ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
34 : 43

وَلِبُيُوتِهِمۡ أَبۡوَٰبٗا وَسُرُرًا عَلَيۡهَا يَتَّكِـُٔونَ

34. Nga ne ku nyumba zaabwe twanditaddeko emiryango ne ku bitanda bye bawummulirako (nakwo twanditaddeko ffeeza). info
التفاسير:

external-link copy
35 : 43

وَزُخۡرُفٗاۚ وَإِن كُلُّ ذَٰلِكَ لَمَّا مَتَٰعُ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۚ وَٱلۡأٓخِرَةُ عِندَ رَبِّكَ لِلۡمُتَّقِينَ

35. Era (twandibawadde) ebyokwewunda nga bya zzaabu, ebyo byonna tebiri okugyako okuba nga bya kweyagala bya bulamu bwansi, so nga enkomerero ewa Mukama omulabiriziwo, ya batya Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 43

وَمَن يَعۡشُ عَن ذِكۡرِ ٱلرَّحۡمَٰنِ نُقَيِّضۡ لَهُۥ شَيۡطَٰنٗا فَهُوَ لَهُۥ قَرِينٞ

36. (Nooyo yenna eyesulubabba ebigambo bya Katonda (Kur’ani) tumuteerawo Sitane olwo nno neba nga ye mukwanogwe. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 43

وَإِنَّهُمۡ لَيَصُدُّونَهُمۡ عَنِ ٱلسَّبِيلِ وَيَحۡسَبُونَ أَنَّهُم مُّهۡتَدُونَ

37. Era mazima bo bannaabwe (ba Sitane) ddala babaziyiza okutuuka ku kkubo (eggolokofu) ate mazima bo ne basuubira nti balungamu. info
التفاسير:

external-link copy
38 : 43

حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءَنَا قَالَ يَٰلَيۡتَ بَيۡنِي وَبَيۡنَكَ بُعۡدَ ٱلۡمَشۡرِقَيۡنِ فَبِئۡسَ ٱلۡقَرِينُ

38. Okutuusa (omuntu oyo eyesulubabba) lwalijja gyetuli aligamba nti nga ndabye, singa wakati wange naawe waliwo ebbanga eryenkana wakati we buvanjuba ne bugwanjuba, agenda kuba munywanyi mubi!. info
التفاسير:

external-link copy
39 : 43

وَلَن يَنفَعَكُمُ ٱلۡيَوۡمَ إِذ ظَّلَمۡتُمۡ أَنَّكُمۡ فِي ٱلۡعَذَابِ مُشۡتَرِكُونَ

39. Mazima mmwe ekyokuba nti mwegattidde mu bibonerezo tekijja kubagasa olwaleero okuva lwe mweyisa obubi mwekka. info
التفاسير:

external-link copy
40 : 43

أَفَأَنتَ تُسۡمِعُ ٱلصُّمَّ أَوۡ تَهۡدِي ٱلۡعُمۡيَ وَمَن كَانَ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ

40. Abaffe ggwe (Muhammad) osobola okuwuliza kiggala oba okulaga muzibe ekkubo nooyo ali mu bubuze obweyolefu. info
التفاسير:

external-link copy
41 : 43

فَإِمَّا نَذۡهَبَنَّ بِكَ فَإِنَّا مِنۡهُم مُّنتَقِمُونَ

41. Singa tukugyawo (noofa nga tetunnaba kubonereza bajeemu abo) mazima ffe tuba ba ku babonereza. info
التفاسير:

external-link copy
42 : 43

أَوۡ نُرِيَنَّكَ ٱلَّذِي وَعَدۡنَٰهُمۡ فَإِنَّا عَلَيۡهِم مُّقۡتَدِرُونَ

42. Oba tulikulaga ekyo kye twa balaganyisa anti mazima ffe tusobola. info
التفاسير:

external-link copy
43 : 43

فَٱسۡتَمۡسِكۡ بِٱلَّذِيٓ أُوحِيَ إِلَيۡكَۖ إِنَّكَ عَلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ

43. Kale wekwate kwekyo ekikuweebwa (Kur’ani) anti mazima ggwe oli ku kkubo eggolokofu. info
التفاسير:

external-link copy
44 : 43

وَإِنَّهُۥ لَذِكۡرٞ لَّكَ وَلِقَوۡمِكَۖ وَسَوۡفَ تُسۡـَٔلُونَ

44. Era mazima yo (Kur’ani) kitiibwa gyoli neeri abantu bo era lumu mugenda kubuuzibwa (ku ngeri gye mwagigobereramu). info
التفاسير:

external-link copy
45 : 43

وَسۡـَٔلۡ مَنۡ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ مِن رُّسُلِنَآ أَجَعَلۡنَا مِن دُونِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ءَالِهَةٗ يُعۡبَدُونَ

45. Buuza abo betwatuma oluberyeberye lwo mu babaka baffe nti, abaffe twaleka Katonda omusaasizi ennyo netuteekawo bu katonda obulala obusinzibwa!. info
التفاسير:

external-link copy
46 : 43

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا مُوسَىٰ بِـَٔايَٰتِنَآ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ وَمَلَإِيْهِۦ فَقَالَ إِنِّي رَسُولُ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

46. Mazima twatuma Musa n’obubonero bwaffe nti genda eri Falawo na bakungu be, olwo nno nabagamba nti mazima nze ndi mubaka w'omulabirizi w’ebitonde. info
التفاسير:

external-link copy
47 : 43

فَلَمَّا جَآءَهُم بِـَٔايَٰتِنَآ إِذَا هُم مِّنۡهَا يَضۡحَكُونَ

47. Wabula bwe yabajjira n’obubonero bwaffe wagenda okulaba nga babusekerera. info
التفاسير: