (Nabbi) Isa bweyajja nobunnyonnyofu yagamba nti mazima mbajjidde nebigambo ebyamagezi era mbannyonnyole ebimu kwebyo bye muwakanamu kale mutye Katonda era mungondere. info
التفاسير:

external-link copy
64 : 43

إِنَّ ٱللَّهَ هُوَ رَبِّي وَرَبُّكُمۡ فَٱعۡبُدُوهُۚ هَٰذَا صِرَٰطٞ مُّسۡتَقِيمٞ

64. Mazima Katonda ye Mukama omulabirizi wange era Mukama omulabirizi wa mmwe, kale mumusinze lino lye kkubo eggolokofu. info
التفاسير:

external-link copy
65 : 43

فَٱخۡتَلَفَ ٱلۡأَحۡزَابُ مِنۢ بَيۡنِهِمۡۖ فَوَيۡلٞ لِّلَّذِينَ ظَلَمُواْ مِنۡ عَذَابِ يَوۡمٍ أَلِيمٍ

65. Wabula ebibiina byayawukana nga biva mu bo bennyini (ku nsonga ya Isa) kale okubonabona okwe bibonyobonyo by'olunaku oluzito kugenda kubeera kwabo abeeyisa obubi. info
التفاسير:

external-link copy
66 : 43

هَلۡ يَنظُرُونَ إِلَّا ٱلسَّاعَةَ أَن تَأۡتِيَهُم بَغۡتَةٗ وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ

66. Abaffe (balina kye) balindirira okugyako ekiseera eky'enkomerero okuba nga kibajjira ekibwatukira nga nabo tebamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
67 : 43

ٱلۡأَخِلَّآءُ يَوۡمَئِذِۭ بَعۡضُهُمۡ لِبَعۡضٍ عَدُوٌّ إِلَّا ٱلۡمُتَّقِينَ

67. Abomukwano ku lunaku olwo, abamu baliba balabe ba bannabwe okugyako abatya Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
68 : 43

يَٰعِبَادِ لَا خَوۡفٌ عَلَيۡكُمُ ٱلۡيَوۡمَ وَلَآ أَنتُمۡ تَحۡزَنُونَ

68. (Era Katonda alilangirira nti) abange baddu bange temuggya kubaako kutya olwaleero era mmwe temuli ba kunakuwala. info
التفاسير:

external-link copy
69 : 43

ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ بِـَٔايَٰتِنَا وَكَانُواْ مُسۡلِمِينَ

69. Abo abakkiriza ebigambo byaffe era nebaba abewaayo gyetuli (abasiramu). info
التفاسير:

external-link copy
70 : 43

ٱدۡخُلُواْ ٱلۡجَنَّةَ أَنتُمۡ وَأَزۡوَٰجُكُمۡ تُحۡبَرُونَ

70. Muyingire e jjana ne bakkiriza bannammwe nga mwegazaanya. info
التفاسير:

external-link copy
71 : 43

يُطَافُ عَلَيۡهِم بِصِحَافٖ مِّن ذَهَبٖ وَأَكۡوَابٖۖ وَفِيهَا مَا تَشۡتَهِيهِ ٱلۡأَنفُسُ وَتَلَذُّ ٱلۡأَعۡيُنُۖ وَأَنتُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ

71. Essowani eza zzaabu n’a magiraasi biryetolozebwa mu bo, era (e jjana) eribaamu buli kintu emyoyo gye kyagala, era ekiwoomera amaaso, era nga mmwe muli ba kutuula bugenderevu mu yo. info
التفاسير:

external-link copy
72 : 43

وَتِلۡكَ ٱلۡجَنَّةُ ٱلَّتِيٓ أُورِثۡتُمُوهَا بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ

72. Era eyo e jjana, eyo gye mugisikiziddwa olwebyo bye mwakola (ku nsi). info
التفاسير:

external-link copy
73 : 43

لَكُمۡ فِيهَا فَٰكِهَةٞ كَثِيرَةٞ مِّنۡهَا تَأۡكُلُونَ

73. Mulina mu yo ebibala bingi nga ku byo kwemulya. info
التفاسير: