Übersetzung der Bedeutungen von dem heiligen Quran - Die Übersetzung in Luganda - Afrikanisches Institut für Entwicklung

external-link copy
219 : 2

۞ يَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلۡخَمۡرِ وَٱلۡمَيۡسِرِۖ قُلۡ فِيهِمَآ إِثۡمٞ كَبِيرٞ وَمَنَٰفِعُ لِلنَّاسِ وَإِثۡمُهُمَآ أَكۡبَرُ مِن نَّفۡعِهِمَاۗ وَيَسۡـَٔلُونَكَ مَاذَا يُنفِقُونَۖ قُلِ ٱلۡعَفۡوَۗ كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمُ ٱلۡأٓيَٰتِ لَعَلَّكُمۡ تَتَفَكَّرُونَ

219. Bakubuuza ebikwata ku mwenge ne zzaala, bagambe nti mu by'ombiriri mulimu ekibi kinene, nga bwe mulimu emigaso eri abantu. Naye ekibi kyabyo kye kinene okusinga emigaso egibirimu. Ate era bakubuuza nti baweeyo kigero ki mu mmaali zaabwe, bagambe nti mugabenga ekyo ekiba kifisse ku byetaago byammwe. Bwatyo nno Katonda bwa bannyonnyola amateekage mulyoke mufumitirize. info
التفاسير: