Übersetzung der Bedeutungen von dem heiligen Quran - Die Übersetzung in Luganda - Afrikanisches Institut für Entwicklung

Al-A'ala

external-link copy
1 : 87

سَبِّحِ ٱسۡمَ رَبِّكَ ٱلۡأَعۡلَى

1. Tendereza erinnya ly’omulabiriziwo owa waggulu. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 87

ٱلَّذِي خَلَقَ فَسَوَّىٰ

2. Oyo eyatonda n'atereeza. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 87

وَٱلَّذِي قَدَّرَ فَهَدَىٰ

3. Era eyateekateeka buli kintu n'akyenkanyankanya. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 87

وَٱلَّذِيٓ أَخۡرَجَ ٱلۡمَرۡعَىٰ

4. Era oyo ameza omuddo oguliibwa e bisolo. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 87

فَجَعَلَهُۥ غُثَآءً أَحۡوَىٰ

5. Oluvanyuma agufuula omukalu. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 87

سَنُقۡرِئُكَ فَلَا تَنسَىٰٓ

6. Tujja kukusomesa (Kur'ani) obeere nga teweerabira. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 87

إِلَّا مَا شَآءَ ٱللَّهُۚ إِنَّهُۥ يَعۡلَمُ ٱلۡجَهۡرَ وَمَا يَخۡفَىٰ

7. Okugyako ebyo Katonda by’anaaba ayagadde okukwerabiza. Katonda y’amanyi ebyogerwa mu lwatu ne mu kyama. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 87

وَنُيَسِّرُكَ لِلۡيُسۡرَىٰ

8. Tujja kukwanguyiza amateeka gabeere mangu. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 87

فَذَكِّرۡ إِن نَّفَعَتِ ٱلذِّكۡرَىٰ

9. Kale buulirira, okubuulirira bwe kuba nga kunaagasa. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 87

سَيَذَّكَّرُ مَن يَخۡشَىٰ

10. Anaaganyulwa oyo atya Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 87

وَيَتَجَنَّبُهَا ٱلۡأَشۡقَى

11. Omwonoonyi ajja ku kwesamba (okubuulirira okwo). info
التفاسير:

external-link copy
12 : 87

ٱلَّذِي يَصۡلَى ٱلنَّارَ ٱلۡكُبۡرَىٰ

12. Oyo alyesogga omuliro ogwamaanyi. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 87

ثُمَّ لَا يَمُوتُ فِيهَا وَلَا يَحۡيَىٰ

13. Ng’amaze (okusonsekebwa mu muliro ogwo), tagenda kufa wadde okufuna obulamu (obwesiimisa). info
التفاسير:

external-link copy
14 : 87

قَدۡ أَفۡلَحَ مَن تَزَكَّىٰ

14. Mazima yeesiimye omuntu e yeetukuza. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 87

وَذَكَرَ ٱسۡمَ رَبِّهِۦ فَصَلَّىٰ

15. N’ayogera ku linnya ly’omuleziwe olwo nno n’asaala. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 87

بَلۡ تُؤۡثِرُونَ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَا

16. Wabula mmwe musukkulumya obulamu obw’ensi. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 87

وَٱلۡأٓخِرَةُ خَيۡرٞ وَأَبۡقَىٰٓ

17. So nga obulamu obw'enkomerero bwe businga obulungi era bwe bwo kusigalawo. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 87

إِنَّ هَٰذَا لَفِي ٱلصُّحُفِ ٱلۡأُولَىٰ

18. Mazima bino biri mu biwandiiko ebyasooka. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 87

صُحُفِ إِبۡرَٰهِيمَ وَمُوسَىٰ

19. Ebiwandiiko bya Ibrahim ne Musa. info
التفاسير: