Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation

external-link copy
171 : 2

وَمَثَلُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ كَمَثَلِ ٱلَّذِي يَنۡعِقُ بِمَا لَا يَسۡمَعُ إِلَّا دُعَآءٗ وَنِدَآءٗۚ صُمُّۢ بُكۡمٌ عُمۡيٞ فَهُمۡ لَا يَعۡقِلُونَ

171. Ekifaananyi ky'abantu abo abatakkiriza n'oyo abakoowoola okujja eri obukkiriza kiringa omulunzi akoowoola ensoloze ne zijja gy'ali naye nga tezitegeera ky'aziyitira wabula okuwulira amaloboozi n'okukoowoolwa. (Abatakkiriza abo) Bakiggala, bakassiru, bamuzibe, tebagenda kutegeera kintu kyonna. info
التفاسير: