పవిత్ర ఖురాన్ యొక్క భావార్థాల అనువాదం - లుగాండా అనువాదం - అల్ ఆఫ్రికియ్యహ్ లిల్ తన్మియ్యహ్ సంస్థ

AL-Mur salaat

external-link copy
1 : 77

وَٱلۡمُرۡسَلَٰتِ عُرۡفٗا

1. Ndayidde empewo ekunta mu ngeri y'okugoberegana. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 77

فَٱلۡعَٰصِفَٰتِ عَصۡفٗا

2. Era ndayidde kibuyaga akunta mu ngeri ey'amaanyi eyakabi. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 77

وَٱلنَّٰشِرَٰتِ نَشۡرٗا

3. Era ndayidde Malayika ezitambuza ebire olutambuza (olwokutonyesa enkuba). info
التفاسير:

external-link copy
4 : 77

فَٱلۡفَٰرِقَٰتِ فَرۡقٗا

4. Era ndayidde Malayika ezikka okuva ewa Katonda nga zireeta ebyawula wakati w'amazima n'obulimba. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 77

فَٱلۡمُلۡقِيَٰتِ ذِكۡرًا

5. Era ndayidde Malayika ezireeta ebitabo n'obubaka eri ba Nabbi ba Katonda nga byakujjukiza. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 77

عُذۡرًا أَوۡ نُذۡرًا

6. Mu ngeri yokuba nti bijjawo ebyokwekwaasa oba nga byakutiisa. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 77

إِنَّمَا تُوعَدُونَ لَوَٰقِعٞ

7. Mazima bye mulaganyisibwa ebikwata ku lunaku lw'enkomerero n'okusasulwa bya kubaawo. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 77

فَإِذَا ٱلنُّجُومُ طُمِسَتۡ

8. Emunyeenye lweziriggibwawo (newataba kitangaala kyaazo). info
التفاسير:

external-link copy
9 : 77

وَإِذَا ٱلسَّمَآءُ فُرِجَتۡ

9. Era eggulu bweririwumulwa (nerirabika nga emiryango). info
التفاسير:

external-link copy
10 : 77

وَإِذَا ٱلۡجِبَالُ نُسِفَتۡ

10. Era ensozi bwezirimerengulwa. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 77

وَإِذَا ٱلرُّسُلُ أُقِّتَتۡ

11. Era ababaka b'a Katonda bwebaliweebwa akadde k'okuwa obujulizi kwabo bebaatumwamu. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 77

لِأَيِّ يَوۡمٍ أُجِّلَتۡ

12. (Ebintu ebyo ebyentiisa) biribaawo ddi!. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 77

لِيَوۡمِ ٱلۡفَصۡلِ

13. Bigenda kubaawo ku lunaku olwokusalawo n'okulamula wakati w'ebitonde. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 77

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا يَوۡمُ ٱلۡفَصۡلِ

14. Abaffe omanyi olunaku lw'okusalawo kyekki!. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 77

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

15. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abalulimbisa. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 77

أَلَمۡ نُهۡلِكِ ٱلۡأَوَّلِينَ

16. Abaffe tetwazikiriza ababasokawo. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 77

ثُمَّ نُتۡبِعُهُمُ ٱلۡأٓخِرِينَ

17. Netubagoberezaako abalala. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 77

كَذَٰلِكَ نَفۡعَلُ بِٱلۡمُجۡرِمِينَ

18. Bwetutyo nno bwetukola mu kubonereza abonoonyi. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 77

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

19. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 77

أَلَمۡ نَخۡلُقكُّم مِّن مَّآءٖ مَّهِينٖ

20. Abaffe tetwabakola nga tubajja mu mazzi aganyomebwa. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 77

فَجَعَلۡنَٰهُ فِي قَرَارٖ مَّكِينٍ

21. Netugateeka mukifo ekigakuuma. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 77

إِلَىٰ قَدَرٖ مَّعۡلُومٖ

22. Okutuusa ebbanga eggere erimanyiddwa. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 77

فَقَدَرۡنَا فَنِعۡمَ ٱلۡقَٰدِرُونَ

23. Bwetutyo nno bwetwateekateeka okutondebwa kwabwe tuli bateesiteesi abasinga obulungi. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 77

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

24. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 77

أَلَمۡ نَجۡعَلِ ٱلۡأَرۡضَ كِفَاتًا

25. Abaffe ensi tetwagikola nga ekungaanya. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 77

أَحۡيَآءٗ وَأَمۡوَٰتٗا

26. Abalamu n'abafu (bonna ngabali muyo). info
التفاسير:

external-link copy
27 : 77

وَجَعَلۡنَا فِيهَا رَوَٰسِيَ شَٰمِخَٰتٖ وَأَسۡقَيۡنَٰكُم مَّآءٗ فُرَاتٗا

27. Netugiteekamu e nsozi eziginyweza entumbiivu ne tubawa amazzi amalungi. info
التفاسير:

external-link copy
28 : 77

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

28. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa. info
التفاسير:

external-link copy
29 : 77

ٱنطَلِقُوٓاْ إِلَىٰ مَا كُنتُم بِهِۦ تُكَذِّبُونَ

29. Ku lunaku lw'enkomerero abakafiiri baliragirwa nti mugende eri ebyo bye mwali mulimbisa. info
التفاسير:

external-link copy
30 : 77

ٱنطَلِقُوٓاْ إِلَىٰ ظِلّٖ ذِي ثَلَٰثِ شُعَبٖ

30. Mugende eri ekisiikirize ekyomuliro ngakirimu ebitundu bisatu. info
التفاسير:

external-link copy
31 : 77

لَّا ظَلِيلٖ وَلَا يُغۡنِي مِنَ ٱللَّهَبِ

31. Wabula tebaliba na kibasiikiriza wadde e kibataasa nnimi z'amuliro. info
التفاسير:

external-link copy
32 : 77

إِنَّهَا تَرۡمِي بِشَرَرٖ كَٱلۡقَصۡرِ

32. Mazima omuliro ogwo gukasuka ebitawuliro nga biringa ebizimbe ebigulumivu. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 77

كَأَنَّهُۥ جِمَٰلَتٞ صُفۡرٞ

33. Ebitawuliro ebyo nga biringa engamiya ez'akyenvu. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 77

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

34. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 77

هَٰذَا يَوۡمُ لَا يَنطِقُونَ

35. Olwo lunaku lwebatagenda kwogera. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 77

وَلَا يُؤۡذَنُ لَهُمۡ فَيَعۡتَذِرُونَ

36. Wadde okukkirizibwa okwetonda. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 77

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

37. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa. info
التفاسير:

external-link copy
38 : 77

هَٰذَا يَوۡمُ ٱلۡفَصۡلِۖ جَمَعۡنَٰكُمۡ وَٱلۡأَوَّلِينَ

38. Luno lwe lunaku lw'okulamula tubakunganyizza mwenna n'aba bakulembera. info
التفاسير:

external-link copy
39 : 77

فَإِن كَانَ لَكُمۡ كَيۡدٞ فَكِيدُونِ

39. Bwe muba mulina engeri gyemuyinza okwebulankanyamu kale munnebulankanyeko. info
التفاسير:

external-link copy
40 : 77

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

40. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa. info
التفاسير:

external-link copy
41 : 77

إِنَّ ٱلۡمُتَّقِينَ فِي ظِلَٰلٖ وَعُيُونٖ

41. Naye mazima abatya Katonda bagenda kubeera mu bisiikirize n'emigga egikulukuta. info
التفاسير:

external-link copy
42 : 77

وَفَوَٰكِهَ مِمَّا يَشۡتَهُونَ

42. N'ebibala byebaliba bagala. info
التفاسير:

external-link copy
43 : 77

كُلُواْ وَٱشۡرَبُواْ هَنِيٓـَٔۢا بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ

43. Nga bagambibwa nti mulye era munywe nga mweyagala. info
التفاسير:

external-link copy
44 : 77

إِنَّا كَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ

44. Mazima ffe bwetutyo bwetusasula abakozi b'obulungi. info
التفاسير:

external-link copy
45 : 77

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

45. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa. info
التفاسير:

external-link copy
46 : 77

كُلُواْ وَتَمَتَّعُواْ قَلِيلًا إِنَّكُم مُّجۡرِمُونَ

46. (Kuno ku nsi abakafiiri bagambwa nti) mulye, era mweyagale kitono, wabula mumanye nti muli bonoonyi (naye mukimanye nti waliyo enkomerero). info
التفاسير:

external-link copy
47 : 77

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

47. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa. info
التفاسير:

external-link copy
48 : 77

وَإِذَا قِيلَ لَهُمُ ٱرۡكَعُواْ لَا يَرۡكَعُونَ

48. Bwebalagirwa okusaala tebasaala. info
التفاسير:

external-link copy
49 : 77

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

49. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa. info
التفاسير:

external-link copy
50 : 77

فَبِأَيِّ حَدِيثِۭ بَعۡدَهُۥ يُؤۡمِنُونَ

50. Olwo bigamboki ebitali Kur'ani byebagenda okukkiriza. info
التفاسير: