《古兰经》译解 - 卢干达语翻译 - 非洲发展机构

external-link copy
240 : 2

وَٱلَّذِينَ يُتَوَفَّوۡنَ مِنكُمۡ وَيَذَرُونَ أَزۡوَٰجٗا وَصِيَّةٗ لِّأَزۡوَٰجِهِم مَّتَٰعًا إِلَى ٱلۡحَوۡلِ غَيۡرَ إِخۡرَاجٖۚ فَإِنۡ خَرَجۡنَ فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ فِي مَا فَعَلۡنَ فِيٓ أَنفُسِهِنَّ مِن مَّعۡرُوفٖۗ وَٱللَّهُ عَزِيزٌ حَكِيمٞ

240. Abo abatuukwako okufa mu mmwe nebaba nga balese abakyala, Katonda alagira nti abakyala abo bateekwa okulabirirwa omwaka mulamba awatali kubagobaganya mu mayumba g'aba bbaabwe. Wabula bwe bagavaamu kyeyagalire olwo nno muba temukyalina buvunaanyizibwa kw'ekyo kyebaba bakoze mu kwekolako nga beenyiriza. Bulijjo Katonda wa maanyi, ate nga agoba nsonga. info
التفاسير: