Kilniojo Korano reikšmių vertimas - Vertimas į luganda k. - Afrikos vystymosi fondas

At-Takaathur

external-link copy
1 : 102

أَلۡهَىٰكُمُ ٱلتَّكَاثُرُ

1. Okunoonya okufuna ebingi, kubalabankanyizza (ne kubajja ku kugondera amateeka ga Katonda). info
التفاسير:

external-link copy
2 : 102

حَتَّىٰ زُرۡتُمُ ٱلۡمَقَابِرَ

2. Okutuusa lwe muyingira kabbuli. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 102

كَلَّا سَوۡفَ تَعۡلَمُونَ

3. Nedda, kyaddaki mujja kumanya (mu kiseera ky'okufa) info
التفاسير:

external-link copy
4 : 102

ثُمَّ كَلَّا سَوۡفَ تَعۡلَمُونَ

4. Ate era oluvanyuma, kyaddaki mujja kumanya (nga muyingidde kabbuli) info
التفاسير:

external-link copy
5 : 102

كَلَّا لَوۡ تَعۡلَمُونَ عِلۡمَ ٱلۡيَقِينِ

5. Nedda, singa nga mubadde mumanyi mu bukakafu bw'okumanya (temwandirabankanyiziddwa na kukungaanya bingi) info
التفاسير:

external-link copy
6 : 102

لَتَرَوُنَّ ٱلۡجَحِيمَ

6. Mujja kulabira ddala omuliro “Jahiim”. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 102

ثُمَّ لَتَرَوُنَّهَا عَيۡنَ ٱلۡيَقِينِ

7. Ate oluvanyuma omuliro ogwo mujja kugulaba mugutegeerere ddala. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 102

ثُمَّ لَتُسۡـَٔلُنَّ يَوۡمَئِذٍ عَنِ ٱلنَّعِيمِ

8. Ate ddala oluvanyuma mugenda kubuuzibwa e byengera bye mwafuna ku nsi (mwabifuna mu makubo ki, era mwabisaasaanya mu makubo ki). info
التفاسير: