ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
62 : 18

فَلَمَّا جَاوَزَا قَالَ لِفَتَىٰهُ ءَاتِنَا غَدَآءَنَا لَقَدۡ لَقِينَا مِن سَفَرِنَا هَٰذَا نَصَبٗا

62 . Bwe baayita ku kifo ekyo (Musa) yagamba omuweerezawe nti leeta eno eky'okulya kyaffe mazima olugendo lwaffe luno tulusanzeemu obukalubo. info
التفاسير:

external-link copy
63 : 18

قَالَ أَرَءَيۡتَ إِذۡ أَوَيۡنَآ إِلَى ٱلصَّخۡرَةِ فَإِنِّي نَسِيتُ ٱلۡحُوتَ وَمَآ أَنسَىٰنِيهُ إِلَّا ٱلشَّيۡطَٰنُ أَنۡ أَذۡكُرَهُۥۚ وَٱتَّخَذَ سَبِيلَهُۥ فِي ٱلۡبَحۡرِ عَجَبٗا

63 . (Omuweerezawe) naagamba nti ojjukira wetwawummulidde ku lwazi, mazima nze neerabidde ekyenyanja tewali kyanneerabizza kukijjukira okugyako Sitane era awo wekyakoledde ekkubo mu nnyanja mu ngeri eyeewuunyisa. info
التفاسير:

external-link copy
64 : 18

قَالَ ذَٰلِكَ مَا كُنَّا نَبۡغِۚ فَٱرۡتَدَّا عَلَىٰٓ ءَاثَارِهِمَا قَصَصٗا

64 . (Musa) naagamba nti ekyo kyennyini kye tubadde tunoonya, olwo nno nebadda emabega nga bwe bazze nga banoonya ekifo (ekyo). info
التفاسير:

external-link copy
65 : 18

فَوَجَدَا عَبۡدٗا مِّنۡ عِبَادِنَآ ءَاتَيۡنَٰهُ رَحۡمَةٗ مِّنۡ عِندِنَا وَعَلَّمۡنَٰهُ مِن لَّدُنَّا عِلۡمٗا

65 . Nebasanga omuddu mu baddu baffe gwe twawa okusaasira okuva gye tuli, era netumuyigiriza okuva gye tuli okumanya (okw'enjawulo). info
التفاسير:

external-link copy
66 : 18

قَالَ لَهُۥ مُوسَىٰ هَلۡ أَتَّبِعُكَ عَلَىٰٓ أَن تُعَلِّمَنِ مِمَّا عُلِّمۡتَ رُشۡدٗا

66 . Musa naamugamba nti abaffe (onzikiriza) nkugoberere olwo nno obe nga onjigiriza ku bulungamu bwe wayigirizibwa?. info
التفاسير:

external-link copy
67 : 18

قَالَ إِنَّكَ لَن تَسۡتَطِيعَ مَعِيَ صَبۡرٗا

67 . (Hidhiri) naamuddamu nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange. info
التفاسير:

external-link copy
68 : 18

وَكَيۡفَ تَصۡبِرُ عَلَىٰ مَا لَمۡ تُحِطۡ بِهِۦ خُبۡرٗا

68 . Onoogumiikiriza otya ku bintu byotalinaako kumanya. info
التفاسير:

external-link copy
69 : 18

قَالَ سَتَجِدُنِيٓ إِن شَآءَ ٱللَّهُ صَابِرٗا وَلَآ أَعۡصِي لَكَ أَمۡرٗا

69 . (Musa) naagamab nti Katonda bwanaaba akkirizza ojja ku nsanga nga ndi mugumiikiriza era sigenda kukujeemera mu kintu kyonna. info
التفاسير:

external-link copy
70 : 18

قَالَ فَإِنِ ٱتَّبَعۡتَنِي فَلَا تَسۡـَٔلۡنِي عَن شَيۡءٍ حَتَّىٰٓ أُحۡدِثَ لَكَ مِنۡهُ ذِكۡرٗا

70 . (Hidhiri) naagamba nti bwoba osazeewo okungoberera, tombuuza ku kintu kyonna okutuusa lwe nnaakufunira kye nkikubuulirako. info
التفاسير:

external-link copy
71 : 18

فَٱنطَلَقَا حَتَّىٰٓ إِذَا رَكِبَا فِي ٱلسَّفِينَةِ خَرَقَهَاۖ قَالَ أَخَرَقۡتَهَا لِتُغۡرِقَ أَهۡلَهَا لَقَدۡ جِئۡتَ شَيۡـًٔا إِمۡرٗا

71 . Olwo nno nebagenda, okutuusa nga bamaze okulinnya eryato (Hidhiri) naalissaako ekituli, (Musa) naagamba nti olitaddeko ekituli ozikirize abantu abalirimu mazima okoze ekintu kibi. info
التفاسير:

external-link copy
72 : 18

قَالَ أَلَمۡ أَقُلۡ إِنَّكَ لَن تَسۡتَطِيعَ مَعِيَ صَبۡرٗا

72 . (Hidhiri) naagamba nti: saakugambye nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange. info
التفاسير:

external-link copy
73 : 18

قَالَ لَا تُؤَاخِذۡنِي بِمَا نَسِيتُ وَلَا تُرۡهِقۡنِي مِنۡ أَمۡرِي عُسۡرٗا

73 . (Musa) naagamba nti tonvunaana olw'ekyo kye nneerabidde era tontuusaako olw'ekigambo kyange (eky'okubeera naawe) buzito bwonna. info
التفاسير:

external-link copy
74 : 18

فَٱنطَلَقَا حَتَّىٰٓ إِذَا لَقِيَا غُلَٰمٗا فَقَتَلَهُۥ قَالَ أَقَتَلۡتَ نَفۡسٗا زَكِيَّةَۢ بِغَيۡرِ نَفۡسٖ لَّقَدۡ جِئۡتَ شَيۡـٔٗا نُّكۡرٗا

74 . Olwo nno nebagenda okutuusa lwe baasanga omulenzi, (Hidhiri) naamutta (Musa) naagamba nti osse omuntu atalina musango, atalina gwasse, mazima ekintu kyokoze kivve. info
التفاسير: