Traducción de los significados del Sagrado Corán - Traducción al idioma luganda - Fundación Africana para el Desarrollo

external-link copy
143 : 2

وَكَذَٰلِكَ جَعَلۡنَٰكُمۡ أُمَّةٗ وَسَطٗا لِّتَكُونُواْ شُهَدَآءَ عَلَى ٱلنَّاسِ وَيَكُونَ ٱلرَّسُولُ عَلَيۡكُمۡ شَهِيدٗاۗ وَمَا جَعَلۡنَا ٱلۡقِبۡلَةَ ٱلَّتِي كُنتَ عَلَيۡهَآ إِلَّا لِنَعۡلَمَ مَن يَتَّبِعُ ٱلرَّسُولَ مِمَّن يَنقَلِبُ عَلَىٰ عَقِبَيۡهِۚ وَإِن كَانَتۡ لَكَبِيرَةً إِلَّا عَلَى ٱلَّذِينَ هَدَى ٱللَّهُۗ وَمَا كَانَ ٱللَّهُ لِيُضِيعَ إِيمَٰنَكُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ بِٱلنَّاسِ لَرَءُوفٞ رَّحِيمٞ

143. Bwe tutyo twabafuula ekibiina eky'omumakkati, mube nga mwe muwa obujulizi ku bantu, nga ate mmwe omubaka (Nabbi Muhammad) y'abawaako obujulizi. Tetwateekawo ekibula kyewasooka okwolekera okugyako lwa kwagala kulaba abagoberezi b'omubaka abannamaddala obutafaanana n'abo abakyukira ku bisinziiro byabwe. Wabula kino kyali kinene nnyo okugyako ku abo Katonda beyaluŋŋamya. Era Katonda si wabutabala bukkiriza bwa mmwe. Mazima Katonda wakisa era musaasizi ku bantu. info
التفاسير: