Traduction des sens du Noble Coran - La traduction ougandaise - La Fondation Africaine pour le Développement.

Al-Ghashiyah

external-link copy
1 : 88

هَلۡ أَتَىٰكَ حَدِيثُ ٱلۡغَٰشِيَةِ

1. Abaffe wali ofunye okunyumizibwa ku kibuutikira (eky’olunaku lw'enkomerero)? info
التفاسير:

external-link copy
2 : 88

وُجُوهٞ يَوۡمَئِذٍ خَٰشِعَةٌ

2. Olunaku olwo ebyenyi bigenda kuba nga biswavu. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 88

عَامِلَةٞ نَّاصِبَةٞ

3. Nga bitawaana, nga bikoowu. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 88

تَصۡلَىٰ نَارًا حَامِيَةٗ

4. Nga byesonseka omuliro ogwengeredde. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 88

تُسۡقَىٰ مِنۡ عَيۡنٍ ءَانِيَةٖ

5. Bigenda kunywesebwa ku luzzi olweseze. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 88

لَّيۡسَ لَهُمۡ طَعَامٌ إِلَّا مِن ضَرِيعٖ

6. (Abantu abo) tebagenda kubeera na kya kulya kyonna okugyako e miti egy’amaggwa. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 88

لَّا يُسۡمِنُ وَلَا يُغۡنِي مِن جُوعٖ

7. Egitaliimu kiriisa wadde okuwonya e njala. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 88

وُجُوهٞ يَوۡمَئِذٖ نَّاعِمَةٞ

8. Ebyenyi e birala bigenda kubeera mu byengera. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 88

لِّسَعۡيِهَا رَاضِيَةٞ

9. Bigenda kusiima olw’okutakabana kwa byo. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 88

فِي جَنَّةٍ عَالِيَةٖ

10. Nga biri mu jjana ey’awaggulu. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 88

لَّا تَسۡمَعُ فِيهَا لَٰغِيَةٗ

11. Togenda kuwulira mu yo bigambo bya butaliimu. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 88

فِيهَا عَيۡنٞ جَارِيَةٞ

12. Mu jjana mulimu e nsulo e zikulukuta. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 88

فِيهَا سُرُرٞ مَّرۡفُوعَةٞ

13. Era nga mulimu ebitanda ebisitufu (Ebiwunde). info
التفاسير:

external-link copy
14 : 88

وَأَكۡوَابٞ مَّوۡضُوعَةٞ

14. N’ebikopo ebinywerwamu ebitegekeddwa. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 88

وَنَمَارِقُ مَصۡفُوفَةٞ

15. N’emitto egisimbiddwa ennyiriri. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 88

وَزَرَابِيُّ مَبۡثُوثَةٌ

16. N’ebyaliiro nga byanjuluziddwa. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 88

أَفَلَا يَنظُرُونَ إِلَى ٱلۡإِبِلِ كَيۡفَ خُلِقَتۡ

17. Abaffe tebatunuulira (olutunuulira olw’okuyiga) engamiya ngeri ki bwe yatondebwa? info
التفاسير:

external-link copy
18 : 88

وَإِلَى ٱلسَّمَآءِ كَيۡفَ رُفِعَتۡ

18. N’eggulu nga bwe lyasitulwa! info
التفاسير:

external-link copy
19 : 88

وَإِلَى ٱلۡجِبَالِ كَيۡفَ نُصِبَتۡ

19. N’ensozi engeri gye zaasimbwamu? info
التفاسير:

external-link copy
20 : 88

وَإِلَى ٱلۡأَرۡضِ كَيۡفَ سُطِحَتۡ

20. N’ensi engeri gye yaseetezebwamu. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 88

فَذَكِّرۡ إِنَّمَآ أَنتَ مُذَكِّرٞ

21. Kale nno buulirira gwe (Nabbi Muhammad) kubanga oli mubuulirizi. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 88

لَّسۡتَ عَلَيۡهِم بِمُصَيۡطِرٍ

22. Toliiwo kubakaka. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 88

إِلَّا مَن تَوَلَّىٰ وَكَفَرَ

23. Naye abo abanaava ku bigambobyo ne bajeema. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 88

فَيُعَذِّبُهُ ٱللَّهُ ٱلۡعَذَابَ ٱلۡأَكۡبَرَ

24. Katonda agenda okubabonereza e bibonerezo e bisinga okuba e bikakali. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 88

إِنَّ إِلَيۡنَآ إِيَابَهُمۡ

25. Mazima ddala gyetuli y’eri obuddo bwabwe. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 88

ثُمَّ إِنَّ عَلَيۡنَا حِسَابَهُم

26. Oluvanyuma ddala okubalibwa kwabwe kuli ku ffe. info
التفاسير: