وه‌رگێڕانی ماناكانی قورئانی پیرۆز - وەرگێڕاوی لوغوندی - دامەزراوەی ئەفریقی بۆ گەشەپێدان

ژمارەی پەڕە:close

external-link copy
20 : 47

وَيَقُولُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَوۡلَا نُزِّلَتۡ سُورَةٞۖ فَإِذَآ أُنزِلَتۡ سُورَةٞ مُّحۡكَمَةٞ وَذُكِرَ فِيهَا ٱلۡقِتَالُ رَأَيۡتَ ٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ يَنظُرُونَ إِلَيۡكَ نَظَرَ ٱلۡمَغۡشِيِّ عَلَيۡهِ مِنَ ٱلۡمَوۡتِۖ فَأَوۡلَىٰ لَهُمۡ

20. Abo abakkiriza bagamba nti singa essura (eragira olutalo) essibwa, naye essura neemala essibwa nga eyogera mu bulambulukufu nga n'okulwana kwogerwako mu yo, olaba abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe nga bakutunuulira entunula ey’omuntu azirise ku lwokutya okufa. Ekyalisinze obulungi gyebali. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 47

طَاعَةٞ وَقَوۡلٞ مَّعۡرُوفٞۚ فَإِذَا عَزَمَ ٱلۡأَمۡرُ فَلَوۡ صَدَقُواْ ٱللَّهَ لَكَانَ خَيۡرٗا لَّهُمۡ

21. (Kwe) kugonda, n'ebigambo ebirungi, naye ekigambo bwe kimala okukakata, kale singa batuukiriza bye balagaanyisa Katonda kye kyalisinze obulungi gye bali. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 47

فَهَلۡ عَسَيۡتُمۡ إِن تَوَلَّيۡتُمۡ أَن تُفۡسِدُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَتُقَطِّعُوٓاْ أَرۡحَامَكُمۡ

22. Abaffe musuubira nti singa mukulembera (ne muba abafuzi) nti munayonoona mu nsi ne mukutula enganda zammwe. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 47

أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ لَعَنَهُمُ ٱللَّهُ فَأَصَمَّهُمۡ وَأَعۡمَىٰٓ أَبۡصَٰرَهُمۡ

23. (Abakola ebyo) abo beebo Katonda beyakolimira naabaggala amatu era naaziba amaaso gaabwe. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 47

أَفَلَا يَتَدَبَّرُونَ ٱلۡقُرۡءَانَ أَمۡ عَلَىٰ قُلُوبٍ أَقۡفَالُهَآ

24. Abaffe tebetegereza Kur’ani, oba emitima gyegiriko ekkufulu zaagyo. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 47

إِنَّ ٱلَّذِينَ ٱرۡتَدُّواْ عَلَىٰٓ أَدۡبَٰرِهِم مِّنۢ بَعۡدِ مَا تَبَيَّنَ لَهُمُ ٱلۡهُدَى ٱلشَّيۡطَٰنُ سَوَّلَ لَهُمۡ وَأَمۡلَىٰ لَهُمۡ

25. Mazima abo abakyuka ne badda gyebaava (nebaleka obusiraamu) oluvanyuma lw’obulungamu okuberambikira, Sitane yeyabibalaga nti birungi era nabasuubiza ebyobulimba. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 47

ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ قَالُواْ لِلَّذِينَ كَرِهُواْ مَا نَزَّلَ ٱللَّهُ سَنُطِيعُكُمۡ فِي بَعۡضِ ٱلۡأَمۡرِۖ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ إِسۡرَارَهُمۡ

26. Ekyo nno, lwakuba nti mazima bo, bagamba abatayagala Katonda byeyassa, nti tujja kubagondera mu bintu ebimu. Era bulijjo Katonda amanyi ebyama byabwe. info
التفاسير:

external-link copy
27 : 47

فَكَيۡفَ إِذَا تَوَفَّتۡهُمُ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ يَضۡرِبُونَ وُجُوهَهُمۡ وَأَدۡبَٰرَهُمۡ

27. Olwo nno baba ngeri ki Malayika bwezibatusaako entuuko zaabwe, nga zikuba ebyenyi byabwe n’obutuuliro bwabwe. info
التفاسير:

external-link copy
28 : 47

ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمُ ٱتَّبَعُواْ مَآ أَسۡخَطَ ٱللَّهَ وَكَرِهُواْ رِضۡوَٰنَهُۥ فَأَحۡبَطَ أَعۡمَٰلَهُمۡ

28. Ekyo (bwekityo bwekiriba) olwokuba nti mazima bo baagoberera ebyo ebinyiiza Katonda nebakyawa okusiima kwe, olwo nno naayonoona emirimu gyabwe. info
التفاسير:

external-link copy
29 : 47

أَمۡ حَسِبَ ٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٌ أَن لَّن يُخۡرِجَ ٱللَّهُ أَضۡغَٰنَهُمۡ

29. Abaffe abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe basuubira nti Katonda tagenda kuggyayo bukukuuzi bwabwe (bwe balina ku Nabbi Muhammad). info
التفاسير: