30 . Ekyo kiri bwe kityo, lwa kuba nti Katonda yye ye mazima, era ddala ebyo bye basaba ne baleka Katonda bye bikyamu, era mazima Katonda yye ye wa waggulu asinga okuweebwa e kitiibwa.
31 . Abaffe tolaba nti mazima amaato gaseeyeeya ku nnyanja ku lw'okusaasira kwa Katonda, olwo nno abe nga abalaga mu bubonerobwe. Mazima ekyo mulimu eby'okuyiga eri buli mugumiikiriza omwebaza.
32 . (Abatakkiriza bwe babeera mu maato ago) amayengo bwe gababikka ne genkana ng'ensozi (olwo nno) basaba Katonda, nga eddiini yonna bagikola ku lulwe yekka, naye bwabawonya, naabatuusa ku lubalama, mu bo mu baamu abeegendereza (ne baba wakati w'okukola e mirimu e mirungi n'emibi) era tawakanya bubonero bwaffe okugyako buli wa nkwe omukaafiiri.