വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

പേജ് നമ്പർ:close

external-link copy
28 : 23

فَإِذَا ٱسۡتَوَيۡتَ أَنتَ وَمَن مَّعَكَ عَلَى ٱلۡفُلۡكِ فَقُلِ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي نَجَّىٰنَا مِنَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلظَّٰلِمِينَ

28 . Ggwe n'abo abali naawe bwe mukkalira mu lyato olwo nno gamba nti okutenderezebwa kwonna kwa Katonda oyo atuwonyezza abantu abeeyisa obubi. info
التفاسير:

external-link copy
29 : 23

وَقُل رَّبِّ أَنزِلۡنِي مُنزَلٗا مُّبَارَكٗا وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلۡمُنزِلِينَ

29 . Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange (bwe ntuuka okuva mu lyato lino) nzisa mu kifo eky'omukisa anti ggwe osinga bonna abasalawo ebifo (eby'okubeeramu). info
التفاسير:

external-link copy
30 : 23

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ وَإِن كُنَّا لَمُبۡتَلِينَ

30 . Mazima ekyo kijjuddemu obubonero (obulaga obuyinza bwa Katonda) newaakubadde nga ate tubagezesa. info
التفاسير:

external-link copy
31 : 23

ثُمَّ أَنشَأۡنَا مِنۢ بَعۡدِهِمۡ قَرۡنًا ءَاخَرِينَ

31 . Ekyo nga kiwedde twatandikawo oluvanyuma lwa bwe omulembe omulala. info
التفاسير:

external-link copy
32 : 23

فَأَرۡسَلۡنَا فِيهِمۡ رَسُولٗا مِّنۡهُمۡ أَنِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ مَا لَكُم مِّنۡ إِلَٰهٍ غَيۡرُهُۥٓۚ أَفَلَا تَتَّقُونَ

32 . Netubatumamu omubaka ng'ava mu bo ng'abagamba nti musinze Katonda temulina kirala kyonna kye musaanye kusinza kitali yye, abaffe temutya (Katonda)!. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 23

وَقَالَ ٱلۡمَلَأُ مِن قَوۡمِهِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَكَذَّبُواْ بِلِقَآءِ ٱلۡأٓخِرَةِ وَأَتۡرَفۡنَٰهُمۡ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا مَا هَٰذَآ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُكُمۡ يَأۡكُلُ مِمَّا تَأۡكُلُونَ مِنۡهُ وَيَشۡرَبُ مِمَّا تَشۡرَبُونَ

33 . Abakungu abaakaafuwala mu bantube, era abaalimbisa okusisinkana olunaku lwe'nkomerero, era abo be twawa okweyagala mu bulamu bw'ensi, baagamba nti ono talina kyali okugyako muntu buntu nga mmwe, bye mulyako byalya, ne bye munywa byanywa. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 23

وَلَئِنۡ أَطَعۡتُم بَشَرٗا مِّثۡلَكُمۡ إِنَّكُمۡ إِذٗا لَّخَٰسِرُونَ

34 . Ate singa mugondera omuntu obuntu nga mmwe, mazima mmwe olwo munaaba mufaafaaganiddwa. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 23

أَيَعِدُكُمۡ أَنَّكُمۡ إِذَا مِتُّمۡ وَكُنتُمۡ تُرَابٗا وَعِظَٰمًا أَنَّكُم مُّخۡرَجُونَ

35 . Mbu abalagaanyisa nti mazima mmwe singa mufa ne muba ettaka era amagumba ameereere, nti mazima mmwe mugenda kudda!. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 23

۞ هَيۡهَاتَ هَيۡهَاتَ لِمَا تُوعَدُونَ

36 . Tekisoboka era tekisobokera ddala ekyo kye mulagaanyisibwa. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 23

إِنۡ هِيَ إِلَّا حَيَاتُنَا ٱلدُّنۡيَا نَمُوتُ وَنَحۡيَا وَمَا نَحۡنُ بِمَبۡعُوثِينَ

37 . (Ekituufu kiri nti) tewali bulamu bulala bwonna okugyako obulamu obw'ensi abamu muffe bava mu bulamu abalala ne bayingira. Era ffe tetugenda kuzuukuzibwa. info
التفاسير:

external-link copy
38 : 23

إِنۡ هُوَ إِلَّا رَجُلٌ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبٗا وَمَا نَحۡنُ لَهُۥ بِمُؤۡمِنِينَ

38 . Tali yye okugyako okuba nti musajja agunja ku Katonda ebigambo eby'obulimba, era ffe tetujja kumukkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
39 : 23

قَالَ رَبِّ ٱنصُرۡنِي بِمَا كَذَّبُونِ

39 . (Omubaka) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange ntaasa ku kunnimbisa kwa bwe. info
التفاسير:

external-link copy
40 : 23

قَالَ عَمَّا قَلِيلٖ لَّيُصۡبِحُنَّ نَٰدِمِينَ

40 . (Katonda) naagamba nti mu kaseera katono nnyo bajja kuba bejjusa. info
التفاسير:

external-link copy
41 : 23

فَأَخَذَتۡهُمُ ٱلصَّيۡحَةُ بِٱلۡحَقِّ فَجَعَلۡنَٰهُمۡ غُثَآءٗۚ فَبُعۡدٗا لِّلۡقَوۡمِ ٱلظَّٰلِمِينَ

41 . Okubwatuka ne kubatuukako era nga kye kibasaanira ne tubafuula ebisasiro. N'olwekyo babeere wala nnyo abantu abeeyisa obubi. info
التفاسير:

external-link copy
42 : 23

ثُمَّ أَنشَأۡنَا مِنۢ بَعۡدِهِمۡ قُرُونًا ءَاخَرِينَ

42 . Ekyo nga kiwedde twatandikawo oluvanyuma lwa bwe emirembe emirala. info
التفاسير: