Traduction des sens du Noble Coran - La traduction ougandaise - La Fondation Africaine pour le Développement.

Al-Ma'arij

external-link copy
1 : 70

سَأَلَ سَآئِلُۢ بِعَذَابٖ وَاقِعٖ

1. "Mu ngeri y'okunyomerera" omu ku bakafiiri" yasaba oba ebibonerezo bijja bijje, so nga ate ddala byakujja. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 70

لِّلۡكَٰفِرِينَ لَيۡسَ لَهُۥ دَافِعٞ

2. Bituuke ku bakafiiri tewali agenda kubigaana kubatuukako. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 70

مِّنَ ٱللَّهِ ذِي ٱلۡمَعَارِجِ

3. Nga biva eri Katonda nnyini madaala agalinya muggulu. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 70

تَعۡرُجُ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ وَٱلرُّوحُ إِلَيۡهِ فِي يَوۡمٖ كَانَ مِقۡدَارُهُۥ خَمۡسِينَ أَلۡفَ سَنَةٖ

4. Ba Malayika nga ne Jiburilu mwomutwalidde mwebayita nga bolekera eri Katonda, ekibatwalira olunaku lumu lwokka naye nga ate lwenkanankana e myaka e mitwalo etaano (egy'okunsi). info
التفاسير:

external-link copy
5 : 70

فَٱصۡبِرۡ صَبۡرٗا جَمِيلًا

5. Kale nno gumikiriza olugumikiriza olulungi. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 70

إِنَّهُمۡ يَرَوۡنَهُۥ بَعِيدٗا

6. Mazima bbo balaba ebibonerezo nga biri wala. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 70

وَنَرَىٰهُ قَرِيبٗا

7. Ate nga ffe tulaba nga biri kumpi. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 70

يَوۡمَ تَكُونُ ٱلسَّمَآءُ كَٱلۡمُهۡلِ

8. Ku lunaku eggulu lwelirikulukuta nga omuzigo omusanuuse. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 70

وَتَكُونُ ٱلۡجِبَالُ كَٱلۡعِهۡنِ

9. Ate ensozi neziba nga pamba asunsuddwa. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 70

وَلَا يَسۡـَٔلُ حَمِيمٌ حَمِيمٗا

10. Era tewali wamukwano agenda kubuuza bikwata ku ffa nfe we. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 70

يُبَصَّرُونَهُمۡۚ يَوَدُّ ٱلۡمُجۡرِمُ لَوۡ يَفۡتَدِي مِنۡ عَذَابِ يَوۡمِئِذِۭ بِبَنِيهِ

11. Bagenda kuba nga beeraba (naye nga tebayinza kuyambagana). Omwonoonyi olwokwagala okuwona ebibonerezo byolunaku olwo, aliyagala okwenunula nga awaayo abaanabe. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 70

وَصَٰحِبَتِهِۦ وَأَخِيهِ

12. Mukyalawe ne mugandawe. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 70

وَفَصِيلَتِهِ ٱلَّتِي تُـٔۡوِيهِ

13. N'ekika kye ekimukuuma. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 70

وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ جَمِيعٗا ثُمَّ يُنجِيهِ

14. Nabantu bonna abali munsi, nga ekyo akikola awone ebibonerezo bya Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 70

كَلَّآۖ إِنَّهَا لَظَىٰ

15. Tekigenda kuba nga bwayagala, mazima ayolekedde muliro ogubumbujja. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 70

نَزَّاعَةٗ لِّلشَّوَىٰ

16. Ogusiriiriza ddala eddiba. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 70

تَدۡعُواْ مَنۡ أَدۡبَرَ وَتَوَلَّىٰ

17. Gugenda kukowoola buli eyakubayo amabega nakyuka okuva ku mazima. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 70

وَجَمَعَ فَأَوۡعَىٰٓ

18. Era nga yakungaanyanga emmali nagitereka "natagyamu mugabo gugitukuza". info
التفاسير:

external-link copy
19 : 70

۞ إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ خُلِقَ هَلُوعًا

19. Mazima omuntu yatondebwa nga wamulugube. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 70

إِذَا مَسَّهُ ٱلشَّرُّ جَزُوعٗا

20. Nga bwatuukibwako akabi ayitirira okutya. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 70

وَإِذَا مَسَّهُ ٱلۡخَيۡرُ مَنُوعًا

21. Ate bwaba afunye akalungi ayitirira obukodo. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 70

إِلَّا ٱلۡمُصَلِّينَ

22. Okugyako abo abayimirizaawo e sswala. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 70

ٱلَّذِينَ هُمۡ عَلَىٰ صَلَاتِهِمۡ دَآئِمُونَ

23. Abo nga okusaala kwabwe kwalubeerera. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 70

وَٱلَّذِينَ فِيٓ أَمۡوَٰلِهِمۡ حَقّٞ مَّعۡلُومٞ

24. Era abo mu by'obugagga byabwe mulimu omugabo ogumanyiddwa. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 70

لِّلسَّآئِلِ وَٱلۡمَحۡرُومِ

25. Guweebwa abasabi n'abafuna mpola. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 70

وَٱلَّذِينَ يُصَدِّقُونَ بِيَوۡمِ ٱلدِّينِ

26. Era bebo abakakasa o kubeerawo kw'olunaku lw'enkomerero. info
التفاسير:

external-link copy
27 : 70

وَٱلَّذِينَ هُم مِّنۡ عَذَابِ رَبِّهِم مُّشۡفِقُونَ

27. Era abo abatya ebibonerezo bya Mukama Katonda waabwe. info
التفاسير:

external-link copy
28 : 70

إِنَّ عَذَابَ رَبِّهِمۡ غَيۡرُ مَأۡمُونٖ

28. Kubanga mazima ebibonerezo byamukama Katonda sibyakuwonwa. info
التفاسير:

external-link copy
29 : 70

وَٱلَّذِينَ هُمۡ لِفُرُوجِهِمۡ حَٰفِظُونَ

29. Era abo abakuuma obwerere bwabwe. info
التفاسير:

external-link copy
30 : 70

إِلَّا عَلَىٰٓ أَزۡوَٰجِهِمۡ أَوۡ مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُهُمۡ فَإِنَّهُمۡ غَيۡرُ مَلُومِينَ

30. Okugyako ku bakyala babwe oba abazaana abali mu mikono gyabwe, anti bo tebanenyezebwa kwabo. info
التفاسير:

external-link copy
31 : 70

فَمَنِ ٱبۡتَغَىٰ وَرَآءَ ذَٰلِكَ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡعَادُونَ

31. Omuntu asukka ku abo, abo nno be babuusi bensalo. info
التفاسير:

external-link copy
32 : 70

وَٱلَّذِينَ هُمۡ لِأَمَٰنَٰتِهِمۡ وَعَهۡدِهِمۡ رَٰعُونَ

32. Era abantu abalungi abogeddwako waggulu, bebatuukiriza obwesigwa bwabwe nendagaano zaabwe. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 70

وَٱلَّذِينَ هُم بِشَهَٰدَٰتِهِمۡ قَآئِمُونَ

33. Era abo abeesimbu mu bujulizi bwabwe. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 70

وَٱلَّذِينَ هُمۡ عَلَىٰ صَلَاتِهِمۡ يُحَافِظُونَ

34. Era abo abasaala e sswala zaabwe mu bujjuvu. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 70

أُوْلَٰٓئِكَ فِي جَنَّٰتٖ مُّكۡرَمُونَ

35. Abo nno balibeera mu jjana nga baweebwa ebitiibwa. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 70

فَمَالِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ قِبَلَكَ مُهۡطِعِينَ

36. Lwaki abakafiiri bajja gyoli nga banguwa "so nga ate bakulimbisa". info
التفاسير:

external-link copy
37 : 70

عَنِ ٱلۡيَمِينِ وَعَنِ ٱلشِّمَالِ عِزِينَ

37. Nga bali ku mukono gwo ogwa ddyo ne ku mukono ogwa kkono mu bibinja. info
التفاسير:

external-link copy
38 : 70

أَيَطۡمَعُ كُلُّ ٱمۡرِيٕٖ مِّنۡهُمۡ أَن يُدۡخَلَ جَنَّةَ نَعِيمٖ

38. Buli omu kubo asuubira okuyingira e jjana eyebyengera. info
التفاسير:

external-link copy
39 : 70

كَلَّآۖ إِنَّا خَلَقۡنَٰهُم مِّمَّا يَعۡلَمُونَ

39. Nedda sibwekiri, mazima ffe twabakola nga tubajja mwebyo byebamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
40 : 70

فَلَآ أُقۡسِمُ بِرَبِّ ٱلۡمَشَٰرِقِ وَٱلۡمَغَٰرِبِ إِنَّا لَقَٰدِرُونَ

40. Ndayira Katonda nannyini buvanjuba nobugwanjuba, mazima ffe tusobolera ddala. info
التفاسير:

external-link copy
41 : 70

عَلَىٰٓ أَن نُّبَدِّلَ خَيۡرٗا مِّنۡهُمۡ وَمَا نَحۡنُ بِمَسۡبُوقِينَ

41. Okubawanyisaamu abalungi ababasinga era tetuli ffe baakulemesebwa. info
التفاسير:

external-link copy
42 : 70

فَذَرۡهُمۡ يَخُوضُواْ وَيَلۡعَبُواْ حَتَّىٰ يُلَٰقُواْ يَوۡمَهُمُ ٱلَّذِي يُوعَدُونَ

42. Ggwe baveeko babeere mu bukafiiri bwabwe nga bwebazannya okutuusa lwebalisisinkana olunaku lwabwe, olwo lwebalaganyisibwa. info
التفاسير:

external-link copy
43 : 70

يَوۡمَ يَخۡرُجُونَ مِنَ ٱلۡأَجۡدَاثِ سِرَاعٗا كَأَنَّهُمۡ إِلَىٰ نُصُبٖ يُوفِضُونَ

43. Olunaku lwebalifuluma mu ntaana zaabwe nga baduma nga balinga abagenda eri ebendera ebatereddwawo. info
التفاسير:

external-link copy
44 : 70

خَٰشِعَةً أَبۡصَٰرُهُمۡ تَرۡهَقُهُمۡ ذِلَّةٞۚ ذَٰلِكَ ٱلۡيَوۡمُ ٱلَّذِي كَانُواْ يُوعَدُونَ

44. Amaaso gabwe makakkamu, obuswavu nga bubabuutikidde, olwo lwe lunaku lwe balaganyisibwa. info
التفاسير: