Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation

external-link copy
3 : 4

وَإِنۡ خِفۡتُمۡ أَلَّا تُقۡسِطُواْ فِي ٱلۡيَتَٰمَىٰ فَٱنكِحُواْ مَا طَابَ لَكُم مِّنَ ٱلنِّسَآءِ مَثۡنَىٰ وَثُلَٰثَ وَرُبَٰعَۖ فَإِنۡ خِفۡتُمۡ أَلَّا تَعۡدِلُواْ فَوَٰحِدَةً أَوۡ مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُكُمۡۚ ذَٰلِكَ أَدۡنَىٰٓ أَلَّا تَعُولُواْ

3. Bwemutyanga obutakola bwenkanya eri bamulekwa (Abawala bemwasigaza okulabirira temubawasa) olwonno muwase abakyala abalala abo ababa babasanyusizza owa babiri, owa basatu, n’owabana, wabula bwemutyanga obutakola bwenkanya, kale omu, oba oyo omuzaana yenna gwemuba mulina mu mikono gyammwe, ekyo kyekirungi okuwona obuzibu bwokwekubiira. info
التفاسير: