クルアーンの対訳 - ルガンダ語対訳 - The African Development Foundation team

ページ番号:close

external-link copy
31 : 51

۞ قَالَ فَمَا خَطۡبُكُمۡ أَيُّهَا ٱلۡمُرۡسَلُونَ

31. Ibrahim naagamba nti, ate mmwe ababaka nsonga ki ebaleese?. info
التفاسير:

external-link copy
32 : 51

قَالُوٓاْ إِنَّآ أُرۡسِلۡنَآ إِلَىٰ قَوۡمٖ مُّجۡرِمِينَ

32. Nebagamba nti mazima ffe tutumiddwa eri abantu abonoonyi. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 51

لِنُرۡسِلَ عَلَيۡهِمۡ حِجَارَةٗ مِّن طِينٖ

33. Tube nga tubayiwako amayinja agomu bbumba ejjokye. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 51

مُّسَوَّمَةً عِندَ رَبِّكَ لِلۡمُسۡرِفِينَ

34. Nga malambe okuva ewa Mukama omulabirizi wo, nga ga (kuzikiriza) abonoonyi abasukkiridde. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 51

فَأَخۡرَجۡنَا مَن كَانَ فِيهَا مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ

35. (Katonda agamba) awo nno twagyamu oyo yenna eyakirimu (ekitundu ekyo) mu bakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 51

فَمَا وَجَدۡنَا فِيهَا غَيۡرَ بَيۡتٖ مِّنَ ٱلۡمُسۡلِمِينَ

36. Naye tetwasangamu okugyako e nyumba emu eyabasiraamu. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 51

وَتَرَكۡنَا فِيهَآ ءَايَةٗ لِّلَّذِينَ يَخَافُونَ ٱلۡعَذَابَ ٱلۡأَلِيمَ

37. Era twaleka mu kyo ekyo kuyiga eri abo abatya ebibonerezo ebiruma ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
38 : 51

وَفِي مُوسَىٰٓ إِذۡ أَرۡسَلۡنَٰهُ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ بِسُلۡطَٰنٖ مُّبِينٖ

38. Era ne Musa (alimu ekyo kuyiga) bwe twamutuma ewa Firawo n’obujulizi obweyolefu. info
التفاسير:

external-link copy
39 : 51

فَتَوَلَّىٰ بِرُكۡنِهِۦ وَقَالَ سَٰحِرٌ أَوۡ مَجۡنُونٞ

39. Yagaana (okugoberera Musa) olwokwesigula abali emabega we era nagamba nti (Musa) mulogo oba mulalu. info
التفاسير:

external-link copy
40 : 51

فَأَخَذۡنَٰهُ وَجُنُودَهُۥ فَنَبَذۡنَٰهُمۡ فِي ٱلۡيَمِّ وَهُوَ مُلِيمٞ

40. Olwo nno netumukwatako ne ggye rye netubakasuka mu nnyanja nga naye anenyezebwa. info
التفاسير:

external-link copy
41 : 51

وَفِي عَادٍ إِذۡ أَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِمُ ٱلرِّيحَ ٱلۡعَقِيمَ

41. Ne mu Bantu ba Aadi (mulimu ekyokuyiga) bwe twabasindikira empewo engumba (etaliimu mukisa tereeta nkuba wadde okuwasisa ebibala). info
التفاسير:

external-link copy
42 : 51

مَا تَذَرُ مِن شَيۡءٍ أَتَتۡ عَلَيۡهِ إِلَّا جَعَلَتۡهُ كَٱلرَّمِيمِ

42. Nga tereka kintu kyonna kyeyitako okugyako nga ekifuula nga ensaano. info
التفاسير:

external-link copy
43 : 51

وَفِي ثَمُودَ إِذۡ قِيلَ لَهُمۡ تَمَتَّعُواْ حَتَّىٰ حِينٖ

43. Ne mu bantu ba Thamud (mulimu ekyokuyiga) bwe bagambibwa nti mweyagale okumala akaseera katono. info
التفاسير:

external-link copy
44 : 51

فَعَتَوۡاْ عَنۡ أَمۡرِ رَبِّهِمۡ فَأَخَذَتۡهُمُ ٱلصَّٰعِقَةُ وَهُمۡ يَنظُرُونَ

44. Wabula bo basukka ekiragiro kya Mukama omulabiririzi waabwe, olwo nno okubwatuka okwamaanyi ne kubatuukako nga nabo balaba. info
التفاسير:

external-link copy
45 : 51

فَمَا ٱسۡتَطَٰعُواْ مِن قِيَامٖ وَمَا كَانُواْ مُنتَصِرِينَ

45. Tebaasobola kusituka (badduke) era tebaali ba kuwona. info
التفاسير:

external-link copy
46 : 51

وَقَوۡمَ نُوحٖ مِّن قَبۡلُۖ إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَوۡمٗا فَٰسِقِينَ

46. N'abantu ba Nuhu nga bano tebannabaawo (nabo balimu ekyokuyiga anti nabo baazikirizibwa era nabo kya bagwanira) anti mazima bo baali bantu abonoonyi. info
التفاسير:

external-link copy
47 : 51

وَٱلسَّمَآءَ بَنَيۡنَٰهَا بِأَيۡيْدٖ وَإِنَّا لَمُوسِعُونَ

47. (N'ebirala ebirimu ekyokuyiga) ne ggulu twalizimba n'obuyinza (bwaffe) era mazima tukyaligaziya. info
التفاسير:

external-link copy
48 : 51

وَٱلۡأَرۡضَ فَرَشۡنَٰهَا فَنِعۡمَ ٱلۡمَٰهِدُونَ

48. N'ensi twagiseteeza, ddala nga ffe abatesiteesi abasinga. info
التفاسير:

external-link copy
49 : 51

وَمِن كُلِّ شَيۡءٍ خَلَقۡنَا زَوۡجَيۡنِ لَعَلَّكُمۡ تَذَكَّرُونَ

49. Era twatonda mu buli kintu emitindo ebiri ebiri (ekisajja ne kikazi) oba olyawo ne mujjukira. info
التفاسير:

external-link copy
50 : 51

فَفِرُّوٓاْ إِلَى ٱللَّهِۖ إِنِّي لَكُم مِّنۡهُ نَذِيرٞ مُّبِينٞ

50. Kale mudduke mudde eri Katonda mazima nze ndi mutiisa owolwatu gye muli okuva gyali. info
التفاسير:

external-link copy
51 : 51

وَلَا تَجۡعَلُواْ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَۖ إِنِّي لَكُم مِّنۡهُ نَذِيرٞ مُّبِينٞ

51. N’olwekyo temussanga ku Katonda ebisinzibwa ebirala, mazima nze ndi mutiisa owolwatu gye muli okuva gyali. info
التفاسير: