Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation

external-link copy
57 : 6

قُلۡ إِنِّي عَلَىٰ بَيِّنَةٖ مِّن رَّبِّي وَكَذَّبۡتُم بِهِۦۚ مَا عِندِي مَا تَسۡتَعۡجِلُونَ بِهِۦٓۚ إِنِ ٱلۡحُكۡمُ إِلَّا لِلَّهِۖ يَقُصُّ ٱلۡحَقَّۖ وَهُوَ خَيۡرُ ٱلۡفَٰصِلِينَ

57. Gamba nti mazima nze ndi ku mazima agava ewa Mukama omulabirizi wange, naye nga mmwe mugalimbisa, kye mwagala kijje amangu (e kyebibonerezo) tekiri mu mikono gyange, okusalawo tekuli wantu wonna okugyako wa Katonda, byonna byayogera mazima, era bulijjo yaasinga abalamuzi bonna. info
التفاسير: