Übersetzung der Bedeutungen von dem heiligen Quran - Die Übersetzung in Luganda - Afrikanisches Institut für Entwicklung

Swad

external-link copy
1 : 38

صٓۚ وَٱلۡقُرۡءَانِ ذِي ٱلذِّكۡرِ

1. Swad. Ndayidde Kur’ani ejjudde okujjukiza. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 38

بَلِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فِي عِزَّةٖ وَشِقَاقٖ

2. Wabula abaakaafuwala bali mu kwekuza na kuwalaaza mpaka. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 38

كَمۡ أَهۡلَكۡنَا مِن قَبۡلِهِم مِّن قَرۡنٖ فَنَادَواْ وَّلَاتَ حِينَ مَنَاصٖ

3. Emirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe, abaatuuka okukuba ebiwoobe (nga banoonya okutaasibwa), naye nga tewakyali buwonero. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 38

وَعَجِبُوٓاْ أَن جَآءَهُم مُّنذِرٞ مِّنۡهُمۡۖ وَقَالَ ٱلۡكَٰفِرُونَ هَٰذَا سَٰحِرٞ كَذَّابٌ

4. Nebeewuunya okuba nga omutiisa abajjira ng'ava mu bo, era abakaafiiri ne bagamba nti ono mulogo omulimba (awedde emirimu). info
التفاسير:

external-link copy
5 : 38

أَجَعَلَ ٱلۡأٓلِهَةَ إِلَٰهٗا وَٰحِدًاۖ إِنَّ هَٰذَا لَشَيۡءٌ عُجَابٞ

5. Abaffe abasinzibwa abangi abafudde omu! mazima ekyo kintu ekyewunyisa ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 38

وَٱنطَلَقَ ٱلۡمَلَأُ مِنۡهُمۡ أَنِ ٱمۡشُواْ وَٱصۡبِرُواْ عَلَىٰٓ ءَالِهَتِكُمۡۖ إِنَّ هَٰذَا لَشَيۡءٞ يُرَادُ

6. Ekibinja kya bakungu mu bo nekigenda (nga kikunga abantu) nti: mugende mu maaso era mugumiikirize mulemere ku ba katonda ba mmwe. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 38

مَا سَمِعۡنَا بِهَٰذَا فِي ٱلۡمِلَّةِ ٱلۡأٓخِرَةِ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا ٱخۡتِلَٰقٌ

7. Mazima kino (eky'okubaggya ku ba katonda ba mmwe) kkobaane (Muhammad mwayagalira okuyita abaggye ku nsinza yammwe), kino tetukiwulirangako mu nzikiriza (ey'abagoberezi ba Issa) eyasembayo, kino tekiri okugyako kiyiiye (buyiiya). info
التفاسير:

external-link copy
8 : 38

أَءُنزِلَ عَلَيۡهِ ٱلذِّكۡرُ مِنۢ بَيۡنِنَاۚ بَلۡ هُمۡ فِي شَكّٖ مِّن ذِكۡرِيۚ بَل لَّمَّا يَذُوقُواْ عَذَابِ

8. Muffe fenna yye (Muhammad) yassiddwaako obubaka! wabula (ekibaleetera obuzibu) lwa kuba bo bali mu kubuusabuusa okubuulirira kwange wabula (bakola ekyo) lwa kuba tebannakomba ku bibonerezo byange. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 38

أَمۡ عِندَهُمۡ خَزَآئِنُ رَحۡمَةِ رَبِّكَ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡوَهَّابِ

9. Oba (kyebava beeyisa bwe batyo) lwakuba balina amawanika g'okusaasira kwa Mukama omulabirizi wo, nantakubwa ku mukono, omugabi. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 38

أَمۡ لَهُم مُّلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَاۖ فَلۡيَرۡتَقُواْ فِي ٱلۡأَسۡبَٰبِ

10. Oba bo balina obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, bwe kiba bwekityo, kale baleke bakozese kyonna kyebasobola bafuneyo byebaagala. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 38

جُندٞ مَّا هُنَالِكَ مَهۡزُومٞ مِّنَ ٱلۡأَحۡزَابِ

11. Bo, ggye eriri awo lya kuwangulwa, libalibwa mu bibinja (ebyawangulwa). info
التفاسير:

external-link copy
12 : 38

كَذَّبَتۡ قَبۡلَهُمۡ قَوۡمُ نُوحٖ وَعَادٞ وَفِرۡعَوۡنُ ذُو ٱلۡأَوۡتَادِ

12. Mazima oluberyeberye lwabwe abantu ba Nuhu ne A-adi ne Farawo nannyini nkondo baalimbisa. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 38

وَثَمُودُ وَقَوۡمُ لُوطٖ وَأَصۡحَٰبُ لۡـَٔيۡكَةِۚ أُوْلَٰٓئِكَ ٱلۡأَحۡزَابُ

13. Ne ba Thamud n’abantu ba Luut n’abantu b’omukibira, ebyonno bye bibinja (ebyogeddwaako mu Aya 11). info
التفاسير:

external-link copy
14 : 38

إِن كُلٌّ إِلَّا كَذَّبَ ٱلرُّسُلَ فَحَقَّ عِقَابِ

14. Tewali muntu yenna mwabo okugyako nga yalimbisa ababaka, olwo nno ebibonerezo byange nebikakata (ku bo). info
التفاسير:

external-link copy
15 : 38

وَمَا يَنظُرُ هَٰٓؤُلَآءِ إِلَّا صَيۡحَةٗ وَٰحِدَةٗ مَّا لَهَا مِن فَوَاقٖ

15. Era abo tebalindirira okugyako lubwatuka lumu (oluliba olw'amaanyi) nga telwetaaga kuddibwamu mulundi mulala. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 38

وَقَالُواْ رَبَّنَا عَجِّل لَّنَا قِطَّنَا قَبۡلَ يَوۡمِ ٱلۡحِسَابِ

16. Era (abatakkiriza) bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe twanguyirize omugabo gwaffe (ogw'ebibonerezo) ng'olunaku lw'okubalibwa terunnatuuka. info
التفاسير: