Traducción de los significados del Sagrado Corán - Traducción al idioma luganda - Fundación Africana para el Desarrollo

Waki-a

external-link copy
1 : 56

إِذَا وَقَعَتِ ٱلۡوَاقِعَةُ

1. Ekiseera ekitaliimu kubuusabuusa bwe kirituuka. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 56

لَيۡسَ لِوَقۡعَتِهَا كَاذِبَةٌ

2. Okutuuka kwakyo tekuliimu kubuusabuusa. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 56

خَافِضَةٞ رَّافِعَةٌ

3. Kirikakkanya (abeeyisa obubi era) kirisitula (abeeyisa obulungi). info
التفاسير:

external-link copy
4 : 56

إِذَا رُجَّتِ ٱلۡأَرۡضُ رَجّٗا

4. Ensi bwe rikankanyizibwa olukankana. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 56

وَبُسَّتِ ٱلۡجِبَالُ بَسّٗا

5. N'ensozi nezimerengulwa olumerengulwa. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 56

فَكَانَتۡ هَبَآءٗ مُّنۢبَثّٗا

6. Olwo nno nezifuuka enfuufu efumuuka. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 56

وَكُنتُمۡ أَزۡوَٰجٗا ثَلَٰثَةٗ

7. Era mmwe nemuba emitendera esatu. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 56

فَأَصۡحَٰبُ ٱلۡمَيۡمَنَةِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلۡمَيۡمَنَةِ

8. Olwo nno newabaawo ogwa ba nannyini mukono ogwa ddyo, yye omanyi okubeera ku mukono ogwaddyo kye kitegeeza?. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 56

وَأَصۡحَٰبُ ٱلۡمَشۡـَٔمَةِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلۡمَشۡـَٔمَةِ

9. Era newabaawo n’ogwa ba nannyini mukono ogwa kkono, yye omanyi okubeera ku mukono ogwa kkono kye kitegeeza?. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 56

وَٱلسَّٰبِقُونَ ٱلسَّٰبِقُونَ

10. Newabaawo n’ogwabo abaakulembera, abalikulembera mu buli kimu. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 56

أُوْلَٰٓئِكَ ٱلۡمُقَرَّبُونَ

11. Abo be bo kusembezebwa (ewa Katonda). info
التفاسير:

external-link copy
12 : 56

فِي جَنَّٰتِ ٱلنَّعِيمِ

12. Nga bali mu jjana ez'ebyengera. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 56

ثُلَّةٞ مِّنَ ٱلۡأَوَّلِينَ

13. Bangi mu bibiina ebyasooka. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 56

وَقَلِيلٞ مِّنَ ٱلۡأٓخِرِينَ

14. Nabatono mu kibiina kya bantu abenkomerero (abekibiina kya Nabbi Muhammad). info
التفاسير:

external-link copy
15 : 56

عَلَىٰ سُرُرٖ مَّوۡضُونَةٖ

15. (Balibeera) ku bitanda ebyakolebwa mu zzaabu n'amayinja amalala agomuwendo. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 56

مُّتَّكِـِٔينَ عَلَيۡهَا مُتَقَٰبِلِينَ

16. Baliba bagalamidde ku byo nga boolekaganye (nga banyumya). info
التفاسير:

external-link copy
17 : 56

يَطُوفُ عَلَيۡهِمۡ وِلۡدَٰنٞ مُّخَلَّدُونَ

17. Abaweereza abalenzi, abolubeerera baliba babayitamu. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 56

بِأَكۡوَابٖ وَأَبَارِيقَ وَكَأۡسٖ مِّن مَّعِينٖ

18. Nga balina ebikopo, amabinika ne giraasi ebijjudde omubisi oguva mu nsulo. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 56

لَّا يُصَدَّعُونَ عَنۡهَا وَلَا يُنزِفُونَ

19. Tebagenda kulumwa mutwe olwagwo era tebagenda kutamiira. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 56

وَفَٰكِهَةٖ مِّمَّا يَتَخَيَّرُونَ

20. N’ebibala (ebye njawulo) mwebyo bye baliba nga basazeewo. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 56

وَلَحۡمِ طَيۡرٖ مِّمَّا يَشۡتَهُونَ

21. Ne nnyama y’ebinyonyi eyo gye baliyagala. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 56

وَحُورٌ عِينٞ

22. N'abakyala abalungi abamaaso agatemagana. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 56

كَأَمۡثَٰلِ ٱللُّؤۡلُوِٕ ٱلۡمَكۡنُونِ

23. Nga balinga Luulu akuumibwa obutiribiri. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 56

جَزَآءَۢ بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ

24. (Ebyo byonna) nga mpeera yeebyo bye baali bakola (ebirungi ku nsi). info
التفاسير:

external-link copy
25 : 56

لَا يَسۡمَعُونَ فِيهَا لَغۡوٗا وَلَا تَأۡثِيمًا

25. Tebagenda kuwulira mu yo luyogaano wadde ebigambo ebyesittaza. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 56

إِلَّا قِيلٗا سَلَٰمٗا سَلَٰمٗا

26. Okugyako okugamba nti mirembe, mirembe. info
التفاسير:

external-link copy
27 : 56

وَأَصۡحَٰبُ ٱلۡيَمِينِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلۡيَمِينِ

27. Abantu bo ku mukono ogwa ddyo, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa ddyo baliba batya?. info
التفاسير:

external-link copy
28 : 56

فِي سِدۡرٖ مَّخۡضُودٖ

28. Balituula (mu bittuluze) by'emiti gya Sidiri atemeddwako amaggwa. info
التفاسير:

external-link copy
29 : 56

وَطَلۡحٖ مَّنضُودٖ

29. N'ensuku ezirimu amatooke agaliko ebiwagu ebiberekaganye. info
التفاسير:

external-link copy
30 : 56

وَظِلّٖ مَّمۡدُودٖ

30. N'ebisikirize ebigazi. info
التفاسير:

external-link copy
31 : 56

وَمَآءٖ مَّسۡكُوبٖ

31. N'amazzi agakulukuta awatali kusalako. info
التفاسير:

external-link copy
32 : 56

وَفَٰكِهَةٖ كَثِيرَةٖ

32. N'ebibala ebingi. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 56

لَّا مَقۡطُوعَةٖ وَلَا مَمۡنُوعَةٖ

33. Ebitaggwawo ate ebitatekebwako kkomo. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 56

وَفُرُشٖ مَّرۡفُوعَةٍ

34. N'ebyaliiro ebisuffu ebya waggulu. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 56

إِنَّآ أَنشَأۡنَٰهُنَّ إِنشَآءٗ

35. Mazima ffe twatonda abakyala bo mu jjana olutonda. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 56

فَجَعَلۡنَٰهُنَّ أَبۡكَارًا

36. Olwo nno twabatonda nga mbeerera. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 56

عُرُبًا أَتۡرَابٗا

37. Nga bulijjo baganzi eri ba bbaabwe nga tebakakiddwa. info
التفاسير:

external-link copy
38 : 56

لِّأَصۡحَٰبِ ٱلۡيَمِينِ

38. Nga bo ba bantu abalibeera ku mukono ogwa ddyo. info
التفاسير:

external-link copy
39 : 56

ثُلَّةٞ مِّنَ ٱلۡأَوَّلِينَ

39. Bangi mu bibiina ebyasooka. info
التفاسير:

external-link copy
40 : 56

وَثُلَّةٞ مِّنَ ٱلۡأٓخِرِينَ

40. Era bangi mu kibiina kya bantu ab'enkomerero (ab’ekibiina kya Nabbi Muhammad). info
التفاسير:

external-link copy
41 : 56

وَأَصۡحَٰبُ ٱلشِّمَالِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلشِّمَالِ

41. Ate abantu bo ku mukono ogwa kkono, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa kkono baliba batya?. info
التفاسير:

external-link copy
42 : 56

فِي سَمُومٖ وَحَمِيمٖ

42. Balibeera mu kibuyaga ayokya n’amazzi ageeseze. info
التفاسير:

external-link copy
43 : 56

وَظِلّٖ مِّن يَحۡمُومٖ

43. Nga nebisikirize mwe balyewogoma, biriba bya mu mukka omuddugavu ogwokya. info
التفاسير:

external-link copy
44 : 56

لَّا بَارِدٖ وَلَا كَرِيمٍ

44. Biriba tebinnyogoga era nga tebisanyusa. info
التفاسير:

external-link copy
45 : 56

إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَبۡلَ ذَٰلِكَ مُتۡرَفِينَ

45. Anti mazima bo oluberyeberye lwa kino baali baamalibwawo ebyo kwe jalabya. info
التفاسير:

external-link copy
46 : 56

وَكَانُواْ يُصِرُّونَ عَلَى ٱلۡحِنثِ ٱلۡعَظِيمِ

46. Era baalemeranga ku kibi ekinene (bwe baalayiranga nti tewali kuzuukira). info
التفاسير:

external-link copy
47 : 56

وَكَانُواْ يَقُولُونَ أَئِذَا مِتۡنَا وَكُنَّا تُرَابٗا وَعِظَٰمًا أَءِنَّا لَمَبۡعُوثُونَ

47. Era baagamba nga nti bwetufa netufuuka ettaka, era netusigala ngumba gumba abaffe tulizuukizibwa!. info
التفاسير:

external-link copy
48 : 56

أَوَءَابَآؤُنَا ٱلۡأَوَّلُونَ

48. Ne bakadde baffe abasooka (nabo bwe batyo)!. info
التفاسير:

external-link copy
49 : 56

قُلۡ إِنَّ ٱلۡأَوَّلِينَ وَٱلۡأٓخِرِينَ

49. Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima abasooka n'aboluvanyuma. info
التفاسير:

external-link copy
50 : 56

لَمَجۡمُوعُونَ إِلَىٰ مِيقَٰتِ يَوۡمٖ مَّعۡلُومٖ

50. Ddala ba kukunganyizibwa ku lunaku olwasalibwawo olumanyiddwa. info
التفاسير:

external-link copy
51 : 56

ثُمَّ إِنَّكُمۡ أَيُّهَا ٱلضَّآلُّونَ ٱلۡمُكَذِّبُونَ

51. Oluvanyuma mazima mmwe, abange mmwe ababuze abalimbisa. info
التفاسير:

external-link copy
52 : 56

لَأٓكِلُونَ مِن شَجَرٖ مِّن زَقُّومٖ

52. Ddala mugenda kulya ku muti gwa zakkumu. info
التفاسير:

external-link copy
53 : 56

فَمَالِـُٔونَ مِنۡهَا ٱلۡبُطُونَ

53. Nulijjuza nagwo embuto (gujjuze embuto zammwe). info
التفاسير:

external-link copy
54 : 56

فَشَٰرِبُونَ عَلَيۡهِ مِنَ ٱلۡحَمِيمِ

54. Olwo nno munywereko amazzi ageeseze. info
التفاسير:

external-link copy
55 : 56

فَشَٰرِبُونَ شُرۡبَ ٱلۡهِيمِ

55. Mugenda kunywa ng'ennywa ye ngamiya erina ennyonta. info
التفاسير:

external-link copy
56 : 56

هَٰذَا نُزُلُهُمۡ يَوۡمَ ٱلدِّينِ

56. Obwo bwe buliba obugenyi bwabwe ku lunaku lwo kusasula. info
التفاسير:

external-link copy
57 : 56

نَحۡنُ خَلَقۡنَٰكُمۡ فَلَوۡلَا تُصَدِّقُونَ

57. Ffe twabatonda, kale singa mukkiriza (okusinziira kwekyo). info
التفاسير:

external-link copy
58 : 56

أَفَرَءَيۡتُم مَّا تُمۡنُونَ

58. Abaffe mulaba amazzi (agazaala) ge muteeka mu nnabaana. info
التفاسير:

external-link copy
59 : 56

ءَأَنتُمۡ تَخۡلُقُونَهُۥٓ أَمۡ نَحۡنُ ٱلۡخَٰلِقُونَ

59. Abaffe mmwe mugatonda oba ffe batonzi!. info
التفاسير:

external-link copy
60 : 56

نَحۡنُ قَدَّرۡنَا بَيۡنَكُمُ ٱلۡمَوۡتَ وَمَا نَحۡنُ بِمَسۡبُوقِينَ

60. Ffe twagera netussa wakati wa mmwe okufa, (netubakakasaako okufa) era tetuli ffe ba kulemesebwa. info
التفاسير:

external-link copy
61 : 56

عَلَىٰٓ أَن نُّبَدِّلَ أَمۡثَٰلَكُمۡ وَنُنشِئَكُمۡ فِي مَا لَا تَعۡلَمُونَ

61. Okuba nga tuwaanyisa abalinga mmwe (mu mmwe) olwo nno mmwe, netubakolamu ebirala bye mutamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
62 : 56

وَلَقَدۡ عَلِمۡتُمُ ٱلنَّشۡأَةَ ٱلۡأُولَىٰ فَلَوۡلَا تَذَكَّرُونَ

62. Ate nga ddala mwamanya entandikwa eyasooka (engeri Katonda gye yabatondamu) kale singa mwebulirira. info
التفاسير:

external-link copy
63 : 56

أَفَرَءَيۡتُم مَّا تَحۡرُثُونَ

63. Abaffe mulaba ebyo bye mulima. info
التفاسير:

external-link copy
64 : 56

ءَأَنتُمۡ تَزۡرَعُونَهُۥٓ أَمۡ نَحۡنُ ٱلزَّٰرِعُونَ

64. Abaffe mmwe mubimeza oba ffe tumeza!. info
التفاسير:

external-link copy
65 : 56

لَوۡ نَشَآءُ لَجَعَلۡنَٰهُ حُطَٰمٗا فَظَلۡتُمۡ تَفَكَّهُونَ

65. Singa twagadde tusobola okubifuula ebikaze nemusigala nga mwewunaganya. info
التفاسير:

external-link copy
66 : 56

إِنَّا لَمُغۡرَمُونَ

66. (Nga mugamba nti) mazima ffe tetufunye ate nga tubanjibwa. info
التفاسير:

external-link copy
67 : 56

بَلۡ نَحۡنُ مَحۡرُومُونَ

67. (Si kye kyokka) wabula ffe tummiddwa. info
التفاسير:

external-link copy
68 : 56

أَفَرَءَيۡتُمُ ٱلۡمَآءَ ٱلَّذِي تَشۡرَبُونَ

68. Abaffe mulaba amazzi ago gemunywa. info
التفاسير:

external-link copy
69 : 56

ءَأَنتُمۡ أَنزَلۡتُمُوهُ مِنَ ٱلۡمُزۡنِ أَمۡ نَحۡنُ ٱلۡمُنزِلُونَ

69. Mwe mugassa okuva mu bire oba ffe tugassa. info
التفاسير:

external-link copy
70 : 56

لَوۡ نَشَآءُ جَعَلۡنَٰهُ أُجَاجٗا فَلَوۡلَا تَشۡكُرُونَ

70. Singa twagadde twaligafudde olukalabule kale singa mwebaza (Katonda olwo kugafuula amalungi). info
التفاسير:

external-link copy
71 : 56

أَفَرَءَيۡتُمُ ٱلنَّارَ ٱلَّتِي تُورُونَ

71. Abaffe mulaba omuliro ogwo gwe mukuma. info
التفاسير:

external-link copy
72 : 56

ءَأَنتُمۡ أَنشَأۡتُمۡ شَجَرَتَهَآ أَمۡ نَحۡنُ ٱلۡمُنشِـُٔونَ

72. Abaffe mmwe mwatandikawo omuti gwagwo, oba ffe twagutandika. info
التفاسير:

external-link copy
73 : 56

نَحۡنُ جَعَلۡنَٰهَا تَذۡكِرَةٗ وَمَتَٰعٗا لِّلۡمُقۡوِينَ

73. Ffe twagufuula kya kujjukiza, era nga gwa mugaso eri abatambuze (abataba na byoto bibakumira muliro). info
التفاسير:

external-link copy
74 : 56

فَسَبِّحۡ بِٱسۡمِ رَبِّكَ ٱلۡعَظِيمِ

74. Kale tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa. info
التفاسير:

external-link copy
75 : 56

۞ فَلَآ أُقۡسِمُ بِمَوَٰقِعِ ٱلنُّجُومِ

75. Tewali kingaana kulayira bifo bya munyeenye. info
التفاسير:

external-link copy
76 : 56

وَإِنَّهُۥ لَقَسَمٞ لَّوۡ تَعۡلَمُونَ عَظِيمٌ

76. Era mazima kwo ddala kulayira kunene singa mubadde mumanyi. info
التفاسير:

external-link copy
77 : 56

إِنَّهُۥ لَقُرۡءَانٞ كَرِيمٞ

77. Okuba nti ddala yo Kur’ani yakitiibwa. info
التفاسير:

external-link copy
78 : 56

فِي كِتَٰبٖ مَّكۡنُونٖ

78. Eri mu kitabo ekikuumibwa obutiribiri (ku Lawuhu al mahfudhu) info
التفاسير:

external-link copy
79 : 56

لَّا يَمَسُّهُۥٓ إِلَّا ٱلۡمُطَهَّرُونَ

79. Takikwatako okugyako abaatukuzibwa (ba malayika abatalina bukyafu bwa mibiri oba obwe nzikiriza). info
التفاسير:

external-link copy
80 : 56

تَنزِيلٞ مِّن رَّبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

80. Essibwa okuva ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde. info
التفاسير:

external-link copy
81 : 56

أَفَبِهَٰذَا ٱلۡحَدِيثِ أَنتُم مُّدۡهِنُونَ

81. Abaffe ebigambo bino (ebya Kur’ani) mmwe bye mugayaalirira. info
التفاسير:

external-link copy
82 : 56

وَتَجۡعَلُونَ رِزۡقَكُمۡ أَنَّكُمۡ تُكَذِّبُونَ

82. Okugirimbisa mmwe ne mukifuula okuba nga ye Riziki yammwe. info
التفاسير:

external-link copy
83 : 56

فَلَوۡلَآ إِذَا بَلَغَتِ ٱلۡحُلۡقُومَ

83. Singa omwoyo wegutuukira mu ddokooli (musala amagezi nemugutaasa). info
التفاسير:

external-link copy
84 : 56

وَأَنتُمۡ حِينَئِذٖ تَنظُرُونَ

84. Ate nga mmwe mu kiseera ekyo mubaawo nga mutunula. info
التفاسير:

external-link copy
85 : 56

وَنَحۡنُ أَقۡرَبُ إِلَيۡهِ مِنكُمۡ وَلَٰكِن لَّا تُبۡصِرُونَ

85. Era ffe tuba okumpi naye okusinga mmwe, naye temulaba. info
التفاسير:

external-link copy
86 : 56

فَلَوۡلَآ إِن كُنتُمۡ غَيۡرَ مَدِينِينَ

86. Kale singa mwali temufugibwa (Katonda). info
التفاسير:

external-link copy
87 : 56

تَرۡجِعُونَهَآ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ

87. Muyinza okugamba nti mwandiguzizzaamu mu mubiri, bwe muba mwogera mazima. info
التفاسير:

external-link copy
88 : 56

فَأَمَّآ إِن كَانَ مِنَ ٱلۡمُقَرَّبِينَ

88. Naye (omufu) bwaba mu bo kumpi (ne Katonda). info
التفاسير:

external-link copy
89 : 56

فَرَوۡحٞ وَرَيۡحَانٞ وَجَنَّتُ نَعِيمٖ

89. Aliba mu kwesiima na mirembe na jjana eye byengera. info
التفاسير:

external-link copy
90 : 56

وَأَمَّآ إِن كَانَ مِنۡ أَصۡحَٰبِ ٱلۡيَمِينِ

90. Ate bwaba mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo. info
التفاسير:

external-link copy
91 : 56

فَسَلَٰمٞ لَّكَ مِنۡ أَصۡحَٰبِ ٱلۡيَمِينِ

91. (Aliyozebwayozebwa nti) emirembe gibeere ku ggwe, olwokuba oli mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo. info
التفاسير:

external-link copy
92 : 56

وَأَمَّآ إِن كَانَ مِنَ ٱلۡمُكَذِّبِينَ ٱلضَّآلِّينَ

92. Wabula bwabeera nga ali mu balimbisa ababuze. info
التفاسير:

external-link copy
93 : 56

فَنُزُلٞ مِّنۡ حَمِيمٖ

93. (Oyo nno) obugenyi (bwe) bwalwegye lwa mazzi. info
التفاسير:

external-link copy
94 : 56

وَتَصۡلِيَةُ جَحِيمٍ

94. Nakwesogga muliro Jahiimu. info
التفاسير:

external-link copy
95 : 56

إِنَّ هَٰذَا لَهُوَ حَقُّ ٱلۡيَقِينِ

95. Mazima ebyo ge mazima agannamaddala. info
التفاسير:

external-link copy
96 : 56

فَسَبِّحۡ بِٱسۡمِ رَبِّكَ ٱلۡعَظِيمِ

96. Kale nno tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa. info
التفاسير: