ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
31 : 78

إِنَّ لِلۡمُتَّقِينَ مَفَازًا

31. Mazima abatya Katonda bajja kufuna okwesiima (okulimu buli kyonna kye baagala). info
التفاسير:

external-link copy
32 : 78

حَدَآئِقَ وَأَعۡنَٰبٗا

32. Amalimiro n’emizabbibu. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 78

وَكَوَاعِبَ أَتۡرَابٗا

33. N’abawala ab’amabeere amatutu. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 78

وَكَأۡسٗا دِهَاقٗا

34. N’amagiraasi agajjudde eby’okunywa. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 78

لَّا يَسۡمَعُونَ فِيهَا لَغۡوٗا وَلَا كِذَّٰبٗا

35. Nga bali mu yo (e jjana) tebagenda kuwulira bigambo bya butaliimu wadde eby’obulimba. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 78

جَزَآءٗ مِّن رَّبِّكَ عَطَآءً حِسَابٗا

36. Nga y’empeera okuva eri omulezi wo, nga kuweebwa okumatiza. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 78

رَّبِّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَا ٱلرَّحۡمَٰنِۖ لَا يَمۡلِكُونَ مِنۡهُ خِطَابٗا

37. Oyo nanyini Ggulu omusanvu n’ensi n’ebiri wakati wa byombi, oweekisa ekingi, tebalyetantala kwogeraganya naye. info
التفاسير:

external-link copy
38 : 78

يَوۡمَ يَقُومُ ٱلرُّوحُ وَٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ صَفّٗاۖ لَّا يَتَكَلَّمُونَ إِلَّا مَنۡ أَذِنَ لَهُ ٱلرَّحۡمَٰنُ وَقَالَ صَوَابٗا

38. Jiburilu ne ba malayika abalala ku lunaku lwe baliyimirira nga bali mu nnyiriri nga bonna tewali ayogera okugyako oyo yekka Katonda omusaasizi, gw’aliba akkiriza okwogera ate n'ayogera bituufu. info
التفاسير:

external-link copy
39 : 78

ذَٰلِكَ ٱلۡيَوۡمُ ٱلۡحَقُّۖ فَمَن شَآءَ ٱتَّخَذَ إِلَىٰ رَبِّهِۦ مَـَٔابًا

39. Olwo lwe lunaku olw’amazima. Omuntu ayagala emirembe alwetegekere afune obuddo eri Katonda we. info
التفاسير:

external-link copy
40 : 78

إِنَّآ أَنذَرۡنَٰكُمۡ عَذَابٗا قَرِيبٗا يَوۡمَ يَنظُرُ ٱلۡمَرۡءُ مَا قَدَّمَتۡ يَدَاهُ وَيَقُولُ ٱلۡكَافِرُ يَٰلَيۡتَنِي كُنتُ تُرَٰبَۢا

40. Mazima tubatiisizza ebibonerezo ebiri okumpi ennyo. Olunaku omuntu lw’aliraba ebyo emikono gye bye gyakola. Ku lunaku olwo omukaafiiri aligamba: ye nga zinsanze, singa nfuuse ettaka. info
التفاسير: