ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
7 : 33

وَإِذۡ أَخَذۡنَا مِنَ ٱلنَّبِيِّـۧنَ مِيثَٰقَهُمۡ وَمِنكَ وَمِن نُّوحٖ وَإِبۡرَٰهِيمَ وَمُوسَىٰ وَعِيسَى ٱبۡنِ مَرۡيَمَۖ وَأَخَذۡنَا مِنۡهُم مِّيثَٰقًا غَلِيظٗا

7 . Era jjukira bwe twakozesa ba Nabbi endagaano yaabwe, ne ku ggwe ne ku Nuuhu ne ku Ibrahim, ne ku Musa ne ku Isa Mutabani wa Mariam, era twabakozesa e ndagaano nga nzito. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 33

لِّيَسۡـَٔلَ ٱلصَّٰدِقِينَ عَن صِدۡقِهِمۡۚ وَأَعَدَّ لِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابًا أَلِيمٗا

8 . Olwo nno (Katonda) alyoke abuuze abakkiriza ab'amazima ku mazima gaabwe, era yateekerateekera abakaafiiri e bibonerezo ebiruma. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 33

يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱذۡكُرُواْ نِعۡمَةَ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ إِذۡ جَآءَتۡكُمۡ جُنُودٞ فَأَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِمۡ رِيحٗا وَجُنُودٗا لَّمۡ تَرَوۡهَاۚ وَكَانَ ٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرًا

9 . Abange mmwe abakkiriza, mujjukire ebyengera bya Katonda bye yabagonnomolako amagye lwe gaabalumba, ne tubasindikira kibuyaga n'amagye ge mutaalaba, era bulijjo Katonda alabira ddala bye mukola. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 33

إِذۡ جَآءُوكُم مِّن فَوۡقِكُمۡ وَمِنۡ أَسۡفَلَ مِنكُمۡ وَإِذۡ زَاغَتِ ٱلۡأَبۡصَٰرُ وَبَلَغَتِ ٱلۡقُلُوبُ ٱلۡحَنَاجِرَ وَتَظُنُّونَ بِٱللَّهِ ٱلظُّنُونَا۠

10 . Mujjukire bwe baabajjira nga bayitira engulu ne mmanga wa mmwe, era mujjukire amaaso lwe gaakanuka era emitima ne gituuka mu malokooli, nemulowooza ku Katonda ebirowoozo ebyenjawulo. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 33

هُنَالِكَ ٱبۡتُلِيَ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ وَزُلۡزِلُواْ زِلۡزَالٗا شَدِيدٗا

11 . Nga muli mu mbeera eyo, abakkiriza baagezesebwa ne bakankanyizibwa olukankana olw'amaanyi. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 33

وَإِذۡ يَقُولُ ٱلۡمُنَٰفِقُونَ وَٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ مَّا وَعَدَنَا ٱللَّهُ وَرَسُولُهُۥٓ إِلَّا غُرُورٗا

12 . Era mujjukire abannanfusi n'abo abaalina obulwadde mu mitima gyaabwe bwe baagamba nti Katonda n’omubakawe tebaatulagaanya wabula (baatulagaanya) bya kutuguyaaguya. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 33

وَإِذۡ قَالَت طَّآئِفَةٞ مِّنۡهُمۡ يَٰٓأَهۡلَ يَثۡرِبَ لَا مُقَامَ لَكُمۡ فَٱرۡجِعُواْۚ وَيَسۡتَـٔۡذِنُ فَرِيقٞ مِّنۡهُمُ ٱلنَّبِيَّ يَقُولُونَ إِنَّ بُيُوتَنَا عَوۡرَةٞ وَمَا هِيَ بِعَوۡرَةٍۖ إِن يُرِيدُونَ إِلَّا فِرَارٗا

13 . Era mujjukire e kibiina mu mmwe bwe kyagamba nti, abange mmwe abantu be Yathriba (Madinah) temusobola kubeera wano, n'olwekyo muddeeyo (mu Maka gammwe), ate e kibiina ekirala mu bo baasaba Nabbi (S.A.W.) abakkirize baleme kugenda ku lutalo, nga bagamba nti, mazima amayumba gaffe meereere, so nga tegaali meereere, baali tebalina kye baagala kyonna okugyako okudduka. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 33

وَلَوۡ دُخِلَتۡ عَلَيۡهِم مِّنۡ أَقۡطَارِهَا ثُمَّ سُئِلُواْ ٱلۡفِتۡنَةَ لَأٓتَوۡهَا وَمَا تَلَبَّثُواْ بِهَآ إِلَّا يَسِيرٗا

14 . Era singa baali balumbiddwa okuva mu mpuyi zaakyo (e kibuga) oluvanyuma ne basabwa bakaafuwale (era balwanyise abasiraamu) baalikikoze era tebaalisibyemu okugyako kaseera katono. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 33

وَلَقَدۡ كَانُواْ عَٰهَدُواْ ٱللَّهَ مِن قَبۡلُ لَا يُوَلُّونَ ٱلۡأَدۡبَٰرَۚ وَكَانَ عَهۡدُ ٱللَّهِ مَسۡـُٔولٗا

15 . Ate nga mu kusooka baali baalagaanyisa Katonda nti tebagenda kukyuka kukubayo mabega (ne badduka mu lutalo), era bulijjo e ndagaano ya Katonda ebuuzibwako (okulaba oba etuukiriziddwa). info
التفاسير: