ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
62 : 38

وَقَالُواْ مَا لَنَا لَا نَرَىٰ رِجَالٗا كُنَّا نَعُدُّهُم مِّنَ ٱلۡأَشۡرَارِ

62. Era (aboonoonyi) baligamba nti lwaki tetulaba bantu betwali tubalira mu babi!. info
التفاسير:

external-link copy
63 : 38

أَتَّخَذۡنَٰهُمۡ سِخۡرِيًّا أَمۡ زَاغَتۡ عَنۡهُمُ ٱلۡأَبۡصَٰرُ

63. Abaffe twabafuula eky'okujeeja (so nga baali balungi) oba amaaso ge gatabalaba. info
التفاسير:

external-link copy
64 : 38

إِنَّ ذَٰلِكَ لَحَقّٞ تَخَاصُمُ أَهۡلِ ٱلنَّارِ

64. Mazima ebyo (ebyogeddwa) ddala (okwo kwe kuliba) okuyombagana kw'abantu bo mu muliro. info
التفاسير:

external-link copy
65 : 38

قُلۡ إِنَّمَآ أَنَا۠ مُنذِرٞۖ وَمَا مِنۡ إِلَٰهٍ إِلَّا ٱللَّهُ ٱلۡوَٰحِدُ ٱلۡقَهَّارُ

65. Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) mazima nze ndi mutiisa era tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu okugyako Katonda ali omu nantalemwa. info
التفاسير:

external-link copy
66 : 38

رَبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَا ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡغَفَّٰرُ

66. Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, nantakubwa ku mukono, omusonyiyi ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
67 : 38

قُلۡ هُوَ نَبَؤٌاْ عَظِيمٌ

67. Bagambe nti kyo (kye mbagamba) kigambo kikulu ddala. info
التفاسير:

external-link copy
68 : 38

أَنتُمۡ عَنۡهُ مُعۡرِضُونَ

68. (Ate) mmwe kye mwawukanako. info
التفاسير:

external-link copy
69 : 38

مَا كَانَ لِيَ مِنۡ عِلۡمِۭ بِٱلۡمَلَإِ ٱلۡأَعۡلَىٰٓ إِذۡ يَخۡتَصِمُونَ

69. Sibangako na kumanya kwonna ku bikwata ku bakungu ab'awaggula webakaayanira, (ba Malayika bwe beemulugunya nga baagala Katonda baaba asindika ku nsi mu kifo kya Adam). info
التفاسير:

external-link copy
70 : 38

إِن يُوحَىٰٓ إِلَيَّ إِلَّآ أَنَّمَآ أَنَا۠ نَذِيرٞ مُّبِينٌ

70. Ssaatumirwa kirala kyonna okugyako (okuba) nti mazima ddala nze ndi mutiisa ow'olwatu. info
التفاسير:

external-link copy
71 : 38

إِذۡ قَالَ رَبُّكَ لِلۡمَلَٰٓئِكَةِ إِنِّي خَٰلِقُۢ بَشَرٗا مِّن طِينٖ

71. Jjukira ekiseera Mukama omulabirizi wo bwe yagamba ba Malayika, nti mazima nze nja kutonda omuntu nga mugya mu kadongo. info
التفاسير:

external-link copy
72 : 38

فَإِذَا سَوَّيۡتُهُۥ وَنَفَخۡتُ فِيهِ مِن رُّوحِي فَقَعُواْ لَهُۥ سَٰجِدِينَ

72. Bwe nnaamala okukola engeri nga bwanabeera era nemmufuuwamu omwoyo oguva gyendi, kale mubutame nga mumuvunnamira. info
التفاسير:

external-link copy
73 : 38

فَسَجَدَ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ كُلُّهُمۡ أَجۡمَعُونَ

73. Olwo nno ba Malayika bonna nga bali wamu baavunnama. info
التفاسير:

external-link copy
74 : 38

إِلَّآ إِبۡلِيسَ ٱسۡتَكۡبَرَ وَكَانَ مِنَ ٱلۡكَٰفِرِينَ

74. Okugyako Ibliis yeekuluntaza naaba mu bakaafiiri. info
التفاسير:

external-link copy
75 : 38

قَالَ يَٰٓإِبۡلِيسُ مَا مَنَعَكَ أَن تَسۡجُدَ لِمَا خَلَقۡتُ بِيَدَيَّۖ أَسۡتَكۡبَرۡتَ أَمۡ كُنتَ مِنَ ٱلۡعَالِينَ

75. (Katonda) naagamba nti owange Ibliis kiki ekikugaanye okuvunnamira oyo gwe nnatonda n’omukono gwange abaffe wetwala nti oli wa kitiibwa (okusinga Adam), oba lwakuba nti bulijjo oli mu ba kiwagi ku Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
76 : 38

قَالَ أَنَا۠ خَيۡرٞ مِّنۡهُ خَلَقۡتَنِي مِن نَّارٖ وَخَلَقۡتَهُۥ مِن طِينٖ

76. (Ibliis) naagamba nti: nze mmusinga, wantonda mu muliro ate (yye) noomutonda mu kadongo. info
التفاسير:

external-link copy
77 : 38

قَالَ فَٱخۡرُجۡ مِنۡهَا فَإِنَّكَ رَجِيمٞ

77. (Katonda) naagamba nti: kale gifulume (e jjana) mazima ggwe ogobeddwa (era oli mukolimire). info
التفاسير:

external-link copy
78 : 38

وَإِنَّ عَلَيۡكَ لَعۡنَتِيٓ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلدِّينِ

78. Era mazima okakaseeko ekikolimo kyange okutuusa ku lunaku lw'okusasulwa. info
التفاسير:

external-link copy
79 : 38

قَالَ رَبِّ فَأَنظِرۡنِيٓ إِلَىٰ يَوۡمِ يُبۡعَثُونَ

79. (Ibliis) naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange nindiriza okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa. info
التفاسير:

external-link copy
80 : 38

قَالَ فَإِنَّكَ مِنَ ٱلۡمُنظَرِينَ

80. (Katonda) naagamba nti: mazima ggwe oli mu balindiriziddwa. info
التفاسير:

external-link copy
81 : 38

إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡوَقۡتِ ٱلۡمَعۡلُومِ

81. Okutuuka ku lunaku olw'ekiseera ekimanyiddwa. info
التفاسير:

external-link copy
82 : 38

قَالَ فَبِعِزَّتِكَ لَأُغۡوِيَنَّهُمۡ أَجۡمَعِينَ

82. (Ibliis) naagamba nti: ndayira ekitiibwa kyo njakubabuliza ddala bonna. info
التفاسير:

external-link copy
83 : 38

إِلَّا عِبَادَكَ مِنۡهُمُ ٱلۡمُخۡلَصِينَ

83. Okugyako abaddu bo abalondobemu mu bo. info
التفاسير: