ترجمة معاني القرآن الكريم - الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

سورة المدثر - Al–Muddathir

external-link copy
1 : 74

يَٰٓأَيُّهَا ٱلۡمُدَّثِّرُ

1. Owange ggwe eyeebikiridde (olwokutya Malayika Jiburilu lwe yakuleetera obubaka okuva eri Katonda). info
التفاسير:

external-link copy
2 : 74

قُمۡ فَأَنذِرۡ

2. Golokoka otiise abantu ebibonerezo bya Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 74

وَرَبَّكَ فَكَبِّرۡ

3. Ne Mukama Katondawo yekka gwoba ogulumiza. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 74

وَثِيَابَكَ فَطَهِّرۡ

4. N'engoyezo zitukuze. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 74

وَٱلرُّجۡزَ فَٱهۡجُرۡ

5. Amasanamu geewalire ddala. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 74

وَلَا تَمۡنُن تَسۡتَكۡثِرُ

6. Tokoleranga abantu obulungi ng'ogenderera kufunamu bulungi kuno ku nsi. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 74

وَلِرَبِّكَ فَٱصۡبِرۡ

7. Beeranga mugumikiriza osobole okufuna okusiima kwa Mukama Katondawo. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 74

فَإِذَا نُقِرَ فِي ٱلنَّاقُورِ

8. Engombe bwerifuuyibwa (kulwokuzuukira). info
التفاسير:

external-link copy
9 : 74

فَذَٰلِكَ يَوۡمَئِذٖ يَوۡمٌ عَسِيرٌ

9. Olunaku olwo lugenda kuba lunaku luzito. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 74

عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ غَيۡرُ يَسِيرٖ

10. Terugenda kuba lwangu eri abakafiiri. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 74

ذَرۡنِي وَمَنۡ خَلَقۡتُ وَحِيدٗا

11. (Owange ggwe Nabbi Muhammad) ndeka nooyo gwe nnetondera. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 74

وَجَعَلۡتُ لَهُۥ مَالٗا مَّمۡدُودٗا

12. Nemuwa ebyobugagga ebiyitirivu. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 74

وَبَنِينَ شُهُودٗا

13. Nemuwa nabaana abatutumufu. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 74

وَمَهَّدتُّ لَهُۥ تَمۡهِيدٗا

14. Ne mugaziyiriza olugaziya (e byenfuna obukulembeze n'ekitiibwa). info
التفاسير:

external-link copy
15 : 74

ثُمَّ يَطۡمَعُ أَنۡ أَزِيدَ

15. Oluvanyuma alulunkanira okumwongera okusingako awo. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 74

كَلَّآۖ إِنَّهُۥ كَانَ لِأٓيَٰتِنَا عَنِيدٗا

16. Nedda sijja kumwongera kuba yawakanya ebigambo byaffe (Kur'ani). info
التفاسير:

external-link copy
17 : 74

سَأُرۡهِقُهُۥ صَعُودًا

17. Nja kumussaako e bibonerezo e bizito. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 74

إِنَّهُۥ فَكَّرَ وَقَدَّرَ

18. Anti mazima yye (Al Walid bin Mugiira) yalowooza era naasalawo okuvvoola Kur'ani. info
التفاسير: