വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

പേജ് നമ്പർ:close

external-link copy
90 : 23

بَلۡ أَتَيۡنَٰهُم بِٱلۡحَقِّ وَإِنَّهُمۡ لَكَٰذِبُونَ

90 . Wabula twabaleetera amazima naye ddala bbo balimba. info
التفاسير:

external-link copy
91 : 23

مَا ٱتَّخَذَ ٱللَّهُ مِن وَلَدٖ وَمَا كَانَ مَعَهُۥ مِنۡ إِلَٰهٍۚ إِذٗا لَّذَهَبَ كُلُّ إِلَٰهِۭ بِمَا خَلَقَ وَلَعَلَا بَعۡضُهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖۚ سُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ عَمَّا يَصِفُونَ

91 . Katonda teyeeteerangawo mwana era tawabangawo naye katonda mulala, singa bwe kyali buli katonda yandigenze ne bye yatonda era abamu baaliwambye bannaabwe. Katonda yeesambidde ddala ebyo bye boogera. info
التفاسير:

external-link copy
92 : 23

عَٰلِمِ ٱلۡغَيۡبِ وَٱلشَّهَٰدَةِ فَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يُشۡرِكُونَ

92 . (Katonda) mumanyi wa byekusifu n'ebirabikako ali wala nnyo ku ebyo bye bamugattako. info
التفاسير:

external-link copy
93 : 23

قُل رَّبِّ إِمَّا تُرِيَنِّي مَا يُوعَدُونَ

93 . Gamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange, lwolindaga (ebibonerezo) ebyo bye balagaanyisibwa. info
التفاسير:

external-link copy
94 : 23

رَبِّ فَلَا تَجۡعَلۡنِي فِي ٱلۡقَوۡمِ ٱلظَّٰلِمِينَ

94 . Ayi Mukama omulabirizi wange tonteekanga mu bantu abeeyisa obubi. info
التفاسير:

external-link copy
95 : 23

وَإِنَّا عَلَىٰٓ أَن نُّرِيَكَ مَا نَعِدُهُمۡ لَقَٰدِرُونَ

95 . Era mazima ffe ku ky'okukulaga bye tubalagaanyisa tusobolera ddala. info
التفاسير:

external-link copy
96 : 23

ٱدۡفَعۡ بِٱلَّتِي هِيَ أَحۡسَنُ ٱلسَّيِّئَةَۚ نَحۡنُ أَعۡلَمُ بِمَا يَصِفُونَ

96 . Ggyawo ekibi nga okozesa ekyo ekisinga obulungi, ffe tusinga okumanya ebyo bye boogera. info
التفاسير:

external-link copy
97 : 23

وَقُل رَّبِّ أَعُوذُ بِكَ مِنۡ هَمَزَٰتِ ٱلشَّيَٰطِينِ

97 . Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nkusaba ompe obukuumi ku kubuzaabuza kwa Sitane. info
التفاسير:

external-link copy
98 : 23

وَأَعُوذُ بِكَ رَبِّ أَن يَحۡضُرُونِ

98 . Era Mukama omulabirizi wange nkusaba ompe obukuumi (Sitane) zireme kunsemberera. info
التفاسير:

external-link copy
99 : 23

حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءَ أَحَدَهُمُ ٱلۡمَوۡتُ قَالَ رَبِّ ٱرۡجِعُونِ

99 . (Baakubeera mu bubuze) okutuusa okufa lwe kujjira omu ku bo, naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange munzizeeyo (ku nsi). info
التفاسير:

external-link copy
100 : 23

لَعَلِّيٓ أَعۡمَلُ صَٰلِحٗا فِيمَا تَرَكۡتُۚ كَلَّآۚ إِنَّهَا كَلِمَةٌ هُوَ قَآئِلُهَاۖ وَمِن وَرَآئِهِم بَرۡزَخٌ إِلَىٰ يَوۡمِ يُبۡعَثُونَ

100 . Mbe nga nkola emirimu emirungi mu ebyo byessaakola, si bwe kiri mazima kyo kigambo bugambo yye kyayogera (naye nga tagenda kusobola kudda) ate era mu maaso gaabwe waliwo e kiseera (ekyawula wakati w'obulamu bw'ensi n'obw'oluvanyuma mwe balibeera) okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa. info
التفاسير:

external-link copy
101 : 23

فَإِذَا نُفِخَ فِي ٱلصُّورِ فَلَآ أَنسَابَ بَيۡنَهُمۡ يَوۡمَئِذٖ وَلَا يَتَسَآءَلُونَ

101 . Olwo nno engombe bwerifuuyibwa tewagenda kuba nganda wakati wa bwe ku lunaku olwo, era tebagenda kwogeraganya. info
التفاسير:

external-link copy
102 : 23

فَمَن ثَقُلَتۡ مَوَٰزِينُهُۥ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ

102 . Oyo yenna ebirizitowa ebipimwabye abo nno be b'okwesiima. info
التفاسير:

external-link copy
103 : 23

وَمَنۡ خَفَّتۡ مَوَٰزِينُهُۥ فَأُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ خَسِرُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ فِي جَهَنَّمَ خَٰلِدُونَ

103 . Ate oyo ebiriwewuka ebipimwabye abo nno be bafaafaaganirwa emyoyo gya bwe nga baakutuula lubeerera mu muliro Jahannama. info
التفاسير:

external-link copy
104 : 23

تَلۡفَحُ وُجُوهَهُمُ ٱلنَّارُ وَهُمۡ فِيهَا كَٰلِحُونَ

104 . Omuliro gulisiriiza ebyenyi bya bwe, balibeera mu gwo nga banyinyibadde. info
التفاسير: