Traduzione dei Significati del Sacro Corano - Traduzione ugandese - African Foundation for Development

Numero di pagina:close

external-link copy
49 : 34

قُلۡ جَآءَ ٱلۡحَقُّ وَمَا يُبۡدِئُ ٱلۡبَٰطِلُ وَمَا يُعِيدُ

49 . Bagambe nti obutuufu buzze era obutali butuufu tebuyinza kutandika nate era ssi bwa kudda. info
التفاسير:

external-link copy
50 : 34

قُلۡ إِن ضَلَلۡتُ فَإِنَّمَآ أَضِلُّ عَلَىٰ نَفۡسِيۖ وَإِنِ ٱهۡتَدَيۡتُ فَبِمَا يُوحِيٓ إِلَيَّ رَبِّيٓۚ إِنَّهُۥ سَمِيعٞ قَرِيبٞ

50 . Bagambe nti: bwemba mbuze mazima mba mbuze ku lwange naye bwennungama kiba kivudde ku bubaka Mukama omulabirizi wange bwantumira, mazima yye muwulizi nnyo ali kumpi ddala. info
التفاسير:

external-link copy
51 : 34

وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذۡ فَزِعُواْ فَلَا فَوۡتَ وَأُخِذُواْ مِن مَّكَانٖ قَرِيبٖ

51 . Singa oliraba mu kiseera abakaafiiri bwe balitya (ku lunaku lw'enkomerero) tewaliba buddukiro era balikwatibwa nga bajjibwa mu kifo eky'okumpi ddala. info
التفاسير:

external-link copy
52 : 34

وَقَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِهِۦ وَأَنَّىٰ لَهُمُ ٱلتَّنَاوُشُ مِن مَّكَانِۭ بَعِيدٖ

52 . Era baligamba nti tubikkiriza (ebyo Nabbi byagamba) naye wwa gye balijja okukkiriza nga bamaze okukuleka mu kifo eky'ewala (gye bavudde). info
التفاسير:

external-link copy
53 : 34

وَقَدۡ كَفَرُواْ بِهِۦ مِن قَبۡلُۖ وَيَقۡذِفُونَ بِٱلۡغَيۡبِ مِن مَّكَانِۭ بَعِيدٖ

53 . Mazima baabiwakanya oluberyeberye, era baatemerera obulimba ku bigambo ebyekusifu ebiri mu kifo eky'ewala. info
التفاسير:

external-link copy
54 : 34

وَحِيلَ بَيۡنَهُمۡ وَبَيۡنَ مَا يَشۡتَهُونَ كَمَا فُعِلَ بِأَشۡيَاعِهِم مِّن قَبۡلُۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ فِي شَكّٖ مُّرِيبِۭ

54 . Newasiikirizibwa wakati waabwe ne wakati w'ekyo kye baagala nga bwe kyakolebwa oluberyeberye (ku abo) abalinga bo mazima bo bali mu kubuusabuusa okuleeta okutankana (ne batakkiriza). info
التفاسير: