ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
11 : 43

وَٱلَّذِي نَزَّلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءَۢ بِقَدَرٖ فَأَنشَرۡنَا بِهِۦ بَلۡدَةٗ مَّيۡتٗاۚ كَذَٰلِكَ تُخۡرَجُونَ

11. Era oyo assa okuva waggulu amazzi nga ga kigero (ekyetaagisa) netuzza bugya nago ekitundu ekifu (olwekyeya) bwemutyo bwe mulifulumizibwa (nga muzuukira). info
التفاسير:

external-link copy
12 : 43

وَٱلَّذِي خَلَقَ ٱلۡأَزۡوَٰجَ كُلَّهَا وَجَعَلَ لَكُم مِّنَ ٱلۡفُلۡكِ وَٱلۡأَنۡعَٰمِ مَا تَرۡكَبُونَ

12. Era yooyo eyatonda emitindo ebiri ebiri gyonna era nabateerawo amaato n’ebisolo ebyawaka ebyo bye mwebagala. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 43

لِتَسۡتَوُۥاْ عَلَىٰ ظُهُورِهِۦ ثُمَّ تَذۡكُرُواْ نِعۡمَةَ رَبِّكُمۡ إِذَا ٱسۡتَوَيۡتُمۡ عَلَيۡهِ وَتَقُولُواْ سُبۡحَٰنَ ٱلَّذِي سَخَّرَ لَنَا هَٰذَا وَمَا كُنَّا لَهُۥ مُقۡرِنِينَ

13. Mube nga mutebenkera ku migongo gyazo, oluvanyuma musiime ekyengera kya Mukama omulabirizi wa mmwe wemuzituulirako, era mugambe nti, musukkulumu oyo eyatugondeza kino tetwandibadde bakisobola. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 43

وَإِنَّآ إِلَىٰ رَبِّنَا لَمُنقَلِبُونَ

14. Era mazima ddala ffe tuli ba kudda ewa Mukama omulabirizi waffe. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 43

وَجَعَلُواْ لَهُۥ مِنۡ عِبَادِهِۦ جُزۡءًاۚ إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لَكَفُورٞ مُّبِينٌ

15. Naye abatakkiriza bateeka ku Katonda abamu ku baddube (nti nabo ba Katonda), mazima omuntu mwewakanyi omweyolefu. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 43

أَمِ ٱتَّخَذَ مِمَّا يَخۡلُقُ بَنَاتٖ وَأَصۡفَىٰكُم بِٱلۡبَنِينَ

16. Oba mwebyo byatonda mweyasalawo okwegyira abawala ate mmwe naasalawo okubawa abalenzi. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 43

وَإِذَا بُشِّرَ أَحَدُهُم بِمَا ضَرَبَ لِلرَّحۡمَٰنِ مَثَلٗا ظَلَّ وَجۡهُهُۥ مُسۡوَدّٗا وَهُوَ كَظِيمٌ

17. So nga omu kubo bwaba aweereddwa amawulire nti afunye omwana agwa mu kiti kyabo be bapaatiika ku Katonda ekyenyi kye kisiiba kifumye era nga naye munyiikaavu. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 43

أَوَمَن يُنَشَّؤُاْ فِي ٱلۡحِلۡيَةِ وَهُوَ فِي ٱلۡخِصَامِ غَيۡرُ مُبِينٖ

18. Abaffe oyo akuzibwa ng’ali mu bya kwenyiriza, era nga yye mu kunnyonnyola taba na nsonga nywevu (gwemuwa Katonda!). info
التفاسير:

external-link copy
19 : 43

وَجَعَلُواْ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةَ ٱلَّذِينَ هُمۡ عِبَٰدُ ٱلرَّحۡمَٰنِ إِنَٰثًاۚ أَشَهِدُواْ خَلۡقَهُمۡۚ سَتُكۡتَبُ شَهَٰدَتُهُمۡ وَيُسۡـَٔلُونَ

19. Ba Malayika abo, abaddu ba Katonda omusaasizi ne babafuula abakazi! abaffe baaliwo nga batondwa? Obujulizi bwabwe (bwe bepampalika okuwa) bujja kuwandiikibwa era bagenda kubuuzibwa. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 43

وَقَالُواْ لَوۡ شَآءَ ٱلرَّحۡمَٰنُ مَا عَبَدۡنَٰهُمۗ مَّا لَهُم بِذَٰلِكَ مِنۡ عِلۡمٍۖ إِنۡ هُمۡ إِلَّا يَخۡرُصُونَ

20. Era bagamba nti singa Katonda omusaasizi ennyo yayagala tetwandibasinzizza ekyo tebakirinaako kumanya kwonna, tebali (mu kukola ekyo) okugyako bateebereza buteebereza. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 43

أَمۡ ءَاتَيۡنَٰهُمۡ كِتَٰبٗا مِّن قَبۡلِهِۦ فَهُم بِهِۦ مُسۡتَمۡسِكُونَ

21. Abaffe twabawa ekitabo oluberyeberye lwakino (ekikolwa kyabwe) balyoke babe nga kye bekwatako. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 43

بَلۡ قَالُوٓاْ إِنَّا وَجَدۡنَآ ءَابَآءَنَا عَلَىٰٓ أُمَّةٖ وَإِنَّا عَلَىٰٓ ءَاثَٰرِهِم مُّهۡتَدُونَ

22. Wabula bagamba nti mazima ffe twasanga baganda baffe nga bali ku nkola, era mazima ffe tuli ku buwufu bwabwe kwe tulungamira. info
التفاسير: