ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
84 : 18

إِنَّا مَكَّنَّا لَهُۥ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَءَاتَيۡنَٰهُ مِن كُلِّ شَيۡءٖ سَبَبٗا

84 . Mazima ffe twamuwa obusobozi mu nsi, era twamuwa ku buli kintu okumanya engeri gye kikolebwamu. info
التفاسير:

external-link copy
85 : 18

فَأَتۡبَعَ سَبَبًا

85 . Olwo nno naagoberera enkola (eyo). info
التفاسير:

external-link copy
86 : 18

حَتَّىٰٓ إِذَا بَلَغَ مَغۡرِبَ ٱلشَّمۡسِ وَجَدَهَا تَغۡرُبُ فِي عَيۡنٍ حَمِئَةٖ وَوَجَدَ عِندَهَا قَوۡمٗاۖ قُلۡنَا يَٰذَا ٱلۡقَرۡنَيۡنِ إِمَّآ أَن تُعَذِّبَ وَإِمَّآ أَن تَتَّخِذَ فِيهِمۡ حُسۡنٗا

86 . Okutuusa lwe yatuuka enjuba gyegwa, naagisanga nga erabika nga egwa mu luzzi olw'ettosi, era mu kitundu ekyo naasangayo abantu, netumugamba nti owange Dhul Karinaini, bwoba oyagadde osobola okubabonereza oba oyinza okubakolamu ekirungi. info
التفاسير:

external-link copy
87 : 18

قَالَ أَمَّا مَن ظَلَمَ فَسَوۡفَ نُعَذِّبُهُۥ ثُمَّ يُرَدُّ إِلَىٰ رَبِّهِۦ فَيُعَذِّبُهُۥ عَذَابٗا نُّكۡرٗا

87 . (Dhul Karinaini) naagamba nti oyo aneeyisa obubi tujja kumubonereza, ate oluvanyuma alizzibwa ewa Mukama Omulabirizewe, naamubonereza ebibonerezo ebisuffu. info
التفاسير:

external-link copy
88 : 18

وَأَمَّا مَنۡ ءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا فَلَهُۥ جَزَآءً ٱلۡحُسۡنَىٰۖ وَسَنَقُولُ لَهُۥ مِنۡ أَمۡرِنَا يُسۡرٗا

88 . Naye oyo akkiriza naakola emirimu emirungi, agenda kusasulwa empeera ennungi era tugenda kumugamba ebigambo ebyangu okuva gye tuli. info
التفاسير:

external-link copy
89 : 18

ثُمَّ أَتۡبَعَ سَبَبًا

89 . Ate oluvanyuma naagoberera enkola eyo. info
التفاسير:

external-link copy
90 : 18

حَتَّىٰٓ إِذَا بَلَغَ مَطۡلِعَ ٱلشَّمۡسِ وَجَدَهَا تَطۡلُعُ عَلَىٰ قَوۡمٖ لَّمۡ نَجۡعَل لَّهُم مِّن دُونِهَا سِتۡرٗا

90 . Okutuusa lwe yatuuka enjuba gyeva naagisanga nga eviirayo ku bantu abo betutaawa kya kwebikka kuwona kwokya kwayo. info
التفاسير:

external-link copy
91 : 18

كَذَٰلِكَۖ وَقَدۡ أَحَطۡنَا بِمَا لَدَيۡهِ خُبۡرٗا

91 . Bwe tutyo bwe twakikola ate mazima byonna bye yalina, okumanya kwaffe kwali kubyetoolodde. info
التفاسير:

external-link copy
92 : 18

ثُمَّ أَتۡبَعَ سَبَبًا

92 . Ate oluvanyuma bwe yamala naagoberera enkola y'emu. info
التفاسير:

external-link copy
93 : 18

حَتَّىٰٓ إِذَا بَلَغَ بَيۡنَ ٱلسَّدَّيۡنِ وَجَدَ مِن دُونِهِمَا قَوۡمٗا لَّا يَكَادُونَ يَفۡقَهُونَ قَوۡلٗا

93 . Okutuusa lwe yatuuka wakati w'ensozi ebbiri, naasanga wakati wa zombiriri abantu, kumpi nga tebategeera kigambo kyonna. info
التفاسير:

external-link copy
94 : 18

قَالُواْ يَٰذَا ٱلۡقَرۡنَيۡنِ إِنَّ يَأۡجُوجَ وَمَأۡجُوجَ مُفۡسِدُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَهَلۡ نَجۡعَلُ لَكَ خَرۡجًا عَلَىٰٓ أَن تَجۡعَلَ بَيۡنَنَا وَبَيۡنَهُمۡ سَدّٗا

94 . Nebagamba nti owange Dhul Karinaini mazima Yajuuja ne Majuuja boonoonyi mu nsi abaffe tukuteerewo empeera (tukupakase) obe nga otuteera wakati waffe nabo ekikomera. info
التفاسير:

external-link copy
95 : 18

قَالَ مَا مَكَّنِّي فِيهِ رَبِّي خَيۡرٞ فَأَعِينُونِي بِقُوَّةٍ أَجۡعَلۡ بَيۡنَكُمۡ وَبَيۡنَهُمۡ رَدۡمًا

95 . Naagamba nti ekyo kyonna Mukama Omulabirizi wange kyanansobozesa kinaaba kirungi, kale munyambe n'amaanyi nja kuteeka wakati wa mmwe nabo ekikomera (ekigumu). info
التفاسير:

external-link copy
96 : 18

ءَاتُونِي زُبَرَ ٱلۡحَدِيدِۖ حَتَّىٰٓ إِذَا سَاوَىٰ بَيۡنَ ٱلصَّدَفَيۡنِ قَالَ ٱنفُخُواْۖ حَتَّىٰٓ إِذَا جَعَلَهُۥ نَارٗا قَالَ ءَاتُونِيٓ أُفۡرِغۡ عَلَيۡهِ قِطۡرٗا

96 . Mundeetere ebitundu tundu bye byuma (bye baaleeta) okutuusa lwe yajjuza ebyuma mu bbanga eriri wakati w'ensozi ebbiri, naagamba nti mufuuwe (emivubo) okutuusa ekyuma lwe yakifuula omuliro naagamba nti mundeetere ekikomo ekisaanuuse naakifukirirako. info
التفاسير:

external-link copy
97 : 18

فَمَا ٱسۡطَٰعُوٓاْ أَن يَظۡهَرُوهُ وَمَا ٱسۡتَطَٰعُواْ لَهُۥ نَقۡبٗا

97 . (Yajuuja ne Majuuja) tebasobolangako kukirinya era nga bwe batasobolangako kukiwummulamu kituli. info
التفاسير: