ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
63 : 33

يَسۡـَٔلُكَ ٱلنَّاسُ عَنِ ٱلسَّاعَةِۖ قُلۡ إِنَّمَا عِلۡمُهَا عِندَ ٱللَّهِۚ وَمَا يُدۡرِيكَ لَعَلَّ ٱلسَّاعَةَ تَكُونُ قَرِيبًا

63 . Abantu bakubuuza ku lunaku lw'enkomerero bagambe nti: mazima okumanyibwa kwalwo kuli eri Katonda, ye omanya otya oba olunaku lw'enkomerero luli kumpi!. info
التفاسير:

external-link copy
64 : 33

إِنَّ ٱللَّهَ لَعَنَ ٱلۡكَٰفِرِينَ وَأَعَدَّ لَهُمۡ سَعِيرًا

64 . Mazima Katonda yakolimira abakaafiiri era naabategekera omuliro Sai-ir. info
التفاسير:

external-link copy
65 : 33

خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدٗاۖ لَّا يَجِدُونَ وَلِيّٗا وَلَا نَصِيرٗا

65 . Baakutuula mu gwo bugenderevu, tebagenda kufuna wa mukwano oba omutaasa. info
التفاسير:

external-link copy
66 : 33

يَوۡمَ تُقَلَّبُ وُجُوهُهُمۡ فِي ٱلنَّارِ يَقُولُونَ يَٰلَيۡتَنَآ أَطَعۡنَا ٱللَّهَ وَأَطَعۡنَا ٱلرَّسُولَا۠

66 . Ku lunaku ebyenyi byabwe lwe birikyusibwakyusibwa mu muliro nga bagamba nti zitusanze singa twagondera Katonda era netugondera omubaka. info
التفاسير:

external-link copy
67 : 33

وَقَالُواْ رَبَّنَآ إِنَّآ أَطَعۡنَا سَادَتَنَا وَكُبَرَآءَنَا فَأَضَلُّونَا ٱلسَّبِيلَا۠

67 . Era ne bagamba nti: ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ffe twagondera abakulembeze baffe n'abatutumufu mu ffe, olwo nno nebatubuza ekkubo. info
التفاسير:

external-link copy
68 : 33

رَبَّنَآ ءَاتِهِمۡ ضِعۡفَيۡنِ مِنَ ٱلۡعَذَابِ وَٱلۡعَنۡهُمۡ لَعۡنٗا كَبِيرٗا

68 . Ayi Mukama omulabirizi waffe bawe ebibonerezo byabwe nga bibaziddwamu emirundi ebiri era obakolimire olukolimira olunene. info
التفاسير:

external-link copy
69 : 33

يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَكُونُواْ كَٱلَّذِينَ ءَاذَوۡاْ مُوسَىٰ فَبَرَّأَهُ ٱللَّهُ مِمَّا قَالُواْۚ وَكَانَ عِندَ ٱللَّهِ وَجِيهٗا

69 . Abange mmwe abakkiriza temubeeranga abo abaanyiiiza Musa (bwe baagamba nti aliko obulemu ku mubirigwe obumugaana okunaaba naffe) wabula Katonda yamutukuza ku ekyo kye baagamba era bulijjo wa kitiibwa ewa Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
70 : 33

يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَقُولُواْ قَوۡلٗا سَدِيدٗا

70 . Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era mwogere ebigambo ebituufu. info
التفاسير:

external-link copy
71 : 33

يُصۡلِحۡ لَكُمۡ أَعۡمَٰلَكُمۡ وَيَغۡفِرۡ لَكُمۡ ذُنُوبَكُمۡۗ وَمَن يُطِعِ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ فَقَدۡ فَازَ فَوۡزًا عَظِيمًا

71 . Ajja kubalongooseza emirimu gya mmwe era abasonyiwe ebyonoono bya mmwe, era bulijjo omuntu agondera Katonda n’omubakawe aba yeesiimye olwesiima olusuffu. info
التفاسير:

external-link copy
72 : 33

إِنَّا عَرَضۡنَا ٱلۡأَمَانَةَ عَلَى ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَٱلۡجِبَالِ فَأَبَيۡنَ أَن يَحۡمِلۡنَهَا وَأَشۡفَقۡنَ مِنۡهَا وَحَمَلَهَا ٱلۡإِنسَٰنُۖ إِنَّهُۥ كَانَ ظَلُومٗا جَهُولٗا

72 . Mazima ffe twayagala obuvunaanyizibwa okubuwa eggulu omusanvu n'ensi n'ensozi naye nebigaana okubwetikka nebibwesamba, ye omuntu naabwetikka (naatatuukiriza era olw'ekyo) n'abeera eyeeyisa obubi atamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
73 : 33

لِّيُعَذِّبَ ٱللَّهُ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ وَٱلۡمُنَٰفِقَٰتِ وَٱلۡمُشۡرِكِينَ وَٱلۡمُشۡرِكَٰتِ وَيَتُوبَ ٱللَّهُ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِۗ وَكَانَ ٱللَّهُ غَفُورٗا رَّحِيمَۢا

73 . Olwo nno Katonda alyoke abe nga abonereza abannanfusi abasajja n'abannanfusi abakazi, n’abasajja abagatta ku Katonda ebintu ebirala n’abakazi abagatta ku Katonda ebintu ebirala, era abe nga asonyiwa abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi. Era bulijjo Katonda muyitirivu wa kusonyiwa muyitirivu wa kusaasira. info
التفاسير: