ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
43 : 38

وَوَهَبۡنَا لَهُۥٓ أَهۡلَهُۥ وَمِثۡلَهُم مَّعَهُمۡ رَحۡمَةٗ مِّنَّا وَذِكۡرَىٰ لِأُوْلِي ٱلۡأَلۡبَٰبِ

43. Era netumuwa (nga tuzzaawo) abantu be era awamu nabo (netumuwa) abalinga bo (ebyo byonna) nga kusaasira okuva gyetuli era nga kubuulirira eri abo abalina amagezi. info
التفاسير:

external-link copy
44 : 38

وَخُذۡ بِيَدِكَ ضِغۡثٗا فَٱضۡرِب بِّهِۦ وَلَا تَحۡنَثۡۗ إِنَّا وَجَدۡنَٰهُ صَابِرٗاۚ نِّعۡمَ ٱلۡعَبۡدُ إِنَّهُۥٓ أَوَّابٞ

44. Era (n'alagirwa nti) kwata ekisaaganda ky'obuti olwo nno okimukubise (mukyalawo) anti bwotyo bwe walayira obenga tomenye kilayiro kyo, mazima ffe twamusanga (Ayub) nga mugumiikiriza (yye) muddu mulungi, anti mazima yye adda nnyo eri Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
45 : 38

وَٱذۡكُرۡ عِبَٰدَنَآ إِبۡرَٰهِيمَ وَإِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَ أُوْلِي ٱلۡأَيۡدِي وَٱلۡأَبۡصَٰرِ

45. Era jjukira abaddu baffe Ibrahim ne Ishaak ne Yakub abaalina amaanyi n’okulengera ewala. info
التفاسير:

external-link copy
46 : 38

إِنَّآ أَخۡلَصۡنَٰهُم بِخَالِصَةٖ ذِكۡرَى ٱلدَّارِ

46. Mazima ffe twabaawula n'enkizo ey’okujjukira e nyumba ey’olubeerera (enkomerero). info
التفاسير:

external-link copy
47 : 38

وَإِنَّهُمۡ عِندَنَا لَمِنَ ٱلۡمُصۡطَفَيۡنَ ٱلۡأَخۡيَارِ

47. Era mazima bo gye tuli ba mu baawule abalondemu. info
التفاسير:

external-link copy
48 : 38

وَٱذۡكُرۡ إِسۡمَٰعِيلَ وَٱلۡيَسَعَ وَذَا ٱلۡكِفۡلِۖ وَكُلّٞ مِّنَ ٱلۡأَخۡيَارِ

48. Era jjukira Ismail ne Eliyasa-a ne Zul kifuli, nabuli omu kwabo wa mu balondemu. info
التفاسير:

external-link copy
49 : 38

هَٰذَا ذِكۡرٞۚ وَإِنَّ لِلۡمُتَّقِينَ لَحُسۡنَ مَـَٔابٖ

49. Kuno kujjukiza, era mazima ddala abatya Katonda bagenda kufuna obuddo obulungi. info
التفاسير:

external-link copy
50 : 38

جَنَّٰتِ عَدۡنٖ مُّفَتَّحَةٗ لَّهُمُ ٱلۡأَبۡوَٰبُ

50. (Obuddo obwo buliba) Janna ez’emirembe, nga kulwabwe emiryango (gyazo) giriba miggule. info
التفاسير:

external-link copy
51 : 38

مُتَّكِـِٔينَ فِيهَا يَدۡعُونَ فِيهَا بِفَٰكِهَةٖ كَثِيرَةٖ وَشَرَابٖ

51. Balibeera beesigamye nga bali mu zo, nga bwe batumya mu zo ebibala ebingi nga bya njawulo n'eby'okunywa. info
التفاسير:

external-link copy
52 : 38

۞ وَعِندَهُمۡ قَٰصِرَٰتُ ٱلطَّرۡفِ أَتۡرَابٌ

52. Era baliba balina abakyala abakkakkamu ab'amaaso ab'emyaka egyenkana. info
التفاسير:

external-link copy
53 : 38

هَٰذَا مَا تُوعَدُونَ لِيَوۡمِ ٱلۡحِسَابِ

53. (Baligambibwa nti) kino (kye mutuseeko) kyekyo kye mwalagaanyisibwa okuweebwa ku lunaku lw'okubalibwa. info
التفاسير:

external-link copy
54 : 38

إِنَّ هَٰذَا لَرِزۡقُنَا مَا لَهُۥ مِن نَّفَادٍ

54. Mazima ebyo kwe kugabiririra kwaffe tekuyinza kukalira. info
التفاسير:

external-link copy
55 : 38

هَٰذَاۚ وَإِنَّ لِلطَّٰغِينَ لَشَرَّ مَـَٔابٖ

55. Ekyo kyekyo, naye mazima abeewagguzi balifuna obuddo obubi. info
التفاسير:

external-link copy
56 : 38

جَهَنَّمَ يَصۡلَوۡنَهَا فَبِئۡسَ ٱلۡمِهَادُ

56. Nga muliro Jahannama gwe balyesonseka naye buliba buliri bubi ddala. info
التفاسير:

external-link copy
57 : 38

هَٰذَا فَلۡيَذُوقُوهُ حَمِيمٞ وَغَسَّاقٞ

57. Kino (kye balimu bye bibonerezo ebiruma ennyo) kale balibikombako nga nabyo mazzi agookya n'amasira ag'olusaayisaayi. info
التفاسير:

external-link copy
58 : 38

وَءَاخَرُ مِن شَكۡلِهِۦٓ أَزۡوَٰجٌ

58. Ne (bibonerezo) ebirala ebiringa ebyo ebyengeri ez'ejawulo (nabyo biribatuukako). info
التفاسير:

external-link copy
59 : 38

هَٰذَا فَوۡجٞ مُّقۡتَحِمٞ مَّعَكُمۡ لَا مَرۡحَبَۢا بِهِمۡۚ إِنَّهُمۡ صَالُواْ ٱلنَّارِ

59. (Buli aboonoonyi abapya lwe banaaleetebwanga mu muliro, nga abasookayo bagambibwa nti:) kino kibinja kyesozze omuliro awamu nammwe (olwo abalisangwamu bagambe nti) abo tebaanirizibwa (tebalina mirembe) mazima bo beesozze muliro. info
التفاسير:

external-link copy
60 : 38

قَالُواْ بَلۡ أَنتُمۡ لَا مَرۡحَبَۢا بِكُمۡۖ أَنتُمۡ قَدَّمۡتُمُوهُ لَنَاۖ فَبِئۡسَ ٱلۡقَرَارُ

60. (Abaagoberera) baligamba (abaasooka) nti wabula mmwe, mmwe mutaanirizibwa, mmwe mwabituleetera, bugenda kuba butuulo bubi. info
التفاسير:

external-link copy
61 : 38

قَالُواْ رَبَّنَا مَن قَدَّمَ لَنَا هَٰذَا فَزِدۡهُ عَذَابٗا ضِعۡفٗا فِي ٱلنَّارِ

61. Baligamba nti: ayi Mukama omulabirizi waffe oyo eyatuleetera bino mwongere ebibonerezo eby'okuba mu muliro nga bibazziddwamu. info
التفاسير: