Traduzione dei Significati del Sacro Corano - Traduzione ugandese - African Foundation for Development

Numero di pagina:close

external-link copy
76 : 17

وَإِن كَادُواْ لَيَسۡتَفِزُّونَكَ مِنَ ٱلۡأَرۡضِ لِيُخۡرِجُوكَ مِنۡهَاۖ وَإِذٗا لَّا يَلۡبَثُونَ خِلَٰفَكَ إِلَّا قَلِيلٗا

76 . Newaakubadde nga basemberera okukunyenya bakuggye mu nsi (yo) olwo nno bagikugobemu, ekyo nebwekituukirira nga gwe ofulumye, tebayinza kugituulamu okugyako ebbanga ttono. info
التفاسير:

external-link copy
77 : 17

سُنَّةَ مَن قَدۡ أَرۡسَلۡنَا قَبۡلَكَ مِن رُّسُلِنَاۖ وَلَا تَجِدُ لِسُنَّتِنَا تَحۡوِيلًا

77 . Eyo y'enkola (yaffe) kwabo betwatuma oluberyeberyelwo mu babaka baffe, toyinza kulaba nkyukakyuka yonna mu nkola yaffe. info
التفاسير:

external-link copy
78 : 17

أَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَ لِدُلُوكِ ٱلشَّمۡسِ إِلَىٰ غَسَقِ ٱلَّيۡلِ وَقُرۡءَانَ ٱلۡفَجۡرِۖ إِنَّ قُرۡءَانَ ٱلۡفَجۡرِ كَانَ مَشۡهُودٗا

78 . Yimirizaawo e sswala enjuba nga ekyuse okutuusa ku nzikiza y'ekiro nabwekityo Kur’ani y'okumakya (Sswala ya Subuhi) mazima Kur’ani y'okumakya ba Malayika bagibaako. info
التفاسير:

external-link copy
79 : 17

وَمِنَ ٱلَّيۡلِ فَتَهَجَّدۡ بِهِۦ نَافِلَةٗ لَّكَ عَسَىٰٓ أَن يَبۡعَثَكَ رَبُّكَ مَقَامٗا مَّحۡمُودٗا

79 . Ne mu kiro saala nga ogisoma (Kur’ani), (ekyo) nga nnyongeza gyoli olwo nno Mukama omulabiriziwo ajja kukuzuukiza mu kifo ekiweesa ekitiibwa. info
التفاسير:

external-link copy
80 : 17

وَقُل رَّبِّ أَدۡخِلۡنِي مُدۡخَلَ صِدۡقٖ وَأَخۡرِجۡنِي مُخۡرَجَ صِدۡقٖ وَٱجۡعَل لِّي مِن لَّدُنكَ سُلۡطَٰنٗا نَّصِيرٗا

80 . Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, nyingiza mu mulyango ogwa mazima era onfulumize mu mulyango ogwamazima, era ompe okuva gyoli obusobozi obunzirukirira. info
التفاسير:

external-link copy
81 : 17

وَقُلۡ جَآءَ ٱلۡحَقُّ وَزَهَقَ ٱلۡبَٰطِلُۚ إِنَّ ٱلۡبَٰطِلَ كَانَ زَهُوقٗا

81 . Era gamba nti amazima gazze obwonoonefu nebuvaawo, mazima obwonoonefu buba bwakuvaawo. info
التفاسير:

external-link copy
82 : 17

وَنُنَزِّلُ مِنَ ٱلۡقُرۡءَانِ مَا هُوَ شِفَآءٞ وَرَحۡمَةٞ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ وَلَا يَزِيدُ ٱلظَّٰلِمِينَ إِلَّا خَسَارٗا

82 . Era tussa mu Kur’ani ebyo ebijja nga kya kuwonya era nga kya kusaasira eri abakkiriza. Wabula abeeyisa obubi tebongera okugyako okufaafaaganirwa. info
التفاسير:

external-link copy
83 : 17

وَإِذَآ أَنۡعَمۡنَا عَلَى ٱلۡإِنسَٰنِ أَعۡرَضَ وَنَـَٔا بِجَانِبِهِۦ وَإِذَا مَسَّهُ ٱلشَّرُّ كَانَ يَـُٔوسٗا

83 . Bwetuwa omuntu ebyengera (mu kifo ky'okwebaza) atuvaako neyeefaako yekka, so nga akabi bwe kamutuukako akutuka n'okusuubira. info
التفاسير:

external-link copy
84 : 17

قُلۡ كُلّٞ يَعۡمَلُ عَلَىٰ شَاكِلَتِهِۦ فَرَبُّكُمۡ أَعۡلَمُ بِمَنۡ هُوَ أَهۡدَىٰ سَبِيلٗا

84 . Bagambe nti buli omu akolere ku ngeriye, Mukama omulabirizi wa mmwe y'asinga okumanya, ali ku kkubo eddungamu. info
التفاسير:

external-link copy
85 : 17

وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلرُّوحِۖ قُلِ ٱلرُّوحُ مِنۡ أَمۡرِ رَبِّي وَمَآ أُوتِيتُم مِّنَ ٱلۡعِلۡمِ إِلَّا قَلِيلٗا

85 . Era bakubuuza ku mwoyo, gamba nti omwoyo kye kimu ku bintu Mukama omulabirizi wange bye yeesigaliza, era temwaweebwa kumanya okugyako kutono. info
التفاسير:

external-link copy
86 : 17

وَلَئِن شِئۡنَا لَنَذۡهَبَنَّ بِٱلَّذِيٓ أَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡكَ ثُمَّ لَا تَجِدُ لَكَ بِهِۦ عَلَيۡنَا وَكِيلًا

86 . Era singa tuba twagadde tusobola okukuggyako ebyo bye twakutumira, ate toyinza kufuna olw'ebyo kuffe muwolereza. info
التفاسير: