పవిత్ర ఖురాన్ యొక్క భావార్థాల అనువాదం - లుగాండా అనువాదం - అల్ ఆఫ్రికియ్యహ్ లిల్ తన్మియ్యహ్ సంస్థ

At-Tak wiir

external-link copy
1 : 81

إِذَا ٱلشَّمۡسُ كُوِّرَتۡ

1. Enjuba bw'erizingwako. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 81

وَإِذَا ٱلنُّجُومُ ٱنكَدَرَتۡ

2. Nga n’emunyeenye zikunkumuse. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 81

وَإِذَا ٱلۡجِبَالُ سُيِّرَتۡ

3. Era ensozi bwe zirikungunsibwa (ne zigibbwawo). info
التفاسير:

external-link copy
4 : 81

وَإِذَا ٱلۡعِشَارُ عُطِّلَتۡ

4. Nga n’ebisolo ebyo mu maka nga tebikyafiibwako (newakubadde nga biriba mawako). info
التفاسير:

external-link copy
5 : 81

وَإِذَا ٱلۡوُحُوشُ حُشِرَتۡ

5. N’ebisolo by’omu nsiko nabyo nga bikungaanyiziddwa. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 81

وَإِذَا ٱلۡبِحَارُ سُجِّرَتۡ

6. Nga n’ennyanja zikuumiddwako omuliro (ne zibumbujja). info
التفاسير:

external-link copy
7 : 81

وَإِذَا ٱلنُّفُوسُ زُوِّجَتۡ

7. Nga n’emyoyo gigatiddwa buli egifaanagana nga giri wamu (Emirungi nga giri n’emirungi, e mibi nga giri n’emibi). info
التفاسير:

external-link copy
8 : 81

وَإِذَا ٱلۡمَوۡءُۥدَةُ سُئِلَتۡ

8. Era omwana omuwala eyaziikibwa nga mulamu bw'aliba abuuziddwa. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 81

بِأَيِّ ذَنۢبٖ قُتِلَتۡ

9. Kibi ki ekyamussa?. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 81

وَإِذَا ٱلصُّحُفُ نُشِرَتۡ

10. Ebiwandiiko bwe biribeera nga bisasaanyiziddwa (nga buli kiwandiiko kituuka ku nnannyini kyo, omuli ebyo bye yakola ku nsi). info
التفاسير:

external-link copy
11 : 81

وَإِذَا ٱلسَّمَآءُ كُشِطَتۡ

11. E ggulu bwe liriba liggyiddwawo. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 81

وَإِذَا ٱلۡجَحِيمُ سُعِّرَتۡ

12. Nga n’omuliro gukoleezeddwa. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 81

وَإِذَا ٱلۡجَنَّةُ أُزۡلِفَتۡ

13. Nga n’ejjana esembezeddwa. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 81

عَلِمَتۡ نَفۡسٞ مَّآ أَحۡضَرَتۡ

14. Olwo omuntu alimanya ekyo kye yakola (kibe kirungi oba kibi). info
التفاسير:

external-link copy
15 : 81

فَلَآ أُقۡسِمُ بِٱلۡخُنَّسِ

15. Ndayira e munyeenye ezibulawo. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 81

ٱلۡجَوَارِ ٱلۡكُنَّسِ

16. Ezibula emisana ne zirabika ekiro. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 81

وَٱلَّيۡلِ إِذَا عَسۡعَسَ

17. Era ndayira ekiro bwe kiba nga kyolekedde okuggwaawo. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 81

وَٱلصُّبۡحِ إِذَا تَنَفَّسَ

18. Era ndayira n’amakya g’obudde nga busaasaana. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 81

إِنَّهُۥ لَقَوۡلُ رَسُولٖ كَرِيمٖ

19. Mazima yyo (Kur'ani) kigambo kya mubaka (Jiburilu) ow'ekitiibwa (ky’aggya eri Katonda n’akireetera Nabbi Muhammad). info
التفاسير:

external-link copy
20 : 81

ذِي قُوَّةٍ عِندَ ذِي ٱلۡعَرۡشِ مَكِينٖ

20. Oyo (Jiburilu) owaamaanyi era ow'ekitiibwa eri nnannyini Arishi. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 81

مُّطَاعٖ ثَمَّ أَمِينٖ

21. Agonderwa (ba Malayika banne) eyo (mu ggulu) ng'ate mwesigwa. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 81

وَمَا صَاحِبُكُم بِمَجۡنُونٖ

22. Era munnammwe (Nabbi Muhammad) si mulalu. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 81

وَلَقَدۡ رَءَاهُ بِٱلۡأُفُقِ ٱلۡمُبِينِ

23. Mazima ddala ye (Muhammad) yamulaba (Jiburilu) mu bweyolefu nga ajjudde obwengula. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 81

وَمَا هُوَ عَلَى ٱلۡغَيۡبِ بِضَنِينٖ

24. Era tali (Nabbi Muhammad) ku bigambo ebyekwese (ebikwata ku bubaka obuva eri Katonda n'ebigambo by'omu ggulu) ayinza obutatuukiriza. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 81

وَمَا هُوَ بِقَوۡلِ شَيۡطَٰنٖ رَّجِيمٖ

25. (Ebigambo bya Kur'ani Muhammad byayogera) si bigambo bya sitaani omukolimire. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 81

فَأَيۡنَ تَذۡهَبُونَ

26. Naye ddala mulaga wa? info
التفاسير:

external-link copy
27 : 81

إِنۡ هُوَ إِلَّا ذِكۡرٞ لِّلۡعَٰلَمِينَ

27. Wabula Yo (Kur'ani) kyakubuulirira eri ebitonde byonna. info
التفاسير:

external-link copy
28 : 81

لِمَن شَآءَ مِنكُمۡ أَن يَسۡتَقِيمَ

28. Eri oyo mu mmwe aba ayagadde okulungama. info
التفاسير:

external-link copy
29 : 81

وَمَا تَشَآءُونَ إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُ رَبُّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

29. Naye ate temujja kwagala okugyako nga Katonda Omulezi w’ebitonde ayagadde. info
التفاسير: