ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

An – Nabae

external-link copy
1 : 78

عَمَّ يَتَسَآءَلُونَ

1. Beebuuzaganya ku ki? info
التفاسير:

external-link copy
2 : 78

عَنِ ٱلنَّبَإِ ٱلۡعَظِيمِ

2. Ku kigambo e kinene. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 78

ٱلَّذِي هُمۡ فِيهِ مُخۡتَلِفُونَ

3. Ekigambo kye baawukaniramu ddala. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 78

كَلَّا سَيَعۡلَمُونَ

4. Ekyo ssi bwekiri, bajja kumanya. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 78

ثُمَّ كَلَّا سَيَعۡلَمُونَ

5. Oluvanyuma nedda bajja kumanyira ddala. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 78

أَلَمۡ نَجۡعَلِ ٱلۡأَرۡضَ مِهَٰدٗا

6. Abaffe tetwabafuula e nsi e kyaliiro. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 78

وَٱلۡجِبَالَ أَوۡتَادٗا

7. N’ensozi ne tuzifuula enkondo (eziginyweza obutayuuga). info
التفاسير:

external-link copy
8 : 78

وَخَلَقۡنَٰكُمۡ أَزۡوَٰجٗا

8. Ne tubatonda mu ngeri bbiri (omukazi n’omusajja). info
التفاسير:

external-link copy
9 : 78

وَجَعَلۡنَا نَوۡمَكُمۡ سُبَاتٗا

9. Ne tufuula okwebaka kwa mmwe nga kiwummulo. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 78

وَجَعَلۡنَا ٱلَّيۡلَ لِبَاسٗا

10. Ne tufuula ekiro ekyambalo ekibabikka (olw’enzikiza yaakyo) info
التفاسير:

external-link copy
11 : 78

وَجَعَلۡنَا ٱلنَّهَارَ مَعَاشٗا

11. Ne tufuula emisana omunoonyezebwa eky’okubabeezaawo. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 78

وَبَنَيۡنَا فَوۡقَكُمۡ سَبۡعٗا شِدَادٗا

12. Ne tuzimba waggulu wa mmwe emyaliiro emigumu musanvu. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 78

وَجَعَلۡنَا سِرَاجٗا وَهَّاجٗا

13. Ne tuteekawo ettaala (enjuba) eyaka. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 78

وَأَنزَلۡنَا مِنَ ٱلۡمُعۡصِرَٰتِ مَآءٗ ثَجَّاجٗا

14. Ne tussa okuva mu bire by’enkuba amazzi agafukumuka. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 78

لِّنُخۡرِجَ بِهِۦ حَبّٗا وَنَبَاتٗا

15. Tulyoke tumeze nago empeke n’ebimera (ebirala). info
التفاسير:

external-link copy
16 : 78

وَجَنَّٰتٍ أَلۡفَافًا

16. N’amalimiro amasaakaativu. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 78

إِنَّ يَوۡمَ ٱلۡفَصۡلِ كَانَ مِيقَٰتٗا

17. Mazima olunaku lw’okulamula lwaweebwa e kiseera e kigere. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 78

يَوۡمَ يُنفَخُ فِي ٱلصُّورِ فَتَأۡتُونَ أَفۡوَاجٗا

18. Olwo Lwe lunaku e ngombe lw'erifuuyibwa ne mujja nga muli bibinja. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 78

وَفُتِحَتِ ٱلسَّمَآءُ فَكَانَتۡ أَبۡوَٰبٗا

19. N’eggulu ne liggulwawo ne libeerako e miryango. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 78

وَسُيِّرَتِ ٱلۡجِبَالُ فَكَانَتۡ سَرَابًا

20. N’ensozi nezikungunsibwa ne ziba nga ezitabangawo. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 78

إِنَّ جَهَنَّمَ كَانَتۡ مِرۡصَادٗا

21. Mazima omuliro Jahannama weeguli gulinze. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 78

لِّلطَّٰغِينَ مَـَٔابٗا

22. Nga bwe buddo bw’abo abamawaggali eri Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 78

لَّٰبِثِينَ فِيهَآ أَحۡقَابٗا

23. Baakugubeeramu byeya na byeya. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 78

لَّا يَذُوقُونَ فِيهَا بَرۡدٗا وَلَا شَرَابًا

24. Nga bali mu gwo tebagenda kufuna buweerero wadde ak'okunywa akaweweeza. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 78

إِلَّا حَمِيمٗا وَغَسَّاقٗا

25. Okugyako olweje n’amasira Ag'olusaayisaayi. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 78

جَزَآءٗ وِفَاقًا

26. Nga y’empeera ebasaanira. info
التفاسير:

external-link copy
27 : 78

إِنَّهُمۡ كَانُواْ لَا يَرۡجُونَ حِسَابٗا

27. Kubanga baali tebasuubira nti walibayo okubalibwa. info
التفاسير:

external-link copy
28 : 78

وَكَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا كِذَّابٗا

28. Ne balimbisa nnyo ebigambo byaffe. info
التفاسير:

external-link copy
29 : 78

وَكُلَّ شَيۡءٍ أَحۡصَيۡنَٰهُ كِتَٰبٗا

29. So ng’ate buli kintu twakikuuma mu bujjuvu, mu buwandiike. info
التفاسير:

external-link copy
30 : 78

فَذُوقُواْ فَلَن نَّزِيدَكُمۡ إِلَّا عَذَابًا

30. Kale mukombe ku kibabu ky'ebikolwa byammwe kubanga tetujja kubongera okugyako ebibonerezo. info
التفاسير: