Prijevod značenja časnog Kur'ana - Ugandski prijevod - Afrička ustanova za razvoj

Al-Infitwar

external-link copy
1 : 82

إِذَا ٱلسَّمَآءُ ٱنفَطَرَتۡ

1. E ggulu bwe ririba lyeyasizzaamu. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 82

وَإِذَا ٱلۡكَوَاكِبُ ٱنتَثَرَتۡ

2. N'emunyenye bwe ziriba nga zivudde waggulu ne zisaasaana. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 82

وَإِذَا ٱلۡبِحَارُ فُجِّرَتۡ

3. N'ennyanja bwe ziriba nga ziwaguludde. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 82

وَإِذَا ٱلۡقُبُورُ بُعۡثِرَتۡ

4. Ne Kabbuli bwe ziriba nga zifuukuddwa (abafu bonna ne bavaayo). info
التفاسير:

external-link copy
5 : 82

عَلِمَتۡ نَفۡسٞ مَّا قَدَّمَتۡ وَأَخَّرَتۡ

5. Omuntu alimanya ebyo bye yakulembeza okukola ne bye yasembyayo. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 82

يَٰٓأَيُّهَا ٱلۡإِنسَٰنُ مَا غَرَّكَ بِرَبِّكَ ٱلۡكَرِيمِ

6. Owange ggwe omuntu kale kiki ekyakugayaaza okukuggya ku muleziwo (Katonda) Omugabi. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 82

ٱلَّذِي خَلَقَكَ فَسَوَّىٰكَ فَعَدَلَكَ

7. Oyo eyakutonda n’akutereeza era n’akwenkanyankanya. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 82

فِيٓ أَيِّ صُورَةٖ مَّا شَآءَ رَكَّبَكَ

8. Mu kifaananyi kyonna kye yayagala mwe yakutondera. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 82

كَلَّا بَلۡ تُكَذِّبُونَ بِٱلدِّينِ

9. Nedda, wabula mulimbisa olunaku olw’okusasulwa (olw’enkomerero). info
التفاسير:

external-link copy
10 : 82

وَإِنَّ عَلَيۡكُمۡ لَحَٰفِظِينَ

10. Mazima muliko abakuumi (Ba Malayika). info
التفاسير:

external-link copy
11 : 82

كِرَامٗا كَٰتِبِينَ

11. Abeekitiibwa abawandiisi (abawandiika ebyo byonna ebikolebwa) info
التفاسير:

external-link copy
12 : 82

يَعۡلَمُونَ مَا تَفۡعَلُونَ

12. Bamanyi ebyo byonna byemukola. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 82

إِنَّ ٱلۡأَبۡرَارَ لَفِي نَعِيمٖ

13. Mazima abakozi b’obulungi balibeera mu byengera. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 82

وَإِنَّ ٱلۡفُجَّارَ لَفِي جَحِيمٖ

14. Era mazima abakozi b’ebibi bagenda kubeera mu muliro oguyitibwa Jahiimu. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 82

يَصۡلَوۡنَهَا يَوۡمَ ٱلدِّينِ

15. Bagenda kuguyingira ku lunaku olw’okusasulwa (olw'enkomerero). info
التفاسير:

external-link copy
16 : 82

وَمَا هُمۡ عَنۡهَا بِغَآئِبِينَ

16. Tebagenda ku gwebulankanyako. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 82

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا يَوۡمُ ٱلدِّينِ

17. On'omanyira ku ki olunaku olw'okusasulwa (olw’enkomerero). info
التفاسير:

external-link copy
18 : 82

ثُمَّ مَآ أَدۡرَىٰكَ مَا يَوۡمُ ٱلدِّينِ

18. Naye ddala on'omanyira ku ki olunaku olwokusasulwa (Katonda yakiddamu olwokuggumiza obukulu bw’olunaku olwo). info
التفاسير:

external-link copy
19 : 82

يَوۡمَ لَا تَمۡلِكُ نَفۡسٞ لِّنَفۡسٖ شَيۡـٔٗاۖ وَٱلۡأَمۡرُ يَوۡمَئِذٖ لِّلَّهِ

19. Olunaku omwoyo lwe gutaliba na buyinza bugasa mwoyo mulala na kintu kyonna. N’ebiragiro ku lunaku olwo biriba bya Katonda yekka. info
التفاسير: