Übersetzung der Bedeutungen von dem heiligen Quran - Die Übersetzung in Luganda - Afrikanisches Institut für Entwicklung

Al Maedah

external-link copy
1 : 6

ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَجَعَلَ ٱلظُّلُمَٰتِ وَٱلنُّورَۖ ثُمَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِرَبِّهِمۡ يَعۡدِلُونَ

1. Ebitendo byonna e birungi bya Katonda oyo eyakola e ggulu omusanvu ne nsi n’assaawo e nzikiza ne kitangaala, wabula abo abagyemera Mukama omulabirizi waabwe bava ku mazima. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 6

هُوَ ٱلَّذِي خَلَقَكُم مِّن طِينٖ ثُمَّ قَضَىٰٓ أَجَلٗاۖ وَأَجَلٞ مُّسَمًّى عِندَهُۥۖ ثُمَّ أَنتُمۡ تَمۡتَرُونَ

2. Yye yooyo (Katonda) e yabatonda nga abajja mu ttaka, oluvanyuma naasalawo buli omu mu mmwe e bbanga lya naawangaala, ate nassaawo e bbanga e ddala e ggere e rimanyiddwa yye yekka, ensi lwerikoma. Ate oluvanyuma mmwe mubuusabuusa. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 6

وَهُوَ ٱللَّهُ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَفِي ٱلۡأَرۡضِ يَعۡلَمُ سِرَّكُمۡ وَجَهۡرَكُمۡ وَيَعۡلَمُ مَا تَكۡسِبُونَ

3. Era yye, ye Katonda mu ggulu omusanvu ne nsi, amanya bye mukola mu kyama ne bye mukola mu lwatu, era amanya byonna bye mukola. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 6

وَمَا تَأۡتِيهِم مِّنۡ ءَايَةٖ مِّنۡ ءَايَٰتِ رَبِّهِمۡ إِلَّا كَانُواْ عَنۡهَا مُعۡرِضِينَ

4. Tewali kabonero konna kabajjira mu bubonero bwa Katonda okugyako bwonna babwawukanako. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 6

فَقَدۡ كَذَّبُواْ بِٱلۡحَقِّ لَمَّا جَآءَهُمۡ فَسَوۡفَ يَأۡتِيهِمۡ أَنۢبَٰٓؤُاْ مَا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ

5. Mazima baalimbisa amazima bwe gaabajjira, naye luliba lumu ebigambo e bituufu e bikwata kwebyo bye baajeejanga biri bajjira. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 6

أَلَمۡ يَرَوۡاْ كَمۡ أَهۡلَكۡنَا مِن قَبۡلِهِم مِّن قَرۡنٖ مَّكَّنَّٰهُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ مَا لَمۡ نُمَكِّن لَّكُمۡ وَأَرۡسَلۡنَا ٱلسَّمَآءَ عَلَيۡهِم مِّدۡرَارٗا وَجَعَلۡنَا ٱلۡأَنۡهَٰرَ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهِمۡ فَأَهۡلَكۡنَٰهُم بِذُنُوبِهِمۡ وَأَنشَأۡنَا مِنۢ بَعۡدِهِمۡ قَرۡنًا ءَاخَرِينَ

6. Abaffe tebalaba e mirembe e meka agyaliwo oluberyeberye lwabwe gyetwazikiriza! twabawa okwegazaanyiza mu nsi, okusinga ku ngeri gyetwawa mmwe okwegazanyizaamu, ne tubawa e ggulu okuba nga libafukirira e nkuba mu bungi, ne tussawo e migga nga gikulukutira wansi waabwe, naye era ne tubazikiriza olwebibi byabwe ne tuleeta oluvanyuma lwabwe omulembe omulala. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 6

وَلَوۡ نَزَّلۡنَا عَلَيۡكَ كِتَٰبٗا فِي قِرۡطَاسٖ فَلَمَسُوهُ بِأَيۡدِيهِمۡ لَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ مُّبِينٞ

7. Singa twassa ku ggwe e kitabo e kikoleddwa mu mpapula ne bakikwatako n’emikono gyabwe, abo abaakaafuwala bandigambye nti, bino temuli okugyako ddogo lyennyini. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 6

وَقَالُواْ لَوۡلَآ أُنزِلَ عَلَيۡهِ مَلَكٞۖ وَلَوۡ أَنزَلۡنَا مَلَكٗا لَّقُضِيَ ٱلۡأَمۡرُ ثُمَّ لَا يُنظَرُونَ

8. Era nebagamba nti singa wassiddwa ku ye Malayika, naye singa twassa Malayika e nsonga yandiggweredde awo era ne batarindirizibwa. info
التفاسير: