పవిత్ర ఖురాన్ యొక్క భావార్థాల అనువాదం - లుగాండా అనువాదం - అల్ ఆఫ్రికియ్యహ్ లిల్ తన్మియ్యహ్ సంస్థ

Al-Kalam

external-link copy
1 : 68

نٓۚ وَٱلۡقَلَمِ وَمَا يَسۡطُرُونَ

1. Nuni, yemu kunyukuta ezikola walifu empalabu. Ndayidde e kalamu nebyebagiwandiisa. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 68

مَآ أَنتَ بِنِعۡمَةِ رَبِّكَ بِمَجۡنُونٖ

2. Mazima Gwe Muhammad ekyengera kyobwa Nabbi Katonda wo kyeyakuwa tekiyinza ku kufuula mulalu. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 68

وَإِنَّ لَكَ لَأَجۡرًا غَيۡرَ مَمۡنُونٖ

3. Era ddala oteekwa okufuna empeera etakutukawo. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 68

وَإِنَّكَ لَعَلَىٰ خُلُقٍ عَظِيمٖ

4. Era mazima ddala Ggwe oli wampisa nungi nnyo. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 68

فَسَتُبۡصِرُ وَيُبۡصِرُونَ

5. Ojja kulaba nga nabo bwebagenda okulaba. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 68

بِأَييِّكُمُ ٱلۡمَفۡتُونُ

6. Ani kumwenna eyatukwako ekizibu kyeddalu. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 68

إِنَّ رَبَّكَ هُوَ أَعۡلَمُ بِمَن ضَلَّ عَن سَبِيلِهِۦ وَهُوَ أَعۡلَمُ بِٱلۡمُهۡتَدِينَ

7. Mazima Katondawo amanyidde ddala ani eyabula okuva ku kkubolye era nga bwamanyidde ddala abalungamu. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 68

فَلَا تُطِعِ ٱلۡمُكَذِّبِينَ

8. Kale nno togondera abo abalimbisa. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 68

وَدُّواْ لَوۡ تُدۡهِنُ فَيُدۡهِنُونَ

9. Bandyagadde nti singa obagondera nabo nebakugondera. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 68

وَلَا تُطِعۡ كُلَّ حَلَّافٖ مَّهِينٍ

10. Era togeza n'ogondera buli alayiralayira ataliimu nsa. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 68

هَمَّازٖ مَّشَّآءِۭ بِنَمِيمٖ

11. Omugeyi atambuza olugambo. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 68

مَّنَّاعٖ لِّلۡخَيۡرِ مُعۡتَدٍ أَثِيمٍ

12. Omukodo, omulumbaganyi omwononefu. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 68

عُتُلِّۭ بَعۡدَ ذَٰلِكَ زَنِيمٍ

13. Mubi nnyo ate awamu n'ekyo mwana w'abwenzi. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 68

أَن كَانَ ذَا مَالٖ وَبَنِينَ

14. Tomugondera olwokuba alina emmali n'abaana. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 68

إِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِ ءَايَٰتُنَا قَالَ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ

15. Omuntu oyo bwasomerwa ebigambo byaffe agamba nti nfumo z'abantu abedda. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 68

سَنَسِمُهُۥ عَلَى ٱلۡخُرۡطُومِ

16. Kulunaku lw’enkomerero tugenda kussa kunyindo ye akabonero akamulamba nga tanayingizibwa muliro. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 68

إِنَّا بَلَوۡنَٰهُمۡ كَمَا بَلَوۡنَآ أَصۡحَٰبَ ٱلۡجَنَّةِ إِذۡ أَقۡسَمُواْ لَيَصۡرِمُنَّهَا مُصۡبِحِينَ

17. Mazima ffe twagezesa abantu be Makkah bwetwabaleetera enjala nga bwetwagezesa abantu abaalina enimiro yaabwe abalayira nti baali bagenda kukungula kumakya nnyo, olwo nno baleme kugabirako bantu balala. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 68

وَلَا يَسۡتَثۡنُونَ

18. Wabula beerabira okugamba nti Insh'allah. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 68

فَطَافَ عَلَيۡهَا طَآئِفٞ مِّن رَّبِّكَ وَهُمۡ نَآئِمُونَ

19. Katonda n'agisindikira nabbambula w'omuliro ogwa gizikiriza ekiro nga beebase. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 68

فَأَصۡبَحَتۡ كَٱلصَّرِيمِ

20. Okugenda okukya ngankalu nga enkungule. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 68

فَتَنَادَوۡاْ مُصۡبِحِينَ

21. Ku lunaku olulaganye baakeera nnyo era nga buli omu agenda atemya kumunne. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 68

أَنِ ٱغۡدُواْ عَلَىٰ حَرۡثِكُمۡ إِن كُنتُمۡ صَٰرِمِينَ

22. Ngabagamba nti muzuukuke mugende mu nimiro yammwe bwe muba ddala nga munakungula nga bwemwagambye. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 68

فَٱنطَلَقُواْ وَهُمۡ يَتَخَٰفَتُونَ

23. Baatambula nga bogera bwama. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 68

أَن لَّا يَدۡخُلَنَّهَا ٱلۡيَوۡمَ عَلَيۡكُم مِّسۡكِينٞ

24. Nga bwebagamba nti tebagenda kukkiriza Masikiini yenna kuyingira mu ssamba yaabwe. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 68

وَغَدَوۡاْ عَلَىٰ حَرۡدٖ قَٰدِرِينَ

25. Baatambula kumakya okwo nga bakakasa nti bagenda kutuukiriza kyebaali basazeewo eggulo limu. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 68

فَلَمَّا رَأَوۡهَا قَالُوٓاْ إِنَّا لَضَآلُّونَ

26. Bwebaalaba ennimiro yaabwe b'agamba nti tubuze. info
التفاسير:

external-link copy
27 : 68

بَلۡ نَحۡنُ مَحۡرُومُونَ

27. Sinakindi Katonda yagizikirizza olwe kigendererwa kyaffe ekibi ekyobutakkiriza kugabirako ba Masikiini. info
التفاسير:

external-link copy
28 : 68

قَالَ أَوۡسَطُهُمۡ أَلَمۡ أَقُل لَّكُمۡ لَوۡلَا تُسَبِّحُونَ

28. Eyali abasingako eddiini n'obuntu bulamu nabagamba nti ssabagambye nti obutawaako banaku buba bulyazamanyi bwennyini, era kati kyetuteekwa okukola kwekutendereza Katonda kuba tetunamanya yatusonyiye oba nedda. info
التفاسير:

external-link copy
29 : 68

قَالُواْ سُبۡحَٰنَ رَبِّنَآ إِنَّا كُنَّا ظَٰلِمِينَ

29. Olwo nno nebagamba nti yayawukana Katonda waffe mazima twabadde tweyisizza bubi. info
التفاسير:

external-link copy
30 : 68

فَأَقۡبَلَ بَعۡضُهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖ يَتَلَٰوَمُونَ

30. Awamu nekyo baatandika okuwaanyisiganya ebigambo nga abamu banenya bannabwe. info
التفاسير:

external-link copy
31 : 68

قَالُواْ يَٰوَيۡلَنَآ إِنَّا كُنَّا طَٰغِينَ

31. Nebagamba nti mazima ffe tubadde bajeemu. info
التفاسير:

external-link copy
32 : 68

عَسَىٰ رَبُّنَآ أَن يُبۡدِلَنَا خَيۡرٗا مِّنۡهَآ إِنَّآ إِلَىٰ رَبِّنَا رَٰغِبُونَ

32. Tusaba Katonda waffe emmali yaffe etokomose atuwanyisizeemu ebirungi, mazima ddala ew'a Katonda waffe yokka gyetusaba obuyambi. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 68

كَذَٰلِكَ ٱلۡعَذَابُۖ وَلَعَذَابُ ٱلۡأٓخِرَةِ أَكۡبَرُۚ لَوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ

33. Bwebityo nno ebibonerezo bwebiba naye wabula ebibonerezo by'olunaku lw’enkomerero byebisinga obukakali singa baba ddala nga bamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 68

إِنَّ لِلۡمُتَّقِينَ عِندَ رَبِّهِمۡ جَنَّٰتِ ٱلنَّعِيمِ

34. Mazima abatya Katonda baategekerwa e jjana ez'ebyengera ewa Katonda waabwe info
التفاسير:

external-link copy
35 : 68

أَفَنَجۡعَلُ ٱلۡمُسۡلِمِينَ كَٱلۡمُجۡرِمِينَ

35. Gwe ate abakkiriza twalibayisizza nga abonoonyi. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 68

مَا لَكُمۡ كَيۡفَ تَحۡكُمُونَ

36. Mwaba ki, e nsonga muzisalawo mutya! info
التفاسير:

external-link copy
37 : 68

أَمۡ لَكُمۡ كِتَٰبٞ فِيهِ تَدۡرُسُونَ

37. Simanyi mulinayo ekitabo mwemubisoma. info
التفاسير:

external-link copy
38 : 68

إِنَّ لَكُمۡ فِيهِ لَمَا تَخَيَّرُونَ

38. Era nga mukitaba ekyo mulimu nti mwe mulyesalirawo kyemwagala ku lunaku lw'enkomerero. info
التفاسير:

external-link copy
39 : 68

أَمۡ لَكُمۡ أَيۡمَٰنٌ عَلَيۡنَا بَٰلِغَةٌ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ إِنَّ لَكُمۡ لَمَا تَحۡكُمُونَ

39. Oba mulina e ndagano gye twabawa nga etuukira ddala ku lunaku lw'enkomerero ngebawa ebbeetu okwesalirawo nga bwemulaba. info
التفاسير:

external-link copy
40 : 68

سَلۡهُمۡ أَيُّهُم بِذَٰلِكَ زَعِيمٌ

40. Babuuze ani eyesowolayo abe nga akulembera endowooza eyo. info
التفاسير:

external-link copy
41 : 68

أَمۡ لَهُمۡ شُرَكَآءُ فَلۡيَأۡتُواْ بِشُرَكَآئِهِمۡ إِن كَانُواْ صَٰدِقِينَ

41. Oba balinayo (ababeesiguza) nga babayita babeezi ba Katonda, kale nno bajjanga nabo bwebaba nga bogera mazima. info
التفاسير:

external-link copy
42 : 68

يَوۡمَ يُكۡشَفُ عَن سَاقٖ وَيُدۡعَوۡنَ إِلَى ٱلسُّجُودِ فَلَا يَسۡتَطِيعُونَ

42. Ku lunaku olulibeera olw'okubikkula ku ntumbwe. Balikowoolwa okuvunnamira Katonda naye nga tebasobola. info
التفاسير:

external-link copy
43 : 68

خَٰشِعَةً أَبۡصَٰرُهُمۡ تَرۡهَقُهُمۡ ذِلَّةٞۖ وَقَدۡ كَانُواْ يُدۡعَوۡنَ إِلَى ٱلسُّجُودِ وَهُمۡ سَٰلِمُونَ

43. Nga amaaso gaabwe makakkamu olw'obuswavu, nga bajjudde okunyomebwa so nga ate baakowolwa okuvunnamira Katonda nga bakyali balamu ne batakikola. info
التفاسير:

external-link copy
44 : 68

فَذَرۡنِي وَمَن يُكَذِّبُ بِهَٰذَا ٱلۡحَدِيثِۖ سَنَسۡتَدۡرِجُهُم مِّنۡ حَيۡثُ لَا يَعۡلَمُونَ

44. Kale ndeka noyo alimbisa ebigambo bino tujja kubatwaliriza mpola mpola nga tebamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
45 : 68

وَأُمۡلِي لَهُمۡۚ إِنَّ كَيۡدِي مَتِينٌ

45. Era mbalindiriza, anti entegeka zange nnywevu. info
التفاسير:

external-link copy
46 : 68

أَمۡ تَسۡـَٔلُهُمۡ أَجۡرٗا فَهُم مِّن مَّغۡرَمٖ مُّثۡقَلُونَ

46. Abaffe wali obasabye empeera nebakaluubirirwa kusasula. info
التفاسير:

external-link copy
47 : 68

أَمۡ عِندَهُمُ ٱلۡغَيۡبُ فَهُمۡ يَكۡتُبُونَ

47. Oba bamanyi ebyewala nga babiwandiika (nga bebyelamuza, era nga biraga nti bagenda kubeera bulungi). info
التفاسير:

external-link copy
48 : 68

فَٱصۡبِرۡ لِحُكۡمِ رَبِّكَ وَلَا تَكُن كَصَاحِبِ ٱلۡحُوتِ إِذۡ نَادَىٰ وَهُوَ مَكۡظُومٞ

48. Kale nno beera mugumikiriza ku kusalawo kwa Katondawo, tobeera nga ow'ekyennyanja (Nabbi Yunus) eyatuuka okukowoola (Katondawe okumutaasa) nga ajjudde obunyiikaavu. info
التفاسير:

external-link copy
49 : 68

لَّوۡلَآ أَن تَدَٰرَكَهُۥ نِعۡمَةٞ مِّن رَّبِّهِۦ لَنُبِذَ بِٱلۡعَرَآءِ وَهُوَ مَذۡمُومٞ

49. Singa teyafuna kyengera ekyava ewa Katondawe (ekyokukiriza okwenenyakwe) yandikasukiddwa mu nsi e nkalu (etariiko bulamu) nga naye anenyezebwa. info
التفاسير:

external-link copy
50 : 68

فَٱجۡتَبَٰهُ رَبُّهُۥ فَجَعَلَهُۥ مِنَ ٱلصَّٰلِحِينَ

50. Wabula Katonda yamulekera obwa Nabbi era namuteeka mu bantu abalongofu. info
التفاسير:

external-link copy
51 : 68

وَإِن يَكَادُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَيُزۡلِقُونَكَ بِأَبۡصَٰرِهِمۡ لَمَّا سَمِعُواْ ٱلذِّكۡرَ وَيَقُولُونَ إِنَّهُۥ لَمَجۡنُونٞ

51. Abakafiiri basemberera ddala okukuzikiriza n'amaaso gaabwe amabi (olw'ekkonda eriri ku myoyo gyabwe) bwe bawulira Kur'ani era ne bagamba nti mazima yye (Nabbi) mulalu. info
التفاسير:

external-link copy
52 : 68

وَمَا هُوَ إِلَّا ذِكۡرٞ لِّلۡعَٰلَمِينَ

52. So ng'ate (Kur'ani) teri okugyako kya kujjukiza eri e bitonde. info
التفاسير: